YouVersion Logo
Search Icon

1 Abakkolinso 14

14
1 # 1 Kol 12:10,31 Mugobererenga okwagala; naye mwegombenga ebirabo eby'omwoyo, naye ekisinga mubuulirenga. 2Kubanga ayogera olulimi tayogera eri bantu, wabula Katonda; kubanga siwali awulira; naye mu mwoyo ayogera byama. 3Naye abuulira ayogera eri abantu ebizimba, n'ebisanyusa, n'ebigumya. 4Ayogera olulimi yeezimba yekka; naye abuulira azimba ekkanisa. 5#Kubal 11:29Kale mbaagala mwenna mwogerenga ennimi, naye waakiri mubuulirenga: era abuulira ye asinga obukulu ayogera ennimi, wabula ng'ategeeza, ekkanisa eryoke ezimbibwe. 6Naye kaakano, ab'oluganda, oba nga ndijja gye muli nga njogera ennimi, ndibagasa ntya, bwe ssiryogera nammwe oba mu kubikkula, oba mu kutegeera, oba mu kubuulira, oba mu kuyigiriza? 7Era n'ebitali biramu, ebireeta eddoboozi, oba ndere, oba nnanga, bwe bitaleeta kwawula mu kuvuga, kitegeerwa kitya ekifuuyibwa oba ekikubibwa? 8Kubanga n'akagombe bwe kavuga eddoboozi eritategeerekeka, ani alyeteekateeka okulwana? 9Bwe mutyo nammwe bwe mutaaleetenga mu lulimi eddoboozi eriwulikika amangu, ekyogerwa kinaategeerwanga kitya? kubanga mulyogerera mu bbanga. 10Mpozzi waliwo mu nsi engeri z'ennimi bwe ziti, so siwali ngeri eterina makulu. 11Kale bwe ssimanya makulu ga ddoboozi, ndibeera ng'ajoboja eri oyo ayogera, n'oyo ayogera alibeera ng'ajoboja eri nze. 12Bwe mutyo nammwe, kubanga mwegomba eby'omwoyo, mwagalenga okweyongera olw'okuzimba ekkanisa. 13Kale ayogera olulimi asabenga ategeezenga. 14Kubanga bwe nsaba mu lulimi, omwoyo gwange gusaba, naye amagezi gange tegabala bibala. 15#Bef 5:19Kale kiki? nnaasabyanga omwoyo, era nnaasabyanga n'amagezi, nnaayimbyanga omwoyo, era nnaayimbyanga n'amagezi. 16Kubanga bw'osaba omukisa mu mwoyo, abeera mu kifo ky'oyo atamanyi anaddangamu atya nti Amiina olw'okwebaza kwo, bw'atategeera ky'oyogedde? 17Kubanga ggwe weebaza bulungi, naye omulala tazimbibwa. 18Nneebaza Katonda, mbasinga mwenna okwogera ennimi; 19naye mu kkanisa njagala okwogeranga ebigambo bitaano n'amagezi gange, ndyoke njigirizenga n'abalala, okusinga ebigambo akakumi mu lulimi obulimi.
20 # Bef 4:14, Baf 3:12,15 Ab'oluganda, temubanga baana bato mu magezi: naye mu ttima mubeerenga baana bawere, naye mu magezi mubeerenga bakulu. 21#Ma 28:49, Is 28:11,12Kyawandiikibwa mu mateeka nti Ndyogera n'abantu bano mu bantu ab'ennimi endala ne mu mimwa gya bannaggwanga; era newakubadde bwe kityo tebalimpulira, bw'ayogera Mukama. 22Ennimi kyeziva zibeera akabonero, si eri abo abakkiriza, wabula eri abatakkiriza: naye okubuulira tekubeera kabonero eri abatakkiriza wabula eri abakkiriza. 23#Bik 2:13Kale ekkanisa yonna bw'eba ng'ekuŋŋaanidde wamu, bonna ne boogera ennimi, ne wayingira abatamanyi oba abatakkiriza, tebaligamba nti mulaluse? 24#Bik 4:13Naye bonna bwe babuulira, ne wayingira atakkiriza oba atamanyi, anenyezebwa bonna, asalirwa bonna omusango; 25#Yok 4:19; 16:8, Is 45:14, Dan 2:47, Zek 8:23ebyama eby'omu mutima gwe birabisibwa; era bw'atyo alivuunama amaaso, n'asinza Katonda, ng'ayogera nga Katonda ali mu mmwe ddala.
26 # 1 Kol 11:18; 12:8, Bef 4:12 Kale kiri kitya, ab'oluganda? Bwe mukuŋŋaana, buli muntu alina oluyimba, alina okuyigiriza, alina ekimubikkuliddwa, alina olulimi, alina okutegeeza. Byonna bikolebwenga olw'okuzimba. 27Omuntu bw'ayogeranga olulimi, boogerenga babiri oba nga bangi, basatu, era mu mpalo, era omu avvuunulenga: 28naye oba nga tewali avvuunula, asirikenga mu kkanisa; ayogererenga mu mmeeme ye era ne Katonda. 29#1 Bas 5:21, Bik 17:11Ne bannabbi boogerenga babiri oba basatu, n'abalala baawulenga. 30Naye omulala atudde bw'abikkulirwanga, eyasoose asirikenga. 31Kubanga mwenna muyinza okubuuliranga kinnoomu, bonna bayigenga, era bonna basanyusibwenga; 32n'emyoyo gya bannabbi gifugibwa bannabbi; 33kubanga Katonda si wa kuyoogaana, naye wa mirembe; nga mu kkanisa zonna ez'abatukuvu.
34 # 1 Kol 11:3, Tit 2:5, 1 Tim 2:12, Bef 5:22, Lub 3:16 Abakazi basirikenga mu kkanisa: kubanga tebalagirwa kwogera; naye bafugibwenga, era nga n'amateeka bwe googera. 35Era bwe baagalanga okuyiga ekigambo, babuulizenga babbaabwe eka: kubanga kya nsonyi omukazi okwogeranga mu kkanisa. 36Oba gye muli ekigambo kya Katonda gye kyava? oba kyatuuka eri mmwe mwekka?
37 # 1 Yok 4:6 Omuntu yenna bwe yeerowoozanga okuba nnabbi oba wa mwoyo, ategeerenga bye mbawandiikira, nga kye kiragiro kya Mukama waffe. 38Naye omuntu yenna bw'atategeera, aleme okutegeera.
39Kale baganda bange, mwegombenga okubuuliranga, so temuziyizanga kwogeranga nnimi. 40Naye byonna bikolebwenga nga bwe kisaana era mu mpisa ennungi.

Currently Selected:

1 Abakkolinso 14: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in