Abaruumi 9
9
Obutuukirivu bwa Katonda eri Isiraeri n'eri ab'amawanga
(9:1—11:36)
Katonda n'abantu be abalonde
1Njogera amazima mu Kristo, sirimba, omwoyo gwange ye mujulirwa mu Mwoyo Omutukuvu, 2nga nnina ennaku nnyingi n'okulumwa okutamala mu mutima gwange. 3Kubanga nnandyagadde nze mwene okukolimirwa Kristo olwa baganda bange, ab'ekika kyange mu mubiri.#Kuv 32:32 4Aba Isiraeri; abaweebwa okufuuka abaana, n'ekitiibwa, n'endagaano, n'okuweebwa amateeka, n'okuweerezanga Katonda, n'ebyasuubizibwa;#Kuv 4:22, Ma 7:6; 14:1,2 5abalina bajjajjaabo, era omwava Kristo mu mubiri, afuga byonna, Katonda atenderezebwa emirembe gyonna. Amiina.#Bar 1:25, Mat 1:1, Luk 3:23, Yok 1:1 6Naye si kubanga ekigambo kya Katonda kyavaawo. Kubanga abava mu Isiraeri, si be Baisiraeri bonna,#Bar 2:28, Kubal 23:19 7so si kubanga lye zzadde lya Ibulayimu, kyebaava babeera abaana bonna; naye, “Mu Isaaka ezzadde lyo mwe linaayitirwanga.” 8Kwe kugamba nti, abaana ab'omubiri, abo si be baana ba Katonda; naye abaana b'okusuubiza be babalibwa okuba ezzadde. 9Kubanga ekigambo kino kye ky'okusuubiza, nti, “Ng'ebiro ebyo bwe biri ndijja, ne Saala aliba n'omwana.”#Lub 18:10 10Naye si ekyo kyokka; era naye ne Lebbeeka bwe yalina olubuto olw'omu, Isaaka jjajjaffe,#Lub 25:21 11kubanga nga tebannazaalibwa, so nga tebannakola kirungi oba kibi, okuteesa kwa Katonda mu kulonda kulyoke kunywere, si lwa bikolwa, wabula ku bw'oyo ayita, 12n'agambibwa nti, “Omukulu aliba muddu wa muto.”#Lub 25:23 13Nga bwe kyawandiikibwa nti, “Yakobo n'amwagala, naye Essawu n'amukyawa.”#Mal 1:2,3
14Kale tunaayogera tutya? Obutali butuukirivu buli eri Katonda? Nedda, n'akatono. #Ma 32:4 15Kubanga agamba Musa nti, “Ndisaasira gwe ndisaasira, era ndikwatirwa ekisa gwe ndikwatirwa ekisa.”#Kuv 33:19 16Kale bwe kityo si lwa kwagala kwa muntu oba okufuba kwe, naye lwa kusaasira kwa Katonda. #Bef 2:8 17Kubanga ebyawandiikibwa bigamba Falaawo nti, “Kyenvudde nkulekawo ggwe, ndyoke nkulage amaanyi gange, era erinnya lyange liryoke libuulirwenga mu nsi zonna.”#Kuv 9:16 18Kale bwe kityo asaasira gw'ayagala okusaasira, era akakanyaza gw'ayagala okukakanyaza.#Kuv 4:21; 7:3; 9:12; 14:4,17
Obusungu bwa Katonda n'Okusaasira kwe
19Kale onoŋŋamba nti, “Katonda kiki ekimunnenyesa nate? Kubanga ani aziyiza by'ayagala?” 20Naye ekisinga, ggwe omuntu, ggwe ani awakana ne Katonda? Ekibumbe kirigamba eyakibumba nti, “Kiki ekyakumumbisa bw'oti?”#Is 29:16; 45:9 21Oba omubumbi talina buyinza ku bbumba, mu kitole ekimu okubumba mu ekibya eky'ekitiibwa, ne mu kirala ekitali kya kitiibwa? #Yer 18:6 22Kale kiki, oba nga Katonda bwe yayagala okulaga obusungu bwe, n'okumanyisa obuyinza bwe, yagumiikiriza n'okulindirira ennyo ebibya eby'obusungu ebyateekerwateekerwa okuzikirira,#Yer 50:25 23alyoke amanyise obugagga obw'ekitiibwa kye ku bibya eby'okusaasirwa, bye yateekerateekera edda ekitiibwa,#Bef 1:3-12, Bar 2:4; 8:29 24ebibya ebyo ye ffe, n'okuyita be yayita, si mu Bayudaaya bokka, era naye ne mu b'amawanga? 25Era nga bw'ayogera mu Koseya nti, #Kos 2:23
“Abataali abantu bange,
‘ndibayita abantu bange;’
Era n'oyo ataayagalwa, ndimuyita, ‘ayagaliddwa.’ ”
26“Awo mu kifo kye baagambirwamu nti, ‘Mmwe temuli bantu bange,’
Mwe baliyitirwa, ‘abaana ba Katonda omulamu.’ ”#Kos 1:10
27Era Isaaya ayogerera waggulu ebya Isiraeri nti, “Newakubadde Omuwendo gw'abaana ba Isiraeri oba guliba ng'omusenyu gw'ennyanja, naye kitundu butundu kye kirirokoka;#Is 10:22,23, Bar 11:5 28kubanga Mukama alikola ekigambo kye ku nsi, ng'akituukiriza era ng'akisalako.” 29Era nga Isaaya bwe yasooka okwogera nti, #Is 1:9
“Singa Mukama Ow'eggye teyatulekerawo zzadde,
Twandibadde nga Sodomu, era twandifaananye nga Ggomola.”
Isiraeri n'Obutuukirivu
30Kale tunaayogera tutya? Nti ab'amawanga, abataagobereranga butuukirivu, baatuuka ku butuukirivu, bwe butuukirivu obuva mu kukkiriza;#Bar 10:20 31naye Isiraeri, mu kugobereranga amateeka ag'obutuukirivu, teyatuuka ku mateeka gali.#Bar 10:2,3 32Lwa ki? Kubanga tebaabugobereranga nga basinziira mu kukkiriza, wabula nga mu bikolwa. Beesittala ku jjinja eryo eryesittalwako,#Is 8:14 33nga bwe kyawandiikibwa nti,
“Laba, nteeka mu Sayuuni ejjinja eryesittalwako n'olwazi olulibasuula;
Era akkiriza oyo talikwasibwa nsonyi.”#Is 28:16, Mat 21:42, 1 Peet 2:6
Currently Selected:
Abaruumi 9: LBR
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: