1 Abakkolinso 16
16
1 #
Bik 11:29, Bag 2:10, 2 Kol 8:9 Naye okukuŋŋaanyizanga ebintu abatukuvu, nga bwe nnalagira ekkanisa ez'e Ggalatiya, nammwe mukolenga bwe mutyo. 2#Bik 20:7Ku lunaku olw'olubereberye mu ssabbiiti buli muntu mu mmwe aterekenga ewuwe nga bw'ayambiddwa, ebintu bireme okukuŋŋaanyizibwa lwe ndijja. 3Era bwe ndituuka be mulisiima mu bbaluwa abo be ndituma okutwala ekisa kyammwe mu Yerusaalemi: 4era oba nga kirinsaanira nange okugenda, baligenda nange. 5#Bik 19:21Naye ndijja gye muli bwe ndiba nga mmaze okuyita mu Makedoni; kubanga ndiyita mu Makedoni: 6#Bar 15:24, Tit 3:12naye mpozzi ndituula gye muli katono, oba n'okumala ndimalayo biro bya ttoggo byokka, mmwe mulyoke munsibirire gye ndigenda yonna. 7#Bik 20:2; 18:21Kubanga ssaagala kubalaba kaakano nga mpita buyisi: kubanga nsuubira okulwayo katono gye muli, Mukama waffe bw'alikkiriza. 8#Bik 19:1,10Naye ndirwayo mu Efeso okutuusa ku Pentekoote; 9#2 Kol 2:12, Bak 4:3, Kub 3:8kubanga oluggi olunene era olw'emirimu emingi lunziguliddwawo, era abalabe bangi.
10 #
1 Kol 4:17, Baf 2:20 Naye oba nga Timoseewo alijja, mulabe abeerenga gye muli awatali kutya; kubanga akola omulimu gwa Mukama waffe era nga nze: 11#1 Tim 4:12kale omuntu yenna tamunyoomanga. Naye mumusibirire n'emirembe, ajje gye ndi: kubanga nsuubira okumulaba awamu n'ab'oluganda. 12#16:12 1 Kol 1:12; 3:6Naye ebya Apolo ow'oluganda, nnamwegayirira nnyo okujja gye muli awamu n'ab'oluganda: n'atayagalira ddala kujja mu kiseera kino; naye alijja bw'alifuna ebbanga.
13 #
Zab 31:24, Bef 6:10 Mutunulenga, munywerenga mu kukkiriza, mubeerenga basajja, mubeerenga ba maanyi. 14Byonna bye mukola bikolebwenga mu kwagala.
15 #
1 Kol 1:16, Bar 16:5 Naye mbeegayirira, ab'oluganda (mumanyi ennyumba ya Suteefana, nga gwe mwaka omubereberye ogw'omu Akaya, era nga beeteeseteese okuweereza abatukuvu), 16#Baf 2:29nammwe muwulirenga abali ng'abo, na buli muntu akolera awamu naffe afuba. 17Era nsanyukira okujja kwa Suteefana ne Folutunaato ne Akayiko: kubanga ebyabula ku lwammwe baabituukiriza. 18#1 Bas 5:12Kubanga baawummuza omwoyo gwange n'ogwammwe: kale mukkirizenga abali ng'abo.
19 #
Bik 18:2,18,26, Bar 16:3,5 Ekkanisa ez'omu Asiya zibalamusizza. Akula ne Pulisika babalamusizza nnyo mu Mukama waffe, n'ekkanisa eri mu nnyumba yaabwe. 20#Bar 16:16, 2 Kol 13:12, 1 Peet 5:14Ab'oluganda bonna babalamusizza. Mulamusagane n'okunywegera okutukuvu.
21 #
Bak 4:18, 2 Bas 3:17 Kuno kwe kulamusa kwange Pawulo n'omukono gwange. 22#Bag 1:8,9Omuntu yenna bw'atayagalanga Mukama waffe, akolimirwenga. Mukama waffe ajja. 23Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe. 24Okwagala kwange kubeerenga nammwe mwenna mu Kristo Yesu. Amiina.
Currently Selected:
1 Abakkolinso 16: LUG68
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.

: