1
Abaruumi 6:23
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Kubanga empeera y'ekibi kwe kufa; naye ekirabo eky'obuwa ekya Katonda bwe bulamu obutaggwaawo mu Kristo Yesu Mukama waffe.
Compare
Explore Abaruumi 6:23
2
Abaruumi 6:14
Kubanga ekibi tekiibenga mukama wammwe; kubanga amateeka si ge gabafuga, wabula ekisa.
Explore Abaruumi 6:14
3
Abaruumi 6:4
Bwe twabatizibwa, twaziikibwa wamu naye, nga Kristo bwe yazuukizibwa mu bafu olw'ekitiibwa kya Kitaawe, bwe tutyo naffe tutambulirenga mu bulamu obuggya.
Explore Abaruumi 6:4
4
Abaruumi 6:13
Temuwangayo bitundu byammwe eri ekibi okubikozesa obutali butuukirivu; naye mwewengayo eri Katonda, ng'abalamu abaava mu bafu, n'ebitundu byammwe okubeeranga eby'okukozesa obutuukirivu eri Katonda.
Explore Abaruumi 6:13
5
Abaruumi 6:6
Tumanyi nti omuntu waffe ow'edda yakomererwa wamu naye, omubiri gw'ekibi gulyoke guzikirizibwe, tuleme okubeeranga nate abaddu b'ekibi.
Explore Abaruumi 6:6
6
Abaruumi 6:11
Bwe mutyo nammwe mwerowoozenga okubeera abafa ku kibi, naye abalamu eri Katonda mu Kristo Yesu.
Explore Abaruumi 6:11
7
Abaruumi 6:1-2
Kale tunaayogera tutya? Tunyiikirenga okukola ekibi ekisa kyeyongerenga? Nedda n'akatono! Abaafa ku kibi, tunaabeeranga tutya abalamu mu kyo nate?
Explore Abaruumi 6:1-2
8
Abaruumi 6:16
Temumanyi nga gwe mwewa okuba abaddu, muba baddu b'oyo gwe muwulira, oba ab'ekibi okuleeta okufa, oba ob'okuwulira okuleeta obutuukirivu?
Explore Abaruumi 6:16
9
Abaruumi 6:17-18
Naye Katonda yeebazibwe, kubanga mmwe abali abaddu b'ekibi, mwawulira n'omutima gwammwe gwonna, ebyo ebiri mu njigiriza gye mwaweebwa. Kale bwe mwaweebwa eddembe okuva mu kibi, mwafuuka baddu b'obutuukirivu.
Explore Abaruumi 6:17-18
Home
Bible
Plans
Videos