Abafiripi 3
3
Okutegeera Kristo ge magoba
(3:1-21)
Obujulirwa bwa Pawulo
1Eky'enkomerero, ab'oluganda, musanyukirenga Mukama waffe. Okuddamu okubawandiikira ebyo bye nnabawandiikira edda tekunkooya nze, naye kirungi eri mmwe.#Baf 2:18; 4:4 2Mwekuumenga embwa, mwekuumenga abakola ebibi, mwekuumenga abekomola omubiri.#Kub 22:15 3Kubanga ffe bakomole abatuufu, abasinza Katonda mu Mwoyo, era abeenyumiririza mu Kristo Yesu, era abateesiga mubiri. #Bar 2:29 4Newakubadde nga nze nnyinza okuba n'ensonga okwesiga omubiri: omuntu omulala yenna bw'alowooza okwesiga omubiri, nze mmusinga:#2 Kol 11:18,22 5nze nnakomolerwa ku lunaku olw'omunaana, ow'omu ggwanga lya Isiraeri, ow'omu kika kya Benyamini, Omwebbulaniya wawu; mu mateeka ndi Mufalisaayo;#Bik 26:5, Luk 1:59; 2:21 6mu kunyiikira, nga njigganya ekkanisa; mu butuukirivu obuli mu mateeka, nnalabikanga nga ssiriiko kya kunenyezebwa. 7Naye byonna ebyali amagoba gye ndi, ebyo nnabirowooza nga kufiirwa olwa Kristo.#Mat 13:44,46 8Naye era n'ebintu byonna mbirowooza nga kufiirwa olw'omuwendo omungi ogusinga oguli mu kutegeera Kristo Yesu Mukama wange, ku bw'oyo nnafiirwa ebintu byonna, era mbirowooza okubeera nga mpitambi,#3:8 Empitambi Baibuli endala zikozesa ekigambo ebisasiro. ndyoke nfune amagoba ye Kristo, 9era ndyoke ndabikire mu ye, nga ssirina butuukirivu bwange obuva mu mateeka, wabula obutuukirivu obuliwo olw'okukkiriza Kristo, obuva eri Katonda mu kukkiriza:#Bar 3:21,22 10ndyoke mmutegeere ye n'obuyinza obw'okuzuukira kwe era n'okugabana ku bibonoobono bye, nga mmufaanana ne mu kufa kwe;#Bar 6:3-5; 8:17, Bag 6:17 11era bwe kiba kiyinzika nfune okuzuukira mu bafu.#Bik 4:2, Kub 20:5,6 12Si kugamba nti mmaze okukifuna oba nti mmaze okutuukirira, naye nfuba okukifuna, kubanga Kristo Yesu yanfuula owuwe.#1 Tim 6:12, Bik 9:6 13Ab'oluganda, ssirowooza nga mmaze okukifuna, naye ekintu kimu kye nkola, kwe kwerabira ebyo ebiri emabega, nkununkiriza ebyo ebiri mu maaso, 14nduubirira okutuuka awawakanirwa awali empeera ey'okuyita kwa Katonda okwa waggulu mu Kristo Yesu.#1 Kol 9:24 15Kale ffe fenna abakuze mu mwoyo, tulowoozenga ekyo: naye oba nga mulowooza bulala, na kino Katonda alikibabikulira, #1 Kol 2:6 16naye ka tunywerere ku ekyo kye tutuuseeko. #Bag 6:16
Pawulo yanakuwala olw'abo abaafuuka abalabe ba Kristo
17Ab'oluganda, mukkirize okundabirako, era mugobererenga abo abatambula nga ffe be mulina nga ekyokulabirako.#1 Kol 11:1, 1 Bas 1:7, 1 Peet 5:3 18Kubanga bangi abatambula be nnababuulirako emirundi emingi, ne kaakano mbabuulira nga nkaaba amaziga, nga be balabe ab'omusalaba gwa Kristo,#1 Kol 1:23, Bag 6:12 19enkomerero yaabwe kwe kuzikirira, katonda waabwe lwe lubuto, era ekitiibwa kyabwe kiri mu nsonyi zaabwe, balowooza bya mu nsi.#Bar 16:18 20Kubanga ffe ewaffe mu ggulu; era gye tulindiririra Omulokozi okuvaayo, Mukama waffe Yesu Kristo:#Bef 2:6, Bak 3:1, Beb 12:22 21aliwaanyisa omubiri ogw'okutoowazibwa kwaffe okufaananyizibwa ng'omubiri ogw'ekitiibwa kye, ng'okukola okwo bwe kuli okumuyinzisa n'okussa ebintu byonna wansi we.#1 Kol 15:43,49,53
Currently Selected:
Abafiripi 3: LBR
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: