Oluyimba 2
2
1Nze ndi kimyula kya Saloni,
Eddanga ery'omu biwonvu.
Omusajja
2Ng'eddanga mu maggwa,
Gwe njagala bw'ali bw'atyo mu bawala.
Omukazi
3Ng'omucungwa mu miti egy'omu kibira,#Is 32:2
Muganzi wange bw'ali bw'atyo mu balenzi.
N'atuula wansi w'ekisiikirize kye n'essanyu lingi,
Ebibala bye ne biwoomera amatama gange.
4Yannyingiza mu nju ey'okuliiramu embaga,
Ne bendera ye eyali ku nze kwagala.
5Munkwatirire n'ezabbibu enkalu, munsanyuse n'amacungwa;
Kubanga okwagala kundwazizza.
6Omukono gwe ogwa kkono guli wansi w'omutwe gwange,
N'omukono gwe ogwa ddyo gunkutte.#Lu 8:3
7Mbalayiza, mmwe abawala ba Yerusaalemi,
Olw'empeewo n'enjaza ez'omu ttale,
Muleme okugolokosa newakubadde okuzuukusa okwagala,
Okutuusa we kunaayagalira.#Lu 3:5; 8:4
Oluyimba olwokubiri
Omukazi
8Eddoboozi lya muganzi wange! laba, ajja,
Ng'abuukirabuukira ku nsozi, ng'azinira ku busozi.
9Muganzi wange ali ng'empeewo oba ennangaazi ento,
Laba, ayimirira emabega w'olukomera lwaffe,
Alingiza mu ddirisa,
Yeeraga ng'atunuulira mu kamooli.
Omusajja
10Muganzi wange yayogera n'aŋŋamba
Nti, Golokoka, gwe njagala, omulungi gye ndi, tugende tuvve wano.
11Kubanga, laba, ttoggo aweddeko,
Enkuba eyise egenze;
12Ebimuli kati wonna byanyizza;
Ebiro bituuse ennyonyi mwe ziyimbira,
N'eddoboozi lya kaamukuukulu liwulirwa mu nsi yaffe;#Yer 8:7
13Omutiini gwengeza ettiini zaagwo embisi,
N'emizabbibu gimulisizza,
Giwunya akaloosa kaagyo.
Golokoka, gwe njagala,
omulungi gye ndi, tugende tuvve wano.#Lu 7:12, Mat 24:32
14Ayi ejjiba lyange, abeera mu njatika ez'omu jjinja,
mu bifo ebyekusifu eby'omu lwazi olugulumivu,
Leka ndabe amaaso go, mpulire ne ku ddoboozi lyo;
Kubanga eddoboozi lyo ddungi,
n'amaaso go gasanyusa.#Lu 8:13, Yer 48:28
15Mutukwatire ebibe, ebibe ebito,
ebyonoona ensuku ez'emizabbibu;
Kubanga ensuku zaffe ez'emizabbibu zimulisizza.
Omukazi
16Muganzi wange, nange ndi wuwe,
Aliisizza ekisibo kye mu malanga.#Lu 6:3
17Okutuusa obudde nga bukedde,
ebisiikirize ne biddukira ddala,
Kyuka, muganzi wange, obe ng'empeewo oba ennangaazi ento
Ku nsozi eza Beseri.#Lu 4:6, Yer 6:4
Currently Selected:
Oluyimba 2: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

:
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.