Oluyimba 3
3
Ebirooto by'omukazi
(3:1-11)
Omukazi
1Ekiro ku kitanda kyange nanoonya omusajja emmeeme yange gw'eyagala;
Namunoonya, naye ne ssimulaba.#Lu 1:7; 5:6, Is 26:9
2Ne njogera nti, “N'agolokoka kaakano ne ntambulatambula mu kibuga,
Mu nguudo ne mu bifo ebigazi,
Nanoonya omusajja emmeeme yange gw'eyagala;”
Namunoonya, naye ne ssimulaba.
3Abakuumi abatambulatambula ekibuga ne bandaba,
Ne mbagamba nti Mulabye oyo emmeeme yange gw'eyagala?#Lu 5:7
4Nnali mbayiseeko katono,
Ne ndaba oyo emmeeme yange gw'eyagala.
Ne mmunyweza ne ssikkiriza kumuta,
Okutuusa lwe nnamuleeta mu nnyumba ya mmange,
Ne mu kisenge ky'oyo anzaala.#Lu 8:2
5Mbalayiza, mmwe abawala ba Yerusaalemi,
Olw'empeewo n'enjaza ez'omu ttale,
Muleme okugolokosa newakubadde okuzuukusa okwagala,
Okutuusa we kunaayagalira.#Lu 2:7
Oluyimba olwokusatu
Omukazi
6Ani ono ajja ng'alinnya ng'ava mu ddungu afaanana empagi ey'omukka,
Ng'asiigiddwa eby'akaloosa ebya mooli n'omugavu,
N'eddagala lyonna ery'omusuubuzi?#Lu 8:5
7Laba, ke kadyeri ka Sulemaani,
Abasajja ab'amaanyi nkaaga (60) bakeetoolodde,
Ku basajja ab'amaanyi aba Isiraeri.
8Bonna bakwata ekitala, ba magezi okulwana,
Buli muntu yeesiba ekitala kye mu kiwato,
Olw'entiisa ekiro.
9Kabaka Sulemaani yeekolera eggaali
Ey'emiti egy'oku Lebanooni.
10Empagi zaayo yazikola za ffeeza.
Wansi waayo zaabu, entebe yaayo lugoye lwa ffulungu,
Wakati waayo nga waaliriddwa n'okwagala,
Okuva eri abawala ba Yerusaalemi.
11Mufulume, mmwe abawala ba Sayuuni, mutunuulire kabaka Sulemaani,
Ng'alina engule nnyina gy'amutikkiridde ku lunaku kw'afumbiriddwa,
Era ku lunaku omutima gwe kwe gusanyukira.#Is 3:16; 62:5
Currently Selected:
Oluyimba 3: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: