Oluyimba 4
4
Omusajja
1Laba, oli mulungi, gwe njagala;
laba, oli mulungi!
Amaaso go mayiba emabega w'olugoye lwe Weebisseeko.
Enviiri zo ziri ng'eggana ly'embuzi,
Ezigalamidde ku mbiriizi z'olusozi Gireyaadi.#Lu 1:15; 6:5
2Amannyo go gali ng'eggana ly'endiga ezaakajja zisalibweko ebyoya,
Ezirinnye okuva mu kunaazibwa;
Buli emu ku zo ng'ezzadde abaana abalongo,
So tekuli ku zo efiiriddwa n'emu.#Lu 6:6
3Emimwa gyo giri ng'ewuzi ey'olugoye olutwakaavu,
N'akamwa ko kalungi,
Amatama go galinga ekitundu ky'ekkomamawanga;
Emabega w'olugoye lw'obisse ku maaso.#Lu 6:7
4Ensingo yo eri ng'ekigo kya Dawudi ekyazimbibwa okuterekamu eby'okulwanyisa,
Omuwanikibwa engabo olukumi (1,000),
Engabo zonna ez'abasajja ab'amaanyi.#Nek 3:19, Lu 7:4, Ez 27:11
5Amabeere go gombi gali ng'abalongo ababiri abaana b'empeewo,
Abaliira mu malanga.#Lu 7:3
6Okutuusa obudde nga bukedde,
ebisiikirize ne biddukira ddala,
Nja kugenda mbeere ku lusozi olwa mooli.
Ne ku kasozi ak'omugavu.#Lu 2:17
7Oli mulungi wenna, gwe njagala;
So ku ggwe tekuli bbala.#Lu 5:2, Bef 5:27
8Jjangu tugende ffembi okuva ku Lebanooni, mugole wange,
Tugende ffembi okuva ku Lebanooni.
Lengera ng'oyima ku ntikko ya Amana,
Ku ntikko ya Seniri ne Kerumooni,
Lengera ng'oyima awali empuku ey'empologoma,
Ne ku nsozi ez'engo.#Ma 3:9, 1 Byom 5:23
9Osanyusizza omutima gwange,
omwagalwa, mugole wange;
Osanyusizza omutima gwange, n'eriiso lyo erimu,
N'omukuufu ogumu ogw'omu bulago bwo.#Lu 5:1
10Okwagala kwo nga kulungi,
omwagalwa, mugole wange!
Okwagala kwo nga kusinga nnyo omwenge;
N'amafuta go ag'omugavu nga gasinga nnyo eby'akaloosa eby'engeri zonna okuwunya obulungi.#Lu 1:1-4
11Emimwa gyo, ayi mugole wange,
giwomerera ng'ebisenge by'enjuki:
Omubisi gw'enjuki n'amata biri wansi w'olulimi lwo;
N'akawoowo ak'ebyambalo byo kali nga ng'akawoowo aka Lebanooni.#Nge 5:3, Kos 14:6
12Omwagalwa, mugole wange,
lwe lusuku olwasibibwa;
Lwe luzzi olwasibibwa,
ye nsulo eyateekebwako akabonero.#Lub 29:3, Nge 5:15
13Ebimera by'olusuku lwa mikomamawanga,
olulina ebibala eby'omuwendo omungi;
Kofera n'emiti egy'omugavu,
14Omugavu ne kalikomu,
Kalamo ne kinamomo, n'emiti
gyonna egy'omugavu;
Mooli ne akaloosi, wamu n'eby'akaloosa
byonna ebisinga obulungi.
15Ggwe nsulo y'ennimiro,
Oluzzi olw'amazzi amalamu,
Era emigga egikulukuta egiva ku Lebanooni.#Yok 4:10
Omukazi
16Muzuukuke, mmwe embuyaga eziva e bukiikakkono;
nammwe mujje, ez'obukiikaddyo.
Mukuntire ku nnimiro yange, eby'akaloosa ebyamu bikulukute.
Muganzi wange ajje mu nnimiro ye;
Alye ebibala bye eby'omuwendo omungi.#Lu 6:2
Currently Selected:
Oluyimba 4: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

:
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.