YouVersion Logo
Search Icon

Abaruumi 6

6
Okubatizibwa kitegeeza kufa ku kibi
1Kale tunaayogera tutya? Tunyiikirenga okukola ekibi ekisa kyeyongerenga?#Bar 3:5-8 2Nedda n'akatono! Abaafa ku kibi, tunaabeeranga tutya abalamu mu kyo nate? 3Temumanyi nti ffe fenna, abaabatizibwa okuyingira mu Kristo Yesu, era twabatizibwa kuyingira mu kufa kwe? 4Bwe twabatizibwa, twaziikibwa wamu naye, nga Kristo bwe yazuukizibwa mu bafu olw'ekitiibwa kya Kitaawe, bwe tutyo naffe tutambulirenga mu bulamu obuggya.#1 Peet 3:21, Bak 2:12 5Kuba oba nga twagattibwa wamu naye mu kufa kwe, era tuligattibwa wamu naye ne mu kuzuukira kwe.#Baf 3:10,11 6Tumanyi nti omuntu waffe ow'edda yakomererwa wamu naye, omubiri gw'ekibi gulyoke guzikirizibwe, tuleme okubeeranga nate abaddu b'ekibi. #Bag 5:24 7Kubanga afudde aba takyafugibwa kibi. #1 Peet 4:1 8Naye oba nga twafiira wamu ne Kristo, era tukkiriza nga tulibeera balamu wamu naye. 9Tumanyi nti nga Kristo bwe yamala okuzuukizibwa mu bafu takyafa nate; okufa tekukyamufuga. 10Kubanga okufa kwe yafa yafa ku kibi omulundi gumu, naye obulamu bw'alina, ali nabwo eri Katonda.#Beb 9:26-28, Bag 2:19, 1 Peet 2:24 11Bwe mutyo nammwe mwerowoozenga okubeera abafa ku kibi, naye abalamu eri Katonda mu Kristo Yesu.
12Kale ekibi kiremenga okufuga mu mubiri gwammwe ogufa, ne mugondera okwegomba kwagwo. #Lub 4:7 13Temuwangayo bitundu byammwe eri ekibi okubikozesa obutali butuukirivu; naye mwewengayo eri Katonda, ng'abalamu abaava mu bafu, n'ebitundu byammwe okubeeranga eby'okukozesa obutuukirivu eri Katonda. #Bar 12:1, Bef 2:5; 5:14 14Kubanga ekibi tekiibenga mukama wammwe; kubanga amateeka si ge gabafuga, wabula ekisa.#1 Yok 3:6
Tufuuke baddu ba butuukirivu
15Kale tukole tutya? Tukolenga ekibi, kubanga amateeka si ge gatufuga, wabula ekisa? Nedda n'akatono! #Bar 5:17,21 16Temumanyi nga gwe mwewa okuba abaddu, muba baddu b'oyo gwe muwulira, oba ab'ekibi okuleeta okufa, oba ob'okuwulira okuleeta obutuukirivu? #Yok 8:34, 2 Peet 2:19 17Naye Katonda yeebazibwe, kubanga mmwe abali abaddu b'ekibi, mwawulira n'omutima gwammwe gwonna, ebyo ebiri mu njigiriza gye mwaweebwa. 18Kale bwe mwaweebwa eddembe okuva mu kibi, mwafuuka baddu b'obutuukirivu. #Yok 8:32 19Njogera mu buntu olw'obunafu bw'omubiri gwammwe, kuba nga bwe mwawangayo ebitundu byammwe okuba abaddu eri obugwagwa n'eri obujeemu okujeemanga, bwe mutyo kaakano muwengayo ebitundu byammwe okubanga abaddu eri obutuukirivu okutukuzibwa. 20Kubanga bwe mwabanga abaddu b'ekibi, mwabanga ba ddembe eri obutuukirivu. 21Kale bibala ki bye mwalina mu biro biri eby'ebigambo ebibakwasa ensonyi kaakano? Kubanga enkomerero yaabyo kufa.#Ez 16:61,63, Bar 8:6,13 22Naye kaakano bwe mwaweebwa eddembe okuva mu kibi, ne mufuuka abaddu ba Katonda, mulina ebibala byammwe olw'okutukuzibwa, n'enkomerero bulamu obutaggwaawo.#1 Peet 1:9 23Kubanga empeera y'ekibi kwe kufa; naye ekirabo eky'obuwa ekya Katonda bwe bulamu obutaggwaawo mu Kristo Yesu Mukama waffe.#Bar 5:12

Currently Selected:

Abaruumi 6: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in