YouVersion Logo
Search Icon

Abaruumi 7

7
Amateeka galina we gakoma okufuga: eky'okulabirako eky'obufumbo
1Oba temumanyi, ab'oluganda kubanga ŋŋamba abategeera amateeka, ng'amateeka gafuga omuntu ng'akyali mulamu? 2Kubanga omukazi afugibwa bba ng'akyali mulamu; naye bba bw'afa, ng'asumuluddwa mu mateeka ga bba. 3Kale bwe kityo bba bw'aba ng'akyali mulamu bw'anaabanga n'omusajja omulala, anaayitibwanga mwenzi, naye bba bw'afa, nga asumuluddwa eri amateeka, era bw'afumbirwa omusajja omulala olwo aba si mwenzi. 4Bwe kityo, ab'oluganda, era nammwe mwafa ku mateeka olw'omubiri gwa Kristo, mubeere n'omulala, ye oyo eyazuukizibwa mu bafu, tulyoke tubalirenga Katonda ebibala.#Bak 2:14 5Kubanga bwe twabanga mu mubiri, okwegomba okubi, okuliwo olw'amateeka, kwakolanga mu bitundu byaffe ne kubaliranga okufa ebibala. #Bar 6:21 6Naye kaakano twasumululwa mu mateeka, bwe twafa ku ekyo ekyabanga kitufuga, tuleme okuweerereza mu nnukuta ez'edda, naye tuweerereze mu bulamu obuggya obw'Omwoyo.#Bar 8:1,2; 6:2,4
Amateeka n'ekibi
7Kale tunaayogera tutya? Amateeka kye kibi? Nedda, n'akatono. Naye ssanditegedde kibi, wabula mu mateeka, kubanga ssandimanye kwegomba, singa amateeka tegaayogera nti Teweegombanga: #Kuv 20:14,17, Ma 5:18,21 8naye ekibi bwe kyalaba omukisa mu mateeka, kyaleeta mu nze okwegomba okwengeri zonna. Kubanga awataba mateeka ekibi nga kifudde. #Bar 5:13 9Nange edda nnabanga mulamu awatali mateeka, naye ekiragiro bwe kyajja, okwonoona ne kuzuukira, nange ne nfa; 10n'ekiragiro ekyali eky'okuleeta obulamu, ekyo ne kirabika gye ndi nga eky'okuleeta okufa:#Yak 1:15, Leev 18:5 11kubanga ekibi, bwe kyalaba we kisinziira olw'ekiragiro, ne kinnimba, era olw'ekiragiro ne kinzita.#Beb 3:13 12Bwe kityo amateeka matukuvu, n'ekiragiro kitukuvu, kya mazima era kirungi. #1 Tim 1:8 13Kale ekirungi kyaleeta okufa gye ndi? Nedda n'akatono! Kyali kibi ekyaleeta okufa mu nze nga kuyita mu kirungi, mu ngeri nti ekibi ekyo kirabisibwe okuba ekibi, era okuyita mu kiragiro nfuuke omwonoonyi ddala. #Bar 5:20
Olutalo lw'okwonoona oluli mu muntu
14Kubanga tumanyi ng'amateeka ga mwoyo; naye nze ndi wa mubiri, natundibwa okufugibwanga ekibi. #Zab 51:5, Yok 3:6 15Kubanga kye nkola, ssikimanyi; kubanga kye njagala si kye nkola; naye kye nkyawa kye nkola. 16Naye oba nga kye ssaagala kye nkola, nzikiriza nga amateeka amalungi. 17Kale kaakano si nze nkikola nate, wabula ekibi ekituula mu nze. 18Kubanga mmanyi nga mu nze, gwe mubiri gwange, temutuula kirungi; mpulira nga njagala okukola ekirungi, naye nga sisobola. #Lub 6:5; 8:21 19Kubanga kye njagala ekirungi ssikikola, naye kye ssaagala ekibi kye nkola. 20Naye oba nga kye ssaagala kye nkola, si nze nkikola nate, wabula ekibi ekituula mu nze. 21Bwe kityo ndaba etteeka nti, nze bwe njagala okukola ekirungi, ekibi kimbeera kumpi. 22Kubanga nsanyukira amateeka ga Katonda mu muntu ow'omunda, 23naye ndaba etteeka eddala mu bitundu byange nga lirwana n'etteeka ly'amagezi gange, era nga lindeeta mu bufuge wansi w'etteeka ly'ekibi eriri mu bitundu byange.#Bag 5:17, Yak 4:1, 1 Peet 2:11 24Nze nga ndi muntu munaku! Ani alindokola mu mubiri ogw'okufa kuno? 25Nneebaza Katonda ku bwa Yesu Kristo Mukama waffe. Kale bwe kityo nze nzekka mu magezi ndi muddu wa mateeka ga Katonda, naye mu mubiri wa tteeka lya kibi.#1 Kol 15:57

Currently Selected:

Abaruumi 7: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in