Zekkaliya 8
8
1Awo ekigambo kya Mukama w'eggye ne kijja gye ndi nga kyogera nti, 2“Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Nkwatirwa Sayuuni obuggya, obuggya obungi: nkikwatirwa obuggya n'ekiruyi ekingi. 3Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Nkiddiddemu Sayuuni, nnaabeeranga wakati mu Yerusaalemi, era Yerusaalemi kinaayitibwanga nti Kibuga kya mazima; era nti Lusozi lwa Mukama w'eggye, Olusozi olutukuvu.#Is 1:26; 2:3 4Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Abakadde, abasajja n'abakazi, balituula ate mu nguudo za Yerusaalemi, buli muntu ng'akutte omuggo mu mukono gwe kubanga akaddiye nnyo. 5N'enguudo ez'ekibuga zirijjula abalenzi n'abawala nga bazannyira mu nguudo zaakyo. 6Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, Kirirabika ng'eky'ekitalo mu maaso g'abantu abo abaasigalawo mu nnaku ezo, naye nange gye ndi bwe kiriba? Bw'ayogera Mukama w'eggye.#Lub 18:14, Zab 118:23 7Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, Laba, ndirokola abantu bange okuva mu nsi ey'ebuvanjuba n'okuva mu nsi ey'ebugwanjuba;#Zab 107:3, Is 48:5 8ndibaggyayo, nabo banaabeeranga wakati mu Yerusaalemi; nabo banaabanga bantu bange, nange nnaabeeranga Katonda waabwe mu mazima ne mu butuukirivu.”#Yer 4:2; 31:33 9Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, “ Emikono gyammwe gibe n'amaanyi, mmwe abawulira mu nnaku zino ebigambo bino ebiva mu kamwa ka bannabbi abaaliwo mu nnaku okuva omusingi gw'ennyumba ya Mukama lwe gwasimbibwa, ye Yeekaalu, ezimbibwe.#Ezer 5:1,2, Kag 2:18 10Kubanga ennaku ziri nga tezinnatuuka, nga tewaliiwo mpeera ey'ensolo; so nga tewali mirembe eri oyo eyafuluma n'oyo eyaddayo olw'omulabe; kubanga nnakyayaganya abantu bonna buli muntu ne munne. 11Naye kaakano nze sirikola bwe ntyo ekitundu ky'abantu abo ekyasigalawo, nga mu nnaku ez'edda, bw'ayogera Mukama w'eggye. 12Kubanga wanaabanga ensigo ez'emirembe; omuzabbibu gunaawanga emmere yaagwo; ettaka linaawanga ekyengera kyalyo; n'eggulu linaawanga omusulo gwalyo; nange ndisisa ekitundu eky'abantu bano ekirisigalawo ebintu ebyo byonna.#Kos 2:21,22, Kag 1:10; 2:19 13Awo olulituuka nga bwe mwali ekikolimo wakati w'amawanga, ggwe ennyumba ya Yuda naawe ennyumba ya Isiraeri, bwe kityo ndibalokola, nammwe mulibeera mukisa; temutya; naye emikono gyammwe gibe n'amaanyi.”#Lub 12:2,3, Is 43:28; 65:15 14Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, nti, “Nga bwe nnalowooza okubakola obubi, bajjajjammwe bwe bansunguwaza, bw'ayogera Mukama w'eggye, so sejjusa;#Ma 9:7,8,22, Yer 31:28; 32:42 15Bwe ntyo ate ndowoozezza mu nnaku zino okukola obulungi Yerusaalemi n'ennyumba ya Yuda; temutya. 16Ebigambo bye munaakolanga bye bino; mubuuliraganenga eby'amazima buli muntu ne munne; musalenga emisango egy'ensonga n'emisango egy'emirembe mu miryango gyammwe,#Zab 15:2, Bef 4:25 17so omuntu aleme okulowooza obubi ku munne mu mitima gyammwe; so temwagalanga kirayiro kyonna eky'obulimba; kubanga ebyo byonna bye nkyawa, bw'ayogera Mukama.”
18Awo ekigambo kya Mukama w'eggye ne kijja gye ndi nga kyogera nti, 19“Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, Okusiiba okw'omu mwezi ogwokuna n'okusiiba okw'omu mwezi ogw'okutaano n'okusiiba okw'omu mwezi ogw'omusanvu n'okusiiba okw'omu mwezi ogw'ekkumi kunaabanga eri ennyumba ya Yuda embaga ey'okusanyuka n'okujaguza; kale mwagalenga amazima n'emirembe.”#2 Bassek 25:1, Yer 39:2 20Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, “ Oliboolyawo amawanga ne gajja n'abo ababeera mu bibuga ebingi; 21era ababeera mu kibuga ekimu baligenda mu kirala nga boogera nti, ‘Tugende mangu okwegayirira ekisa kya Mukama n'okunoonya Mukama w'eggye; era nange ndigenda.’#Zek 2:11; 7:2 22Weewaawo, abantu bangi n'amawanga ag'amaanyi balijja okunoonya Mukama w'eggye mu Yerusaalemi n'okwegayirira ekisa kya Mukama. 23Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, Mu nnaku ziri abantu kkumi (10) balikwata, okuva mu nnimi zonna ez'amawanga, balikwata ku lukugiro olw'omuntu Omuyudaaya nga boogera nti, ‘Tuligenda nammwe; kubanga tuwulidde nti Katonda ali nammwe.’ ”#1 Kol 14:25, Kub 5:9, Lub 37:24
Currently Selected:
Zekkaliya 8: LBR
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.