YouVersion Logo
Search Icon

Zeffaniya 2

2
Okwenenya kusoboka
(2:1-3)
1Mukuŋŋaane, mukuŋŋaane, ayi eggwanga eritalina nsonyi,#Yer 6:15 2nga temunnasaasaanyizibwa ng'ebisusunku ebitwalibwa embuyaga, era n'ekiruyi kya Mukama nga tekinnabatuukako, ku lunaku olw'obusungu bwe.#2 Bassek 23:26 3Munoonye Mukama, mmwe mwenna abawombeefu ab'omu nsi, abakola by'ayagala. munoonye obutuukirivu, era mwetoowaze, mpozzi mulikwekebwa ku lunaku olw'obusungu bwa Mukama.#Zab 76:9, Is 26:20, Am 5:6,14,15
Amawanga galabulwa
(2:4—3:8)
4Gaza kirirekebwawo, ne Asukulooni kirisigala matongo. Abantu b'omu Asudodi baligobwamu mu ttuntu, ne Ekuloni kirisaanyizibwawo.#Am 1:6-8 5Zibasanze abo abali ku lubalama lw'ennyanja, amawanga ag'Abakeresi! Mukama akusalidde omusango ggwe Kanani, ensi ey'Abafirisuuti: alikuzikiriza n'otosigalamu muntu!#Yos 13:3, Ez 25:16 6N'olubalama lw'ennyanja luliba malundiro, nga mulimu ensiisira ez'abasumba n'ebisibo eby'embuzi. 7Era olubalama lw'ennyanja luliba lwa kitundu ky'ennyumba ya Yuda abaliwonawo, banaalundiranga eyo era balisula mu mayumba ag'omu Asukulooni kubanga Mukama Katonda waabwe alibeera wamu nabo, era alibaddizaawo obugagga bwabwe.#Zek 10:3, Luk 1:68 8“Mpulidde okuvuma kwa Mowaabu n'okuyomba kw'abaana ba Amoni kwe bavumye abantu bange, era nga beewaana nga bwe bajja okutwala ensi yaabwe.#Yer 48:27, Ez 25:3,6 9Kale, nga bwe ndi omulamu,” bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, “ Mazima Mowaabu aliba nga Sodomu, n'ab'Amoni nga Ggomola: ebifo omufungamye omwennyango, n'ebinnya omusimwa omunnyo, era amatongo agatalivaawo. Mulinyagibwa abantu bange abaliba basigaddewo, n'ekitundu ky'eggwanga lyange ekirisigalawo kirisikira ensi yammwe.”#Ma 29:23 10Eyo y'eriba empeera yaabwe olw'amalala gaabwe, kubanga bavumye era ne beekulumbaliza ku abantu ba Mukama w'eggye.#Is 16:6 11Mukama aliba wa ntiisa gyebali, bwalitoowaza bakatonda bonna ab'ensi zonna. Kale abantu bonna balimusinza, buli muntu asinziira mu nsi ye ye.#Zab 22:27, Mal 1:11
Obubaka Eri Abaesiyopya
12Nammwe Abaesiyopya, mulittibwa n'ekitala kyange. 13Mukama alikozesa obuyinza bwe n'azikiriza Obwasuli. Alifuula Nineeve amatongo era okuba ekikalu ng'eddungu.#Is 10:12, Nak 3:7 14Kirifuuka ekifo omunaagalamiranga amagana, n'ebisolo byonna ebya buli ngeri. Ebiwuugulu binaasulanga mu bifulukwa byakyo, biwuugulirenga mu madirisa. Emiryango girimenyebwamenyebwa, n'enjola ez'emivule ziryerulwa.#Is 34:11,13,14, Yer 22:14,15 15Ebyo bye birituuka ku kibuga ekyenyumirizanga olw'obuyinza bwakyo, ne kirowooza nti tekirituukibwako kabi. Kyewaananga nti, “Nze tewali annenkana!” Naye kilifuuka matongo, ekifo ensolo we ziwummulira! buli muntu anaakiyitangako anaasoozanga n'afunya ebikonde, n'anyeenya emikono gye.#Is 47:8, Yer 19:8, Nak 3:19

Currently Selected:

Zeffaniya 2: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in