YouVersion Logo
Search Icon

Zekkaliya 13

13
1“Ku lunaku luli oluzzi luliggulirwa ennyumba ya Dawudi n'abo abali mu Yerusaalemi okubatukuza mu ebibi n'obutali butuukirivu bwabwe.#Ez 36:25 2Awo olulituuka ku lunaku luli, bw'ayogera Mukama w'eggye, ndiggyamu amannya ag'ebifaananyi mu nsi, so tegalijjukirwa nate, era ate ndigya mu nsi bannabbi n'omwoyo ogutali mulongoofu.#Kuv 23:13, Mi 5:13, Zek 10:2 3Awo olulituuka omuntu yenna bwa lyefuula nnabbi, kale kitaawe ne nnyina abaamuzaala balimugamba nti, ‘Oteekwa kufa kubanga oyogera eby'obulimba mu linnya lya Mukama.’ Awo kitaawe ne nnyina abaamuzaala balimufumita ng'alagula.#Ma 13:1-11 4Awo olulituuka ku lunaku luli buli nnabbi alikwatibwa ensonyi olw'okwolesebwa kwe okw'obulimba; so tebalyambala kyambalo kyabwe eky'ebyoya okulimba abantu.#2 Bassek 1:8, Mi 3:7 5Naye alyogera nti, ‘Siri nnabbi nze, ndi mulimi wa ttaka, kubanga ettaka kye ky'obugagga bwange okuva mu buto bwange.’#Am 7:14 6N'omu bw'alimubuuza nti, ‘Ebiwundu ebiri ku mubiri gwo byaki?’ Awo aliddamu nti, ‘Nnabifunira mu nnyumba ya mikwano gyange.’ ”
7“Golokoka, ggwe ekitala, okulwana n'omusumba wange,
olwane n'omusajja annyimirira ku lusegere,”
bw'ayogera Mukama w'eggye,
tema omusumba, n'endiga zirisaasaana;
nange ndissaako omukono gwange ku bato.#Is 40:11, Mat 26:31
8“Awo olulituuka mu nsi yonna, bw'ayogera Mukama,
ebitundu byayo bibiri birizikirira birifa;
naye eky'okusatu kirirekebwa omwo.
9N'ekitundu eky'okusatu ndikiyisa mu muliro,
era ndibalongoosa ng'effeeza bw'erongoosebwa,
era ndi bakema nga zaabu bw'ekemebwa;
balikaabirira erinnya lyange,
nange ndibawulira;
ndyogera nti, ‘Be bantu bange;’
nabo balyogera nti, ‘Mukama ye Katonda wange.’ ”#Zab 50:15, Is 48:10, Ez 11:20, Mal 3:2,3

Currently Selected:

Zekkaliya 13: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in