YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 118

118
Okwebaza Katonda olw'obulokozi bwe
1Mwebaze Mukama, kubanga mulungi;
okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.#1 Byom 16:34, Zab 100:5, Yer 33:11
2Isiraeri ayogere kaakano
Nti, “okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.”#Zab 115:9-11
3Ennyumba ya Alooni eyogere kaakano
Nti, “okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.”
4Abo abatya Mukama boogere kaakano
Nti, “okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.”
5Bwe nnali mu nnaku ne nkoowoola Mukama;
Mukama n'ampitaba, n'agimponya.#Zab 18:6,19
6Mukama ali ku luuyi lwange, sitya.
Abantu bayinza kunkola ki?#Zab 56:9,11, Bar 8:31, Beb 13:6
7Mukama ali ku luuyi lwange okunnyamba;
Abalabe bange nnaabatunuuliranga n'amaaso ag'obuwanguzi.#Zab 54:4,7
8Kirungi okwesiganga Mukama
Okusinga okwesiga abantu.#Zab 40:4, Yer 17:5,7
9Kirungi okwesiganga Mukama
Okusinga okwesiga abalangira.#Zab 146:3, Is 30:1-3
10Amawanga gonna ganneetoolodde,
Mu linnya lya Mukama ndigazikiriza.#Zab 88:17
11Ganneetoolodde, ganneetoolodde buli ludda;
Mu linnya lya Mukama ndigazikiriza.
12Banneetoolodde ng'enjuki;
bazikidde ng'omuliro ogw'omu maggwa;
Mu linnya lya Mukama ndibazikiriza.#Ma 1:44, Zab 58:9
13Bannumba n'amaanyi mangi, ne mbulako katono okugwa;
Naye Mukama n'annyamba.
14Mukama ge maanyi gange, lwe luyimba lwange;
afuuse obulokozi bwange.#Kuv 15:2, Is 12:2
15Muwulire, ennyimba ez'obuwanguzi
ziri mu weema ez'abatuukirivu;
Omukono ogwa ddyo ogwa Mukama gukola eby'obuzira.#Kuv 15:6, Luk 1:51
16Omukono ogwa ddyo ogwa Mukama gugulumizibwa;
Omukono ogwa ddyo ogwa Mukama gukola eby'obuzira.
17Sijja kufa, naye nja kuba mulamu,
Era nnaabuuliranga emirimu gya Mukama.#Zab 6:5; 73:28; 107:22
18Mukama ambonerezza nnyo,
Naye tampaddeyo kufa.#Yer 30:11, 2 Kol 6:9
19Munzigulirewo enzigi ez'obutuukirivu;
Nnyingire, nneebaze Mukama.#Is 26:2
20Olwo lwe luggi lwa Mukama;
Abatuukirivu be baliyingiramu.#Zab 24:7, Kub 21:27; 22:14
21Nkwebaza, kubanga onzizeemu,
Era ofuuse obulokozi bwange.#Zab 27:1; 116:1
22Ejjinja abazimbi lye baagaana
Lifuuse ekkulu ery'oku nsonda.#Is 28:16, Mak 12:10,11, Bik 4:11, Bef 2:20, 1 Peet 2:4,7
23Ekyo Mukama ye yakikola;
Kya kitalo mu maaso gaffe.#1 Peet 2:4,7
24Luno lwe lunaku Mukama lw'akoze;
Tusanyuke, tulujagulizeeko.
25Tulokole, tukwegayiridde, Ayi Mukama;
Ayi Mukama, tukwegayiridde, otuwe obuwanguzi.
26Alina omukisa oyo ajja mu linnya lya Mukama.
Tubasabidde omukisa nga tuli mu nnyumba ya Mukama.#Mat 23:39, Mak 11:9, Yok 12:13
27Mukama ye Katonda,
era atuwadde omusana;
Mukumbire wamu nga mukutte amatabi,
ekiweebwayo kyammwe kituukire ddala ku mayembe g'ekyoto.#Kuv 27:2, Zab 97:11
28Ggwe oli Katonda wange, nange nnaakwebazanga;
Ggwe oli Katonda wange, nnaakugulumizanga.#Kuv 15:2, Zab 99:5, Is 25:1
29Kale mumwebaze Mukama, kubanga mulungi;
Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.#Zab 118:1

Currently Selected:

Zabbuli 118: LBR

Highlight

Share

Compare

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in