N'ekitundu eky'okusatu ndikiyisa mu muliro,
era ndibalongoosa ng'effeeza bw'erongoosebwa,
era ndi bakema nga zaabu bw'ekemebwa;
balikaabirira erinnya lyange,
nange ndibawulira;
ndyogera nti, ‘Be bantu bange;’
nabo balyogera nti, ‘Mukama ye Katonda wange.’ ”