Oluyimba 1
1
Oluyimba olusooka
1Oluyimba olusinga ennyimba,
lwe luyimba lwa Sulemaani.#1 Bassek 4:32
Omukazi
2Annywegere n'okunywegera kw'akamwa ke.
Kubanga okwagala kwo kusinga omwenge obulungi.
3Amafuta go gawunya akaloosa;
Erinnya lyo liriŋŋaanga amafuta agafukibwa;
Abawala abatamanyi musajja kyebaava bakwagala.#Mub 7:1, Yok 12:3
4Mpalula, tunaakugoberera mbiro.
Kabaka annyingizizza mu bisenge bye.
Tunaakusanyukira ne tujaguliza mu ggwe,
Okwagala kwo tunaakutendereza okusinga omwenge;
Bakwagala lwa nsonga.#Zab 45:14,15, Yer 31:3, Kos 11:4, Yok 6:44, Baf 3:12
5Ndi muddugavu, naye mulungi,
Mmwe abawala ba Yerusaalemi,
Ng'eweema ez'e Kedali.
Ng'entimbe z'omu lubiri lwa Sulemaani.
6Temuntunuulira kubanga ndi muddugavu.
Kubanga omusana gunjokezza.
Abaana ba mmange bansuguwalira,
Banfuula omukuumi w'ensuku ez'emizabbibu;
Naye olusuku lwange nze ssaalukuuma.#Lu 8:11, 1 Kol 9:27
7Mbuulira, ggwe emmeeme yange gw'eyagala,
Gy'oliisiza ekisibo kyo, gy'okigalamiriza mu ttuntu;
Kubanga nandibeeredde ki ng'omukazi ayambadde ekibikka,
Awali ebisibo bya banno?#Ez 34:14,15
Omusajja
8Oba nga tomanyi, ggwe asinga abakazi bonna obulungi,
Fuluma okwate ekkubo ogoberere ebigere by'endiga zo,
Oliisize abaana b'embuzi zo awali eweema ez'abasumba.
9Nkugeerageeranya, ayi muganzi wange,
Ku mbalaasi ez'amagaali ga Falaawo.#2 Byom 1:16
10Amatama go ganyiridde n'emivumbo emirange,
Ensingo yo nnungi n'embu ez'eby'obuyonjo.#Ez 16:11
11Tunaakukolera emivumbo egya zaabu
N'amapeesa aga ffeeza.
Omukazi
12Kabaka bwe yali ng'atudde ku kitanda kye,
Amafuta gange ag'omugavu ne gawunya akaloosa kaago.#Yok 12:3
13Muganzi wange ali gye ndi ng'omuvumbo gwa mooli,
Oguteekebwa wakati w'amabeere gange.
14Muganzi wange ali gye ndi ng'ekisaaganda ky'ebimuli ebya kofera
Mu nsuku ez'emizabbibu ez'e Engedi.
Omusajja
15Laba, oli mulungi, gwe njagala;
laba, oli mulungi;
Amaaso go mayiba.#Lu 4:1
Omukazi
16Laba, oli mulungi, muganzi wange,
weewaawo, osanyusa;
Era ekitanda kyaffe kya malagala mato.
17Emikiikiro gy'ennyumba yaffe mivule,
N'emirabba gya nkanaga.
Currently Selected:
Oluyimba 1: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

:
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.