1 Abakkolinso 15
15
1Kale mbategeeza, ab'oluganda, enjiri gye nnababuulira, era gye mwaweebwa, era gye munywereramu, 2era gye mulokokeramu; mbategeeza ebigambo bye nnagibuuliriramu, oba nga muginyweza, wabula nga mwakkiririza bwereere. 3#Is 53:8,9Kubanga nnasooka okubawa mmwe era kye nnaweebwa, nga Kristo yafa olw'ebibi byaffe ng'ebyawandiikibwa bwe byogera; 4#15:4 2 Bassek 20:5, Is 54:7, Kos 6:2, Yon 1:17, Zab 16:10era nga yaziikibwa; era nga yazuukizibwa ku lunaku olw'okusatu ng'ebyawandiikibwa bwe byogera; 5#Luk 14:34, Mak 16:14era nga yalabikira Keefa; n'alyoka alabikira ekkumi n'ababiri; 6n'alyoka alabikira ab'oluganda abasingawo ebitaano omulundi gumu, ku abo bangi abakyali abalamu okutuusa kaakano, naye abamu beebaka; 7#Luk 24:50n'alyoka alabikira Yakobo; n'alyoka alabikira abatume bonna; 8#1 Kol 9:1era oluvannyuma lwa byonna n'alabikira nange ng'omwana omusowole. 9#Bef 3:8, Mat 5:19, 1 Tim 1:15Kubanga nze ndi muto mu batume, atasaanira kuyitibwa mutume, kubanga nnayigganyanga ekkanisa ya Katonda. 10#2 Kol 11:5,23; 6:1Naye olw'ekisa kya Katonda bwe ndi bwe ndi: n'ekisa kye ekyali gye ndi tekyali kya bwereere; naye nnakola emirimu mingi okusinga bonna: naye si nze, wabula ekisa kya Katonda ekyali nange. 11Kale oba nze oba bo, bwe tutyo bwe tubuulira, era bwe mutyo bwe mwakkiriza.
12Naye Kristo bw'abuulirwa nga yazuukizibwa mu bafu, abamu mu mmwe boogera batya nga tewali kuzuukira kwa bafu? 13Naye oba nga tewali kuzuukira kwa bafu, era ne Kristo teyazuukizibwa; 14era oba nga Kristo teyazuukizibwa, kale okubuulira kwaffe tekuliimu, so n'okukkiriza kwammwe tekuliimu. 15#Bik 1:22; 5:32Era naye tulabika ng'abajulirwa ab'obulimba aba Katonda; kubanga twategeeza Katonda nga yazuukiza Kristo: gw'ataazuukiza, oba ng'abafu tebazuukizibwa. 16#1 Kol 6:14Kuba oba ng'abafu tebazuukizibwa, era ne Kristo teyazuukizibwa: 17era oba nga Kristo teyazuukizibwa, okukkiriza kwammwe tekuliiko kye kugasa; mukyali mu bibi byammwe. 18Kale era n'abo abeebaka mu Kristo baabula. 19Oba nga mu bulamu buno bwokka mwe tubeeredde n'essuubi mu Kristo, tuli ba kusaasirwa okusinga abantu bonna.
20 #
Bak 1:18, 1 Kol 11:30 Naye kaakano Kristo yazuukizibwa mu bafu, gwe mwaka omubereberye ogw'abo abeebaka. 21#Lub 3:17-19, Bar 5:12,18Kubanga okufa bwe kwabaawo ku bw'omuntu, era n'okuzuukira kw'abafu kwabaawo ku bwa muntu. 22Kuba bonna nga bwe baafiira mu Adamu, era bwe batyo mu Kristo bonna mwe balifuukira abalamu. 23#1 Bas 4:16, Kub 20:5Naye buli muntu mu kifo kye ye: Kristo gwe mwaka omubereberye; oluvannyuma aba Kristo mu kujja kwe. 24#Dan 2:44Enkomerero n'eryoka etuuka bw'aliwaayo obwakabaka eri Katonda ye Kitaawe; bw'aliba ng'amaze okuggyawo okufuga kwonna n'amaanyi gonna n'obuyinza. 25#Zab 110:1, Mat 22:44Kubanga kimugwanira okufuganga okutuusa lw'alissa abalabe be bonna wansi w'ebigere bye. 26#Kub 20:14; 21:4Omulabe ow'enkomerero aliggibwawo, kwe kufa. 27#Zab 8:6Kubanga kyawandiikibwa nti Yassa byonna wansi w'ebigere bye. Naye bw'ayogera nti Byonna byassibwa wansi, kitegeerekeka ng'oyo teyassibwa wansi eyassa byonna wansi we. 28Naye byonna bwe birimala okussibwa wansi we, era n'Omwana yennyini n'alyoka assibwa wansi w'oyo eyassa byonna wansi we, Katonda alyoke abeerenga byonna mu byonna.
