Abafiripi 1
1
Okulamusa n'okusaba
(1:1-11)
Okulamusa abawandiikirwa ebbaluwa
1Pawulo ne Timoseewo, abaddu ba Kristo Yesu, eri abatukuvu bonna mu Kristo Yesu abali mu Firipi, wamu n'abalabirizi n'abaweereza,#1 Kol 1:2, 1 Tim 3:1,8 2ekisa kibeerenga gye muli n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo.#Bar 1:7
Okwebaza
3Nneebaza Katonda wange buli lwe mbajjukira,#Bar 1:8, 1 Kol 1:4 4buli lwe mbasabira mwenna nsaba nga nzijudde essanyu, 5olw'okuba nga okuviira ddala ku lubereberye n'okutuusa kaakano muli wamu nange mu mulimu ogw'okubunya Enjiri. 6Era nkakasiza ddala ng'oyo eyatandika omulimu omulungi mu mmwe aligutuukiriza okutuusa ku lunaku lwa Yesu Kristo.#Baf 2:13, 1 Kol 1:6-8 7Kirungi ddala nze okubalowoozaako bwe ntyo mwenna, kubanga mundi mu mutima gwange, kubanga mwenna mugabana awamu nange mu kisa, mu kusibibwa kwange era ne mu kuwolerezanga Enjiri n'okuginywezanga. 8Kubanga Katonda ye mujulirwa wange, kubanga alaba nga bwe mbayaayaanira n'okwagala kwa Kristo Yesu.#Bar 1:9, 2 Kol 1:23, 1 Bas 2:5
Okusaba kwa Pawulo
9Era kino kye nsaba okwagala kwammwe kweyongerere ddala, nga kulimu okutegeera n'okwawula kwonna, 10mulyoke musiimenga ebisinga obulungi; mubeerenga abalongoofu era abataliiko kya kunenyezebwa okutuusa ku lunaku lwa Kristo;#Bar 2:18; 12:2, 1 Bas 5:23, Beb 5:14 11nga mujjudde ebibala eby'obutuukirivu, ebiyita mu Yesu Kristo, olw'ekitiibwa n'okutendereza Katonda. #Bef 5:9; 1:6,12,14, Yok 15:8
Pawulo ayogera ku kusibibwa kwe
(1:12-30)
12Naye njagala mmwe okutegeera, ab'oluganda, ng'ebyambaako byongedde bwongezi kubunya bubunya njiri; #2 Tim 2:9 13era kino kiretedde abasserikale abakuuma kabaka, wamu n'abalala bonna okutegeera nti nnasibibwa lwa Kristo, #Baf 4:22, Bef 3:1 14n'ab'oluganda bangi okusibwa kwange kwongedde okubagumya, era beeyongedde okufuna obuvumu okubuulira ekigambo kya Katonda nga tebatya. 15Abalala babuulira Kristo lwa buggya n'akuvuganya, naye abalala babuulira lwa bulungi. 16Bano babuulira lwa kwagala, nga bamanyi nga nnateekebwawo lwa kuwolerezanga Enjiri; 17naye bali babuulira Kristo lwa kwawula, si mu bwesimbu, nga balowooza nga banaayongera okundeetera ennaku mu busibe bwange. 18Naye n'ekyo nsonga? Mu ngeri zonna, oba za bukuusa oba za mazima, Kristo abuulirwa, nze n'emw'ekyo nsanyuka busanyusi.#Baf 2:17,18 19Ddala nteekwa okusanyuka, kubanga mmanyi nti olw'okusaba kwammwe, n'olw'obuyambi bw'Omwoyo wa Kristo, ndisumululwa. #Yob 13:16, 2 Kol 1:11 20Kino kye nduubirira era kye nsuubira nti ssirikwatibwa nsonyi mu kigambo kyonna, naye nja kuba muvumu nga bulijjo, Kristo, agulumizibwe mu mubiri gwange, oba mu bulamu oba mu kufa.#1 Peet 4:16 21Kubanga nze mba mulamu lwa Kristo, ate ne bwe nfa ngobolola. #Bag 2:20 22Naye oba ng'okuba omulamu mu mubiri, kye kibala eky'okufuba kwange, kale ssimanyi kye nneeroboza.#Bar 1:13 23Naye nyigirizibwa eruuyi n'eruuyi, nga nneegomba okugenda okubeera ne Kristo, kubanga ekyo kye kisingako obulungi. 24Naye okubeera mu mubiri kye kisinga okwetaagibwa ku lwammwe. 25Kino nkikakasa kubanga ntegeeredde ddala nga nja kuba nkyaliwo mbeere nammwe, mulyoke mweyongere okukula, n'okusanyukira mu kukkiriza, 26bwe ndikomawo nate gye muli, mulyoke mweyongere okwenyumiririza Kristo Yesu ku lwange. 27Naye kyokka embeera z'obulamu bwammwe, zibeere nga bwe kigwanira Enjiri ya Kristo, bwe ndijja okubalabako oba nga ssiriiwo, ndyoke mpulire ebifa gye muli, nga munywedde mu mwoyo gumu, nga mulwaniriranga okukkiriza okw'Enjiri n'emmeeme emu;#Bak 1:10, Baf 4:3, 1 Bas 2:12 28era nga temukangibwa balabe mu kigambo kyonna, kabeere akabonero ddala gyebali ak'okuzikirira, naye eri mmwe ka bulokozi, obuva eri Katonda; 29kubanga mwaweebwa ku lwa Kristo ekisa, si kya kumukkiriza kwokka, era naye n'okubonaabonanga ku lulwe. 30Muli mu lutalo lwe mwalaba nga nnwana, era lwe muwulira nga nkyaluliko. #Bik 16:22
Currently Selected:
Abafiripi 1: LBR
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: