YouVersion Logo
Search Icon

1 Abakkolinso 12

12
1Kale nno, ab'oluganda, eby'ebirabo eby'omwoyo ssaagala mmwe obutabitegeera. 2#Kaab 2:18,19Mumanyi bwe mwali ab'amawanga nga mwakyamizibwanga eri ebifaananyi ebitoogera, nga mukyamizibwa mu ngeri yonna. 3#Mak 9:39, Mat 7:21, 1 Yok 4:2,3Kyenva mbategeeza nga siwali muntu bw'ayogera mu Mwoyo gwa Katonda agamba nti Yesu akolimiddwa; so siwali muntu ayinza okwogera nti Yesu ye Mukama waffe, wabula mu Mwoyo Omutukuvu.
4 # Bar 12:6, Bef 4:4 Naye waliwo enjawulo z'ebirabo, naye Omwoyo ali omu. 5#Bef 4:11Era waliwo enjawulo z'okuweereza, era Mukama waffe ali omu. 6Era waliwo enjawulo z'okukola, naye Katonda ali omu, akola byonna mu bona. 7#1 Kol 14:26Naye buli muntu aweebwa okulagibwa kw'Omwoyo olw'okugasa. 8Kubanga omulala Omwoyo amuweesa ekigambo eky'amagezi; n'omulala aweebwa ekigambo eky'okutegeera, ku bw'Omwoyo oyo: 9omulala okukkiriza, ku bw'Omwoyo oyo; n'omulala ebirabo eby'okuwonyanga, ku bw'Omwoyo omu; 10#1 Kol 14:5, Bik 2:4n'omulala okukolanga eby'amagero; n'omulala okubuuliranga; n'omulala okwawulanga emyoyo: omulala engeri z'ennimi; n'omulala okuvvuunuzanga ennimi: 11#Bar 12:3, Bef 4:7, 1 Kol 7:7naye ebyo byonna Omwoyo oyo omu ye abikola, ng'agabira buli muntu kinnoomu nga ye bw'ayagala.
12 # 1 Kol 10:17 Kuba omubiri nga bwe guli ogumu ne guba n'ebitundu ebingi, n'ebitundu byonna eby'omubiri, newakubadde nga bingi, gwe mubiri gumu; era ne Kristo bw'atyo. 13#Bag 3:28Kubanga mu Mwoyo omu fenna twabatizibwa okuyingira mu mubiri gumu, oba Bayudaaya oba Bayonaani, oba baddu oba ba ddembe; fenna ne tunywesebwa mu Mwoyo omu. 14Kubanga n'omubiri si kitundu kimu, naye bingi. 15Ekigere bwe kyogera nti Kubanga siri mukono, siri wa ku mubiri; olwekyo tekibeera ekitali kya ku mubiri. 16Era okutu bwe kwogera nti Kubanga siri liiso, siri wa ku mubiri; olwekyo tekubeera okutali kwa ku mubiri. 17Omubiri gwonna singa liiso, okuwulira kwandibadde wa? Gwonna singa kuwulira, okuwunyiriza kwandibadde wa? 18Naye kaakano Katonda yassaawo ebitundu buli kinnakimu mu mubiri, nga bwe yayagala. 19Era byonna singa kyali kitundu kimu, omubiri gwandibadde wa? 20Naye kaakano ebitundu biri bingi, naye omubiri gumu. 21N'eriiso teriyinza kugamba mukono nti Ggwe sikwetaaga: oba nate omutwe okugamba ebigere nti Mmwe sibeetaaga. 22Naye, ekisinga ennyo, ebitundu bino eby'omubiri ebirowoozebwa okubeera ebinafu byetaagibwa: 23n'ebyo eby'oku mubiri bye tulowooza obutaba na kitiibwa nnyo bye twambaza ekitiibwa ekisinga obungi: n'ebitundu byaffe ebitali birungi bye bisinga okubeera n'obulungi; 24naye ebirungi byaffe tebyetaaga: naye Katonda yagattira ddala wamu omubiri, ekitundu ekyabulako ng'akiwa ekitiibwa ekisinga obungi; 25walemenga okubeera okwawula mu mubiri; naye ebitundu biyambaganenga bumu byokka na byokka. 26Era ekitundu ekimu bwe kibonaabona, ebitundu byonna bibonerabonera wamu nakyo; oba ekitundu ekimu bwe kigulumizibwa, ebitundu byonna bisanyukira wamu nakyo. 27#Bar 12:5, Bef 5:30Naye mmwe muli mubiri gwa Kristo, n'ebitundu byagwo, buli muntu. 28#Bef 4:11,12Era Katonda yassaawo mu kkanisa abalala, okusooka batume, ab'okubiri bannabbi, ab'okusatu bayigiriza, nate eby'amagero, nate ebirabo eby'okuwonyanga, abayambi, abafuga, aboogezi b'ennimi. 29Bonna batume? bonna bannabbi? bonna bayigiriza? bonna bakola eby'amagero? 30bonna balina ebirabo eby'okuwonyanga? bonna boogera ennimi? bonna baavvuunula? 31#1 Kol 14:1Naye mwegombenga ebirabo ebisinga obukulu. Era mbalaga ekkubo erisinga ennyo obulungi.

Currently Selected:

1 Abakkolinso 12: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in