Luusi 4
4
Bowaazi ategeka okununula ennyumba ya Erimereki
(4:1-12)
Bowaazi awasa Luusi
1Awo Bowaazi n'agenda awali omulyango gw'ekibuga awakuŋŋaanirwa n'atuula awo; laba muganda wa Erimereki Bowaazi gwe yayogerako nga yamusinga okuba ow'okumpi n'ayitawo; Bowaazi n'amugamba nti, “Owange, muganda wange! kyama otuule wano.” N'akyama n'atuula.#Luus 3:12, 2 Sam 15:2, Zab 127:5 2Era Bowaazi n'ayita abakadde b'ekibuga kkumi (10), n'abagamba nti, “Mutuule wano.” Ne batuula.#Ma 25:7, 1 Bassek 21:8, Nge 31:23 3N'agamba muganda w'omukazi nti, “Nawomi eyakomawo okuva mu nsi ya Mowaabu, atunda ekibanja ekyali ekya muganda waffe Erimereki.#Luus 1:22 4Kale ndowoozeza nga nteekwa okukikutegeezako nti oba oyagala, kigulire mu maaso ga bano abatudde wano ne mu maaso g'abakadde b'abantu bange. Naye bw'oyagala okukinunula, kinunule, naye bw'otoyagala kukinunula, kale mbuulira mmanye; kubanga tewali anaakinunula wabula ggwe; nange nze nkuddirira.” N'ayogera nti, “Ndikinunula.”#Leev 25:25, Yer 32:7,8 5Bowaazi n'agamba nti, “Bw'onoogula ekibanja ku Nawomi, onooba oguliddemu ne Luusi, nnamwandu Omumowaabu, okuzaawo obusika bwa bba eyafa.”#Ma 25:5,6, Luus 3:13; 4:10 6Ow'oluganda ow'okumpi n'ayogera nti, “Siyinza kukyenunulira nzekka, nneme okwonoona obusika bwange nze, ggwe weetwalire okununula kwange okwo, kubanga nze sijja kukinunula.”#Luus 3:12,13 7Era eno ye yali empisa edda mu Isiraeri ey'okununula n'okuwaanyisa, okunyweza ebigambo byonna; omusajja yanaanulanga engatto ye, n'agiwa munne, n'ekyo kyabanga bujulirwa mu Isiraeri.#Ma 25:7-10 8Awo ow'oluganda, olw'okumpi n'agamba Bowaazi nti, “ Kyegulire.” N'anaanula engatto ye. 9Bowaazi n'agamba abakadde n'abantu bonna nti, “Muli bajulirwa leero, nga nguze byonna ebyali ebya Erimereki, ne byonna ebyali ebya Kiriyoni n'ebya Maloni, mu mukono gwa Nawomi.#Luus 1:2,4,5 10Era Luusi Omumowaabu mukazi wa Maloni mmuguze okuba mukazi wange, okuzaawo erinnya lya bba eyafa n'obusika bwe bireme okuzikirira mu baganda be ne mu mulyango gw'ekifo kye; mmwe muli bajulirwa leero.”#Luus 4:5 11Awo abantu bonna n'abakadde b'ekibuga awakuŋŋaanirwa ne bagamba nti, “Ffe bajulirwa. Mukama afaananye omukazi azze mu nnyumba yo nga Laakeeri ne Leeya, abaazimba bombi ennyumba ya Isiraeri; naawe okole ebisaana mu Efulasa, oyatiikirire mu Besirekemu;#Lub 29:31—30:24; 35:16-19 12n'ennyumba yo ebeere ng'ennyumba ya Pereezi, Tamali gwe yazaalira Yuda, olw'ezzadde Mukama ly'alikuweera mu mukazi ono omuvubuka.”#Lub 38:29, Luus 4:18, 1 Sam 2:20, 1 Byom 2:4, Mat 1:3
Nawomi afuna ekika ekiggya (4:13-17)
13Awo Bowaazi n'atwala Luusi okuba mukaziwe. Mukama n'awa Luusi omukisa n'aba olubuto, n'azaala omwana ow'obulenzi.#Lub 29:31; 33:5 14Abakazi ne bagamba Nawomi nti, “Mukama yeebazibwe, atakulese leero nga tolina mununuzi wo, era erinnya lye lyatiikirire mu Isiraeri.#Luus 2:20, Luk 1:58 15Mukaamwana wo akwagala, era akukoledde ebirungi ebingi okusinga ebyo abaana omusanvu (7) ab'obulenzi bye bandikukoledde, kaakano akuzaalidde omuzzukulu ow'obulenzi, alikuzzaamu obulamu, n'okukulabirira mu bukadde bwo.”#1 Sam 1:8 16Awo Nawomi n'atwala omwana, n'amuwambaatira mu kifuba kye, n'aba omulezi we. 17Abakazi baliraanwa be ne bamutuuma erinnya nga boogera nti Nawomi azaaliddwa omwana wa bulenzi; ne bamutuuma erinnya Obedi; oyo ye kitaawe wa Yese azaala Dawudi.#1 Sam 16:1, Luk 1:59
Emikisa n'olulyo lwa Pereezi (4:18-22)
18Era kuno kwe kuzaala kwa Pereezi: Pereezi yazaala Kezulooni;#1 Byom 2:4-15, Mat 1:3-6, Luk 3:31-33 19Kezulooni n'azaala Laamu; Laamu n'azaala Amminadaabu; 20Amminadaabu n'azaala Nakusoni; Nakusoni n'azaala Salumooni; 21Salumooni n'azaala Bowaazi; Bowaazi n'azaala Obedi; 22Obedi n'azaala Yese; Yese n'azaala Dawudi.
Currently Selected:
Luusi 4: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.