YouVersion Logo
Search Icon

Abaruumi 10

10
Obutuukirivu buva mu kulokoka
1Ab'oluganda, kye njagala mu mutima gwange era kye nsaba Katonda ku lwabwe kye kino, balokoke. 2Kubanga mbategeeza nga balina okunyiikiririra Katonda, naye si mu kutegeera.#Bik 22:3 3Kubanga bwe batamanya butuukirivu bwa Katonda, era bwe bagezaako okutereeza obutuukirivu bwabwe bo bennyini, tebagondera butuukirivu bwa Katonda.#Bar 9:31,32 4Kubanga Kristo ye nkomerero y'amateeka, olw'okuweesa obutuukirivu buli akkiriza.#Mat 5:17, Yok 3:18, Beb 8:13
5Kubanga Musa awandiika nti, omuntu akola obutuukirivu obuva mu mateeka aliba mulamu mu bwo. #Leev 18:5, Bag 3:12 6Naye obutuukirivu obuva mu kukkiriza bwogera bwe buti nti, Toyogeranga mu mutima gwo nti, “Ani alirinnya mu ggulu?” Okwo kwe kuleeta Kristo wansi; #Ma 30:12,13 7newakubadde nti, “Ani alikka emagombe?” Okwo kwe kulinnyisa Kristo okuva mu bafu. 8Naye bwogera butya? Nti, Ekigambo kiri kumpi naawe, mu kamwa ko, ne mu mutima gwo, kye kigambo eky'okukkiriza kye tubuulira;#Ma 30:14 9kubanga bw'oyatula Yesu nga ye Mukama n'akamwa ko, n'okkiriza mu mutima gwo nti Katonda yamuzuukiza mu bafu, olirokoka.#2 Kol 4:5 10Kubanga omuntu akkiriza na mutima okuweebwa obutuukirivu, era ayatula na kamwa ke okulokoka. 11Kubanga ebyawandiikibwa byogera nti, “Buli amukkiriza talikwasibwa nsonyi.”#Is 28:16 12Kubanga tewali njawulo ya Muyudaaya na Muyonaani; Mukama waabwe bonna ye omu, era awa obugagga eri abo bonna abamukaabirira. #Bik 10:34; 15:9 13Kubanga, buli alikoowoola erinnya lya Mukama alirokoka.#Yo 2:32 14Naye balikoowoola batya gwe batannakkiriza? Era balikkiriza batya gwe batannawulirako? Era baliwulira batya awatali abuulira? 15Era balibuulira batya nga tebatumiddwa? Nga bwe kyawandiikibwa nti, “Ebigere byabwe nga birungi abo abaleeta ebigambo ebirungi!” #Is 52:7
16Naye bonna tebaagondera Njiri. Kubanga Isaaya ayogera nti, “Mukama, ani eyakkiriza ekigambo kyaffe?”#Is 5:1 17Kale okukkiriza kuva mw'ekyo ekiwuliddwa, n'ekiwuliddwa kiva mu kubuulira Kristo. #Yok 17:20 18Naye mbuuza, Tebawuliranga? Weewaawo, ddala, baawulira
Kubanga, “Eddoboozi lyabwe lyabuna mu nsi zonna,
N'ebigambo byabwe okutuuka ku nkomerero z'ensi.”#Zab 19:4
19Era nate mbuuza, Isiraeri tategeeranga? Musa ye yasooka okwogera nti,
“Ndibakwasa obuggya eri abo abatali ggwanga,”
Eri eggwanga eritalina magezi ndibasunguwaza.#Ma 32:21
20Era Isaaya aguma nnyo n'ayogera nti,
“Navumbulibwa abo abatannoonyanga,”
Nneeraga eri abo abatambuulirizangako.#Is 65:1
21Naye eri Isiraeri ayogera nti, “Obudde okuziba nnagololera emikono gyange abantu abajeemu era abatawulira.” #Is 65:2

Currently Selected:

Abaruumi 10: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in