Luusi 3
3
Nawomi asindika Luusi ewa Bowaazi (3:1-18)
1Awo Nawomi nnyazaala wa Luusi n'amugamba nti, “Mwana wange sisaana kukunoonyeza amaka owummule, obe bulungi?#Luus 1:9 2Kaakano Bowaazi muganda waffe taliiwo gye wabeeranga n'abazaana be? Laba awewa sayiri ekiro kino mu gguuliro.#Luus 2:1,8 3Kale naaba osaabe amafuta, oyambale ebyambalo byo, ogende mu gguuliro; naye teweraga gyali okutuusa lw'anaamala okulya n'okunywa.#2 Sam 12:20 4Awo olunaatuuka bw'anaagalamira n'eyeebaka, wekkaanye ekifo wagalamide, naawe onoyingira n'obikkula ku bigere bye, n'ogalamira awo; naye anaakubuulira bw'onookola.” 5Luusi n'amuddamu nti, “Byonna by'oyogedde naabikola.” 6N'agenda mu gguuliro, n'akola byonna nga nnyazaala we bweyamulagira. 7Awo Bowaazi bwe yamala okulya n'okunywa, omutima gwe nga gusanyuse, n'agenda ku mabbali g'entuumo y'eŋŋaano n'agalamira yeebake. Awo Luusi najja ng'asooba n'abikkula ku bigere bya Bowaazi naye n'agalamira awo. 8Awo olwatuuka mu ttumbi Bowaazi bweyawawamuka mu ttulo neyeekyusa, naatya bweyategeera nga omukazi agalamidde awali ebigere bye. 9N'abuuza nti, “Ggwe ani?” Omukazi n'addamu nti, “Nze Luusi, omuzaana wo, kale bikka ekyambalo kyo ku muzaana wo; kubanga gwe mununuzi wange.”#Luus 2:20, Ez 16:8 10Bowaazi n'amugamba nti, “Mukama akuwe omukisa mwana wange, kubanga ku nkomerero olaze obwesigwa bungi mu kika kyaffe, okusinga obwo bwe walaga nnyazaalawo olubereberye; kubanga togoberedde balenzi balala oba baavu oba bagagga.#Luus 1:8; 2:11,20 11Kale kaakano mwana wange totya; nja kukukolera byonna by'onsabye, kubanga abantu bonna mu kibuga bamanyi ng'oli mukazi mwegendereza.#Nge 12:4; 31:10 12Kya mazima ndi mununuzi wo, naye waliwo ow'oluganda omulala ansinga okuba ow'okumpi. 13Beera wano ekiro kino, bwe bunaakya enkya, tujja kulaba oba ow'oluganda anaakukolera emirimu gy'oluganda; naye bw'atakkirize kukukolera mirimu gya luganda, nze ndigikukolera, nga Mukama bw'ali omulamu, weebake obudde bukye.”#Ma 25:5, Luus 4:5, 1 Sam 14:39, 2 Sam 4:9; 12:5, 2 Bassek 2:2 14Luusi ne yeebaka okumpi n'ebigere bye okukeesa obudde. N'asituka nga obudde tebunnalaba bulungi omuntu okwekkaanya munne kubanga Bowaazi yayogera nti, “Kireme okumanyibwa ng'omukazi ono azze mu gguuliro.” 15Bowaazi n'agamba Luusi nti, “Ddira omunagiro gwo ogwalirire wansi.” Bowaazi naddira ebigero mukaaga (6) ebya sayiri n'abiyiwaako, n'abimutikka n'amusiibula addeyo mu kibuga. 16Bwe yatuuka eka, nnyazaala we n'amubuuza nti, “Bigenze bitya, mwana wange?” Luusi n'amubuulira byonna, Bowaazi by'amukoledde. 17N'amugamba nti, “Ebigero bino omukaaga (6) ebya sayiri yabimpadde n'aŋŋamba nti, ‘Toddayo wa nnyazaala wo nga tolina kantu.’ ” 18Nawomi n'amugamba nti, “Tuula osirike mwana wange, okutuusa lw'olimanya ebigambo ebyo gye birikkira; kubanga omusajja oyo tajja kuwummula okutuusa lw'anaamala okutereeza ensonga.”
Currently Selected:
Luusi 3: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.