1 Abakkolinso 11
11
1 #
1 Kol 4:16, Baf 3:17 Mungobererenga nze, nga nange bwe ngoberera Kristo.
2Mbatendereza kubanga munjijukira mu byonna, era munyweza bye mwaweebwa nga bwe nnabibawa. 3#1 Kol 3:23, Bef 5:23, Lub 3:16Naye njagala mmwe okumanya ng'omutwe gwa buli musajja ye Kristo; n'omutwe gw'omukazi ye musajja; n'omutwe gwa Kristo ye Katonda. 4#1 Kol 12:10; 14:1Buli musajja bw'asaba oba bw'abuulira, omutwe gwe nga gubikkiddwako, aswaza omutwe gwe. 5Naye buli mukazi bw'asaba oba bw'abuulira, omutwe gwe nga tegubikkiddwako, aswaza omutwe gwe: kubanga bwe bumu ddala ng'amwereddwa. 6Kuba oba ng'omukazi tabikkibwako, era asalibwenga enviiri: naye oba nga kya nsonyi omukazi okusalibwanga enviiri oba okumwebwanga, abikkibwengako. 7#Lub 1:27; 5:1Kubanga omusajja tekimugwanira kubikkibwanga ku mutwe, kubanga oyo kye kifaananyi n'ekitiibwa kya Katonda: naye omukazi kye kitiibwa ky'omusajja. 8#Lub 2:22,23, 1 Tim 2:13Kubanga omusajja teyava mu mukazi; wabula omukazi ye yava mu musajja: 9#Lub 2:18era kubanga omusajja teyatondebwa lwa mukazi; wabula omukazi olw'omusajja: 10#Lub 6:2kyekiva kigwanira omukazi okubangako akabonero ak'okufugibwa ku mutwe gwe olwa bamalayika. 11Era naye omukazi tabeerawo awatali musajja, era omusajja tabeerawo awatali mukazi, mu Mukama waffe. 12Kuba omukazi nga bwe yava mu musajja, era n'omusajja bw'atyo azaalibwa omukazi; naye byonna biva eri Katonda. 13Musale omusango nammwe mwekka: kisaana omukazi asabenga Katonda nga tabikkiddwako? 14Obuzaaliranwa bwokka tebubayigiriza nga omusajja bw'akuza enviiri zimuswaza? 15Naye omukazi bw'akuza enviiri, kye kitiibwa gy'ali: kubanga yaweebwa enviiri ze mu kifo ky'ekyambalo. 16Naye omuntu yenna bw'aba ng'ayagala okuleeta empaka, ffe tetulina mpisa ng'eyo, newakubadde ekkanisa za Katonda.
17Naye bwe mbalagira kino ssibatendereza, kubanga temukuŋŋaana lwa bulungi wabula olw'obubi. 18#1 Kol 1:10-12; 3:3Kubanga eky'olubereberye, bwe mukuŋŋaanira mu kkanisa, mpulira nga waliwo okwawukana mu mmwe; era nkikkirizaamu. 19#1 Yok 2:19, Ma 13:3Kubanga era n'okwesalamu kikugwanira okubanga mu mmwe, abasiimibwa balyoke balabikenga mu mmwe. 20Kale bwe mukuŋŋaanira awamu, tekiyinzika kulya mmere ya Mukama waffe: 21kubanga mu kulya kwammwe buli muntu asooka munne okutoola emmere ye yekka; n'omulala alumwa enjala, n'omulala atamiira. 22#Yak 2:5,6Kiki ekyo? temulina nnyumba za kuliirangamu n'okunywerangamu? oba munyooma ekkanisa ya Katonda, ne muswaza abatalina nnyumba? Nnaabagamba ntya? nnaabatendereza olw'ekyo? Ssibatendereza. 23#Mat 26:26-28, Mak 14:22-24, Luk 22:19,20Kubanga nze nnaweebwa eri Mukama waffe era ekyo kye nnabawa mmwe, nga Mukama waffe Yesu mu kiro kiri kye yaliirwamu olukwe yatoola omugaati; 24ne yeebaza, n'agumenyamu, n'ayogera nti Guno gwe mubiri gwange oguli ku lwammwe: mukolenga bwe mutyo olw'okunjijukiranga nze. 25#Kuv 24:8, Zek 9:11Era n'ekikompe bw'atyo bwe baamala okulya, ng'ayogera nti Ekikompe kino ye ndagaano empya mu musaayi gwange: mukolenga bwe mutyo buli lwe munaanywangako, olw'okunjijukiranga nze. 26#Mat 26:29Kubanga buli lwe munaalyanga ku mugaati guno ne lwe munaanywanga ku kikompe, munaayolesanga okufa kwa Mukama waffe okutuusa lw'alijja. 27Kyanaavanga azza omusango ogw'omubiri n'omusaayi gwa Mukama waffe buli anaalyanga ku mugaati oba anaanywanga ku kikompe kya Mukama waffe nga tasaanidde. 28#Mat 26:22, 2 Kol 13:5Naye omuntu yeekeberenga yekka alyoke alyenga ku mugaati bw'atyo, era anywenga ne ku kikompe. 29Kubanga alya era anywa, alya era anywa musango gwe ye, bw'atayawula mubiri. 30#1 Kol 15:20, Bef 5:14, 1 Bas 5:6Mu mmwe kyemuvudde mubeeramu abangi abanafu n'abalwadde, era bangiko abeebaka. 31Naye singa twesalira omusango fekka, tetwandisaliddwa musango. 32#Beb 12:5,6Naye bwe tusalirwa omusango, tubuulirirwa Mukama waffe, tuleme okusingibwa omusango awamu n'ensi. 33Kale, baganda bange, bwe mukuŋŋaananga okulya, mulindaganenga. 34Omuntu bw'alumwanga enjala, alyenga eka; okukuŋŋaana kwammwe kulemenga okuba okw'ensobi. N'ebirala ndibirongoosa, we ndijjira wonna.
Currently Selected:
1 Abakkolinso 11: LUG68
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.

: