Abafiripi 2
2
Okuweerereza mu kulowooza okwali mu Kristo
(2:1-30)
1Kale oba nga waliwo okubazamu amaanyi kwonna mu Kristo, oba okusikiriza kwonna okw'okwagala, oba okussa ekimu kwonna mu Mwoyo, oba okwagala okw'engeri yonna n'okusaasira, 2mutuukirize essanyu lyange, mulowoozenga bumu, nga mulina okwagala kumu, omwoyo gumu, nga mulowooza bumu. 3Temukolanga kintu kyonna lwa kweyagaliza mwekka, oba mu bukuusa, wabula mu buwombeefu buli muntu agulumizenga munne okusinga bwe yeegulumiza yekka.#Bag 5:26, Bar 12:10 4Buli muntu tatunuulira bibye yekka, naye buli omu ng'afaayo ne ku by'abalala. #1 Kol 10:24,33 5Mmwe mubeemu okulowooza okwo, okwali mu Kristo Yesu, 6ye newakubadde nga yali mu kifaananyi kya Katonda, teyeerowooza kwenkanankana na Katonda, #Yok 1:1,2; 17:5, Lub 1:27; 3:5 7naye yeeggyako ekitiibwa, bwe yatwala engeri y'omuddu, n'azaalibwa ng'omuntu. #Is 53:3, 2 Kol 8:9, Beb 2:14,17 8Era bwe yalabikira mu mutindo ogw'obuntu, ne yeetoowaza, nga muwulize okutuusa okufa, era okufa okw'oku musalaba.#Beb 12:2; 5:8, Yok 10:17 9Era Katonda kyeyava amugulumiza ennyo n'amuwa erinnya liri erisinga amannya gonna;#Bik 2:33, Bef 1:21, Beb 1:3,4 10nti olw'erinnya lya Yesu, buli vviivi lifukaamire, ery'abo abali mu ggulu n'abali ku nsi n'abali wansi w'ensi,#Is 45:23, Yok 5:23, Kub 5:13 11era buli lulimi lwatulenga nga Yesu Kristo ye Mukama waffe, Katonda Kitaffe aweebwe ekitiibwa.
12Kale, abaagalwa bange, nga bwe mubadde abawulize bulijjo nga ndi nammwe, naye kaakano nga ssiriiwo, mweyongere okuba abawulize. Mutuukirizenga obulokozi bwammwe bennyini n'okutya n'okukankana;#1 Peet 1:17, Zab 2:11 13kubanga Katonda akolera mu mmwe, yabaagazisa era n'abasobozesa n'okukola, by'asiima.#Yok 15:5, 2 Kol 3:5, 1 Bas 2:13 14Mukolenga byonna awatali kwemulugunyanga n'empaka;#1 Peet 4:9 15mulemenga okubaako kye munenyezebwa newakubadde ettima, abaana ba Katonda abatalina mabala wakati w'emirembe egyakyama emikakanyavu, gye mulabikiramu ng'ettaala mu nsi,#Mat 5:14; 10:16, Baf 1:10, Bef 5:8, Ma 32:5, Bik 2:40 16ngamunywezeza ekigambo eky'obulamu; ndyoke mbeere n'okwenyumiriza ku lunaku lwa Kristo, okulaga nti ssaddukira bwereere, so ssaafubira busa. #1 Bas 2:19, Bag 2:2, Is 49:4; 65:23 17Naye newakubadde nga nfukibwa ku ssaddaaka n'okuweereza okw'okukkiriza kwammwe, nsanyuka era nsanyukira wamu nammwe mwenna:#Bar 15:16, 2 Tim 4:6 18era nammwe bwe mutyo musanyuke era musanyukire wamu nange.#Baf 3:1; 4:4
19Naye nsuubira mu Mukama waffe Yesu, okubatumira amangu Timoseewo, nange ndyoke ngume omwoyo, bwe ndimala okutegeera ebifa gye muli. 20Kubanga sirina muntu mulala alina emmeeme eyenkana n'ey'oyo, aligenderera ebyammwe mu mazima.#1 Kol 16:10 21Kubanga abo bonna beenoonyeza byabwe ku bwabwe, si bya Yesu Kristo.#2 Tim 4:10,16, Bag 4:17 22Naye Timoseewo mumanyi nga bw'asaanira, kubanga yaweerezanga wamu nange olw'Enjiri, ng'omwana eri kitaawe. 23Kale oyo gwe nsuubira okubatumira amangu ddala nga ntegedde embeera nga bwe n'ebeera gye ndi, 24naye nange nsuubira mu Mukama waffe nti ndijja mangu.#Baf 1:25 25Era ndabye nga kigwanye okubatumira Epafuloddito muganda wange, era mukozi munnange, era mulwanyi munnange, naye ye mutume wammwe era omuweereza w'ebintu bye nneetaaga;#Baf 4:18 26kubanga yabalumirwa omwoyo mmwe mwenna, ne yeeraliikirira nnyo, kubanga mwawulira nga yalwala: 27Ddala okulwala yalwala era yali kumpi n'okufa, naye Katonda yamusaasira; so si ye yekka, naye era nange, ennaku n'eteenneeyongera. 28Kyenva njagala ennyo okumutuma, bwe mulimulaba nate mulyoke musanyuke, nange nkendeeze ku kunakuwala kwange. 29Kale mu mwanirize mu Mukama waffe n'essanyu lingi, era abafaanana ng'oyo mubassengamu ekitiibwa, #1 Kol 16:16, 1 Tim 5:17 30kubanga yabulako katono okufa olw'omulimu gwa Kristo, bwe yawaayo obulamu bwe ng'akola ebyo bye mwandinkoledde singa mwali nange.
Currently Selected:
Abafiripi 2: LBR
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: