1 Abakkolinso 13
13
1Bwe njogera n'ennimi z'abantu n'eza bamalayika, naye ne ssiba na kwagala, nga nfuuse ekikomo ekivuga n'ebitaasa ebisaala. 2#Mat 7:22; 17:20Era bwe mba ne bunnabbi ne ntegeera ebyama byonna n'okutegeera kwonna; era bwe mba n'okukkiriza kwonna, n'okuggyawo ne nziyawo ensozi; naye ne ssiba na kwagala, nga ssiri kintu. 3#Mat 6:2Era bwe ngabira abaavu bye nnina byonna okubaliisanga, era bwe mpaayo omubiri gwange okwokebwa, naye ne ssiba na kwagala, nga ssiriiko kye ngasizza. 4Okwagala kugumiikiriza, kulina ekisa; okwagala tekuba na buggya; okwagala tekwekulumbaza, tekwegulumiza, 5#Zek 8:17, Baf 2:4tekukola bitasaana, tekunoonya byakwo, tekunyiiga, tekusiba bubi ku mwoyo; 6#Bar 13:9tekusanyukira bitali bya butuukirivu, naye kusanyukira wamu n'amazima; 7#Nge 10:12, 1 Kol 9:12, Bar 15:1kugumiikiriza byonna, kukkiriza byonna, kusuubira byonna, kuzibiikiriziza byonna. 8#1 Peet 4:8Okwagala tekuggwaawo emirembe gyonna: naye oba bunnabbi, bulivaawo; oba ennimi, zirikoma; oba okutegeera, kulivaawo. 9Kubanga tutegeerako kitundu, era tulagulako kitundu: 10naye ebituukirivu bwe birijja, eby'ekitundu birivaawo. 11Bwe nnali omuto, nnayogeranga ng'omuto, nnategeeranga ng'omuto, nnalowoozanga ng'omuto: bwe nnakula, ne ndeka eby'obuto. 12#2 Kol 5:7, Yak 1:23Kubanga kaakano tulabira mu ndabirwamu ebitalabika bulungi; naye mu biro biri tulitunulagana n'amaaso: kaakano ntegeerako kitundu; naye mu biro biri nditegeerera ddala era nga bwe nnategeererwa ddala. 13#1 Bas 1:3, 1 Yok 4:16Naye kaakano waliwo okukkiriza, okusuubira, okwagala, ebyo byonsatule; naye ku ebyo ekisinga obukulu kwagala.
Currently Selected:
1 Abakkolinso 13: LUG68
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.

: