YouVersion Logo
Search Icon

Zekkaliya 9

9
Okudda kwa kabaka
(9:1—14:21)
Obubaka obusooka: Abakulembeze n'abantu (9:1—11:17)
1Omugugu gw'ekigambo kya Mukama ku nsi ya Kadulaki,
ne Ddamasiko kiriba kiwummulo kyagwo;
kubanga eriiso ly'abantu n'ery'ebika byonna ebya Isiraeri
liri eri Mukama;
2era ne Kamasi ekiriraanye nakyo,
Ttuulo ne Sidoni, kubanga kya magezi mangi nnyo.#Ez 28:3-5
3Ne Ttuulo kyezimbira ekigo
ne kituuma ffeeza ng'enfuufu
n'ezaabu ennungi ng'ebitoomi eby'omu nguudo.
4Laba, Mukama alikigoba mu byakyo,
alikuba amaanyi gaakyo ku nnyanja;
era kiryokebwa omuliro.#Ez 26:17; 28:18
5Asukulooni kiriraba kiritya;
era ne Gaza, nakyo kirirumwa nnyo;
ne Ekuloni, kubanga okusuubira kwakyo kuliswala;
ne kabaka alibula mu Gaza,
era ne Asukulooni tekiribaamu bantu.#Zef 2:4
6Omwana omwebolereze alibeera mu Asudodi,
era ndimalawo amalala g'Abafirisuuti.
7Era ndiggyamu omusaayi mu kamwa ke
n'emizizo gye wakati w'amannyo ge;
naye anaabanga kitundu ekirisigalawo eri Katonda waffe;
naye anaabeeranga ng'omukungu mu Yuda,
ne Ekuloni nga Omuyebusi.#Leev 3:17, Is 14:1; 66:17, Zek 12:5
8Nange nnaasiisiranga awali ennyumba yange mu maaso g'eggye,
omuntu alemenga okuyitawo newakubadde okuddayo;
so tewaabenga mujoozi nate aliyita wakati mu bo;
kubanga kaakano ndabye n'amaaso gange.#Zek 10:4; 12:4
9Sanyuka nnyo, ggwe omuwala wa Sayuuni;
yogerera waggulu, ggwe omuwala wa Yerusaalemi;
laba, kabaka wo ajja gy'oli;
ye mutuukirivu era alina obulokozi;
muwombeefu era nga yeebagadde endogoyi,
n'akayana omwana gw'endogoyi.#Yer 23:5, Mat 11:29; 21:5
10Era Efulayimu ndimuggyako eggaali,
ne Yerusaalemi ndikiggyako embalaasi,
n'omutego ogw'olutalo guliggibwako;
era oyo aligabulira amawanga emirembe;
n'okufuga kwe kuliva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja,
era kuliva ku Mugga okutuuka ku nkomerero z'ensi.#Zab 72:8, Kos 1:7, Mi 5:5,10
11Era naawe, olw'omusaayi ogw'endagaano yo,
ndiggya abasibe bo mu bunnya omutali mazzi.#Lub 37:24, Kuv 24:8, Is 42:7; 51:14
12Mukyukire ekigo, mmwe abasibe abalina essuubi;
ku lunaku lwa leero mbuulira nti ndikuddiza emirundi ebiri.#Is 61:7
13Kubanga nneewetedde Yuda;
omutego ngujjuzizza Efulayimu;
nange ndiyita abaana bo, ggwe Sayuuni,#Ez 27:13
n'abaana bo, ggwe Obuyonaani,
era ndikufuula ng'ekitala eky'omuzira.
14Era Mukama alirabika waggulu gyebali,
n'akasaale ke kalivaayo ng'enjota;
era Mukama Katonda alifuuwa akagombe,
era aligenda ne kikuŋŋunta ow'obukiikkaddyo#Zab 18:14, Is 21:1
15Mukama w'eggye alibazibira;
nabo balirya balirinnya ku mayinja ag'envuumuulo;
balinywa balikaayana ng'ab'omwenge;
era balijjula ng'ebibya,
ebikozesebwa okumansira ku nsonda z'ekyoto.#Leev 4:18
16Era Mukama Katonda waabwe alibalokola ku lunaku luli
ng'ekisibo ky'abantu be;
kuba baliba ng'amayinja ag'engule,
agayimusibwa waggulu ku nsi ye.#Is 62:3
17Kubanga obulungi bwe so nga bungi, okuwooma kwe so nga kungi!
Eŋŋaano erinyiriza abavubuka,
n'omwenge omusu gulinyiriza abawala.#Is 62:8,9, Yer 31:12

Currently Selected:

Zekkaliya 9: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in