29Kubanga balikola batya ababatizibwa ku lw'abafu? oba ng'abafu tebazuukizibwa ddala, kiki ekibabatizisa ku lw'abo? 30Naffe lwaki okubeera mu kabi buli kaseera? 31#Bar 8:36, 2 Kol 4:10,11Nfa bulijjo, ndayidde okwenyumiriza okwo ku lwammwe, kwe ndi nakwo mu Kristo Yesu Mukama waffe. 32#Is 22:13Oba nga nnalwana n'ensolo mu Efeso ng'omuntu obuntu, ngasibwa ntya? Oba ng'abafu tebazuukizibwa, tulye tunywe, kubanga tufa enkya. 33Temulimbwanga: Okukwana n'ababi kwonoona empisa ennungi. 34#Bar 13:11, Bef 5:14, 1 Kol 6:5, Bik 26:8Mutamiirukukenga mu butuukirivu, so temwonoonanga; kubanga abalala tebategeera Katonda: njogedde kubakwasa nsonyi.
35Naye omuntu alyogera nti Abafu bazuukizibwa batya? era mubiri ki gwe bajja nagwo? 36#Yok 12:24Musirusiru ggwe, gy'osiga teba nnamu wabula ng'efa: 37ne gy'osiga, tosiga mubiri oguliba, wabula mpeke njereere, mpozzi ya ŋŋaano, oba ya ngeri ndala; 38#Lub 1:11naye Katonda agiwa omubiri nga bw'ayagala, era buli nsigo agiwa omubiri gwayo yokka. 39Ennyama yonna si nnyama emu: naye endala ya bantu, n'endala ya nsolo, n'endala ya nnyonyi, n'endala ya byannyanja. 40Era waliwo emibiri egy'omu ggulu n'emibiri egy'omu nsi: naye ekitiibwa eky'egy'omu ggulu kirala, n'eky'egy'omu nsi kirala. 41Ekitiibwa ky'enjuba kirala, n'ekitiibwa ky'omwezi kirala, n'ekitiibwa ky'emmunyeenye kirala: kubanga emmunyeenye teyenkana na ginnaayo kitiibwa. 42Era n'okuzuukira kw'abafu bwe kutyo. Gusigibwa mu kuvunda; guzuukizibwa mu butavunda: 43#Baf 3:20,21gusigibwa awatali kitiibwa; guzuukizibwa mu kitiibwa; gusigibwa mu bunafu; guzuukizibwa mu maanyi: 44gusigibwa nga mubiri gwa mukka; guzuukizibwa mubiri gwa mwoyo. Oba nga waliwo omubiri gw'omukka, era waliwo n'ogw'omwoyo. 45#Lub 2:7, Yok 6:63, 2 Kol 3:6,17Era bwe kityo kyawandiikibwa nti Omuntu ow'olubereberye Adamu yafuuka mukka mulamu. Adamu ow'oluvannyuma yafuuka mwoyo oguleeta obulamu. 46Naye eky'omwoyo tekisooka, wabula eky'omukka; oluvannyuma kya mwoyo. 47#Lub 2:7Omuntu ow'olubereberye yava mu nsi, wa ttaka: omuntu ow'okubiri yava mu ggulu. 48Ng'oli ow'ettaka bwe yali, era n'ab'ettaka bwe bali bwe batyo: era ng'oli ow'omu ggulu bw'ali, era n'ab'omu ggulu bwe bali batyo. 49#Lub 5:3Era nga bwe twatwala ekifaananyi ky'oli ow'ettaka, era tulitwala n'ekifaananyi ky'oli ow'omu ggulu.
50 #
1 Kol 6:13
Naye kino kye njogera, ab'oluganda, ng'omubiri n'omusaayi tebiyinza kusikira bwakabaka bwa Katonda; so okuvunda tekusikira butavunda. 51#1 Bas 4:15,17Laba, mbabuulira ekyama: tetulyebaka fenna, naye fenna tulifuusibwa, 52#Mat 24:31, 1 Bas 4:16mangu ago, nga kutemya kikowe, akagombe ak'enkomerero bwe kalivuga: kubanga kalivuga, n'abafu balizuukizibwa obutavunda, naffe tulifuusibwa. 53#2 Kol 5:4Kubanga oguvunda guno kigugwanira okwambala obutavunda, n'ogufa guno okwambala obutafa. 54#Is 25:8Naye oguvunda guno bwe guliba nga gumaze okwambala obutavunda, n'ogufa guno okwambala obutafa, ekigambo ekyawandiikibwa ne kiryoka kituukirira nti Okufa kumiriddwa mu kuwangula. 55#Kos 13:14Ggwe okufa, okuwangula kwo kuli luuyi wa? Ggwe okufa, okuluma kwo kuli luuyi wa? 56#Bar 7:13; 6:14Okuluma kw'okufa kye kibi; n'amaanyi g'ekibi ge mateeka: 57naye Katonda yeebazibwe, atuwanguza ffe ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo. 58#2 Byom 15:7, Kub 14:13Kale, baganda bange abaagalwa, munywerenga obutasagaasagana, nga mweyongeranga bulijjo mu mulimu gwa Mukama waffe, kubanga mumanyi ng'okufuba kwammwe si kwa bwereere mu Mukama waffe.
Currently Selected:
1 Abakkolinso 15: LUG68
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.

: