YouVersion Logo
Search Icon

Abaruumi 8

8
Obulamu obuli mu Mwoyo
1Kale kaakano tebaliiko musango abali mu Kristo Yesu. 2Kubanga etteeka ery'Omwoyo gw'obulamu mu Kristo Yesu lyanfuula ow'eddembe ne linziggya mu tteeka ery'ekibi n'ery'okufa. #Bar 3:27; 7:23,24 3Kubanga Katonda yakola amateeka kye gatayinza kukola, kubanga manafu olw'omubiri, bwe yatuma Omwana we ye mu kifaananyi ky'omubiri ogw'ekibi, alyoke asalire omusango ekibi mu mubiri. #Yok 1:14, Baf 2:7, Bik 13:38; 15:10, Beb 2:17; 4:15 4Obutuukirivu bw'amateeka bulyoke butuukirizibwe mu ffe, abatatambula kugoberera mubiri, wabula abagoberera Omwoyo. #Bag 5:16,25 5Kubanga abagoberera omubiri, balowooza bya mubiri, naye abagoberera Omwoyo, bagoberera bya Mwoyo. 6Kubanga okulowooza kw'omubiri kwe kufa; naye okulowooza kw'Omwoyo bwe bulamu n'emirembe.#Bar 6:21 7kubanga okulowooza kw'omubiri bwe bulabe eri Katonda; kubanga tegufugibwa mateeka ga Katonda, kubanga n'okuyinza tegaguyinza: #Mat 12:34, Yak 4:4, Yok 8:43; 12:39 8n'abo abali mu mubiri tebayinza kusanyusa Katonda. 9Naye mmwe temuli mu mubiri, wabula mu Mwoyo, bwaba nga ddala Omwoyo gwa Katonda atuula mu mmwe. Naye omuntu bw'ataba na Mwoyo gwa Kristo, oyo si wuwe. #1 Kol 3:16; 12:3 10Naye oba nga Kristo ali mu mmwe, emibiri gyammwe ne bwe gifa olw'ekibi; emyoyo gyammwe giba miramu olw'obutuukirivu. #Bag 2:20, Baf 1:21, 1 Peet 4:6 11Naye oba nga Omwoyo gw'oyo eyazuukiza Yesu mu bafu atuula mu mmwe, oyo eyazuukiza Kristo Yesu mu bafu, era n'emibiri gyammwe egifa aligifuula emiramu ku bw'Omwoyo gwe atuula mu mmwe.
12Kale nno, ab'oluganda, tulina ebbanja: omubiri si gwe gutubanja, okugobereranga omubiri,#Bar 6:7,18 13kubanga bwe munaagobereranga omubiri, mugenda kufa; naye bwe munaafiisanga ebikolwa by'omubiri olw'Omwoyo, muliba balamu.#Bag 6:8, Bef 4:22-24 14Kubanga bonna abakulemberwa Omwoyo gwa Katonda, abo be baana ba Katonda. 15Kubanga temwaweebwa nate Mwoyo gwa buddu okutya, naye mwaweebwa Omwoyo ow'okufuuka abaana, gwe tuukoowoola nti, “Aba! Kitaffe!”#2 Tim 1:7, Bag 4:5,6 16Omwoyo yennyini wamu n'Omwoyo gwaffe ategeeza nga tuli baana ba Katonda.#2 Kol 1:22 17Nga bwe tuli abaana, era tuli basika, abasika ba Katonda, era abasikira awamu ne Kristo; bwe tubonaabonera awamu, era tulyoke tuweerwe wamu ekitiibwa.#Bag 4:7, Kub 21:7
Ekitiibwa kye tuliweebwa
18Kubanga ngera ng'okubonaabona okw'omu biro bya kaakati, tekwenkanankana na kitiibwa ekigenda okutubikkulirwa.#2 Kol 4:17, Bar 5:2 19Kubanga ebitonde byonna bitunuula nga byesunga okubikkulirwa kw'abaana ba Katonda. #Bak 3:4 20Kubanga ebitonde biringa ebitalina mugaso, si lwa kwagala kwabyo wabula ku bw'oyo eyayagala bibeere bwe bityo mu kusuubira. #Mub 1:2, Lub 3:17-19; 5:29 21Kubanga era n'ebitonde byennyini nabyo biriweebwa eddembe okuva mu kufugibwa okuvunda okuyingira mu ddembe ery'ekitiibwa ky'abaana ba Katonda.#2 Peet 3:13, 1 Yok 3:2 22Tumanyi ng'ebitonde byonna bisinda era birumirwa wamu okutuusa kaakano. 23Era si bitonde byokka, naye era naffe, abalina ebibala ebibereberye eby'Omwoyo, era naffe tusinda munda yaffe, nga tulindirira okufuuka abaana, kwe kununulibwa kw'omubiri gwaffe.#2 Kol 5:2, Bag 5:5 24Kubanga twalokoka lwa kusuubira, naye ekisuubirwa ekirabika si kusuubira, kubanga ani asuubira ky'alabako?#2 Kol 5:7 25Naye bwe tusuubira kye tutalabako, tukirindirira n'okugumiikiriza.
26Era bwe kityo Omwoyo atubeera mu bunafu bwaffe; kubanga tetumanyi kusaba nga bwe kitugwanira, naye Omwoyo yennyini atwegayiririra n'okusinda okutayogerekeka; 27naye akebera emitima amanyi okulowooza kw'Omwoyo bwe kuli, kubanga awolereza abatukuvu nga Katonda bw'ayagala.#Zab 139:1, 1 Kol 4:5 28Era tumanyi nti eri abo abaagala Katonda era abayitibwa ng'okuteesa kwe bwe kuli, ebintu byonna abibakolera wamu olw'obulungi.#Bef 1:11; 3:11 29Kubanga abo bonna be yamanya edda, era yabaawula dda okufaananyizibwa n'engeri y'Omwana we, abeerenga omubereberye mu b'oluganda abangi. #Bak 1:18, Beb 1:6 30Era abo be yayawula edda, abo era yabayita, era be yayita, yabawa obutuukirivu, era be yawa obutuukirivu, ekitiibwa.
Okwagala kwa Katonda
31Kale tunaayogera tutya ku ebyo? Katonda bw'abeera ku lwaffe, omulabe waffe y'ani? #Zab 118:6, Mat 1:23 32Ataagaana Mwana we ye, naye n'amuwaayo ku lwaffe fenna, era talitugabira bintu byonna wamu naye?#Yok 3:16 33Ani aliroopa abalonde ba Katonda? Katonda abawa obutuukirivu;#Is 50:8 34ani alibasalira omusango? Kristo Yesu eyafa, oba okusinga eyazuukira, ali ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, era atuwolereza.#Zab 110:1, 1 Yok 2:1 35Ani alitwawukanya n'okwagala kwa Kristo? Kulaba nnaku, oba kulumwa, oba kuyigganyizibwa, oba njala, oba kuba bwereere, oba kabi, oba kitala? 36Nga bwe kyawandiikibwa nti,
“Tuttibwa obudde okuziba, okutulanga ggwe:
Twabalibwa ng'endiga ez'okusalibwa.”#Zab 44:22, 2 Kol 4:11
37Naye mu ebyo byonna tuwangudde n'okukirawo ku bw'oyo eyatwagala.#Yok 16:33 38Kubanga ntegeeredde ddala nga newakubadde okufa, newakubadde obulamu, newakubadde bamalayika, newakubadde abafuga, newakubadde ebiriwo, newakubadde ebigenda okubaawo, newakubadde amaanyi, 39newakubadde obugulumivu, newakubadde okugenda wansi, newakubadde ekitonde kyonna ekirala, tebiiyinzenga kutwawukanya na kwagala kwa Katonda okuli mu Kristo Yesu Mukama waffe.

Currently Selected:

Abaruumi 8: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in