YouVersion Logo
Search Icon

Zeffaniya 1

1
Ennyanjula
(1:1)
Okusaanawo Kwa Yuda
1Buno bwe bubaka, Mukama bwe yawa Zeffaniya, mutabani wa Kuusi, mutabani wa Gedaliya, mutabani wa Amaliya, mutabani wa Keezeekiya, mu mirembe gya Yosiya mutabani wa Amoni, kabaka wa Yuda.#2 Bassek 22:1, Yer 1:2
Yuda okusalirwa omusango (1:2-6)
2Bwati bw'ayogera Mukama nti, “Ndizikiririza ddala ebintu byonna okuva ku nsi,#2 Bassek 22:16,17, Yer 8:13 3abantu bonna n'ensolo, n'ebinyonyi eby'omu bbanga n'ebyennyanja wamu n'abakola ebibi bonna. Ndizikiririza ddala abantu obutalekaawo n'omu. Nze Mukama nze njogedde.”#Kos 4:3 4“Ndibonereza ab'omu Yuda, n'ab'omu Yerusaalemi bonna. Ndizikiriza abasinza Baali abakyasigaddewo mu kifo ekyo era tewalibaawo ajjukira bakabona be.#2 Bassek 23:4,5 5Era ndizikiriza n'abo abalinnya waggulu ku nnyumba ne basinziza enjuba n'omwezi n'emmunyeenye. Ndizikiriza n'abo abasinza Mukama, ate era ne balayira ne katonda Malukamu.#Yer 19:13; 49:1 6Ndizikiriza n'abo abazze emabega obutagoberera Mukama, abatakyanoonyanga Mukama newakubadde okumwebuuzako.”#Yer 15:6
Olunaku lwa Mukama
(1:7—3:20)
Olunaku olwa ssaddaaka n'omusango (1:7-9)
7Sirika awali Mukama Katonda: kubanga olunaku lwa Mukama luli kumpi: kubanga Mukama ategese ssaddaaka, atukuzizza abagenyi be.#1 Sam 16:5, Is 13:6, Yer 46:10, Ez 39:17, Kaab 2:20 8Awo ku lunaku olwa ssaddaaka ya Mukama, “ndibonereza abakungu n'abaana ba kabaka n'abo bonna abambadde ebyambalo binnaggwanga.#2 Bassek 24:12,14 9Awo ku lunaku olwo ndibonereza abo bonna ababuuka ku mulyango ne basinza, abajjuza ennyumba ya mukama waabwe eby'obukambwe n'obulimba.”
Obusungu obujja
(1:10-18)
10Bwati bw'ayogera Mukama nti, “ku lunaku luli, walibaawo okukaaba ku mulyango ogw'Ebyennyanja ogw'omu Yerusaalemi, n'okutema emiranga mu kitundu ekiggya eky'ekibuga, n'okubwatuuka okw'amaanyi okuva ku busozi.#2 Byom 33:14 11Mwekabire ko, mmwe abali mu kitundu ekya wansinsi eky'ekibuga, kubanga abasuubuzi bammwe bonna zibasanze, n'abo abeebinikanga ffeeza bazikiridde.#Kos 12:7, Zek 14:21, Yak 5:1 12Awo olulituuka mu biro ebyo ndikwata ettaala ne nfuuza Yerusaalemi, era ndibonereza abantu abalowooza nti bali bulungi, abatalina kye beeraliikirira, era abalowooza nti, ‘Mukama taliiko ky'akola, ka kibe kirungi oba kibi.’#Zab 94:7, Yer 48:11, Ez 8:12, Am 6:1; 9:3 13Obugagga bwabwe bulinyagibwa, n'ennyumba zaabwe zirifuuka matongo. Weewaawo, balizimba amayumba naye tebaligasulamu, era balisimba ensuku ez'emizabbibu naye tebalinywa ku mwenge gwamu.”#Am 5:11, Mi 6:15 14Olunaku lwa Mukama olukulu luli kumpi, ddala lusembedde, era lwanguwa mangu. Olunaku luliba lwa kubonaabona! n'omulwanyi omuzira alikaaba olw'obuyinike obungi.#Ez 7:7,12 15Olunaku olwo luliba lunaku lwa busungu, lwa buyinike n'okulaba ennaku, lunaku lwa kuzikirira na kuggwaawo, lunaku lwa kizikiza n'ekikome, lunaku lwa bire n'ekizikiza ekikutte!#Yo 1:15; 2:2 16Lunaku lwa kufuuwa kkondeere n'okulangirira olutalo ku bibuga ebiriko enkomera n'eri eminaala emigulumivu.#Yer 4:19 17Ndireeta obuyinike ku bantu, batambule ng'abazibe b'amaaso, kubanga bakoze ebibi mu maaso ga Mukama, omusaayi gwabwe gulifukibwa ng'enfuufu, n'emirambo gyabwe girisuulibwa ng'obusa.#Ma 28:29, Zab 79:3; 83:10 18Ku lunaku olw'obusungu bwa Mukama, effeeza ne zaabu waabwe tebiriyinza kubawonya. Ensi yonna erizikirizibwa omuliro ogw'obusungu bwe, kubanga alimalirawo ddala n'entiisa abo bonna abali mu nsi.#Ez 7:19; 36:5

Currently Selected:

Zeffaniya 1: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

Video for Zeffaniya 1