Abafiripi Ennyanjula
Ennyanjula
Ebbaluwa eno yawandiikibwa omutume Pawulo nga agiwandiikira abakkiriza mu kkanisa y'omu Firipi. Yagiwandiika okubeebaza olw'obuyambi bwe bamuweereza ng'ali mu kkomera. Ebbaluwa ejjudde essanyu n'okwebaza okungi. Mu bbaluwa eno era Pawulo mwabategereza amawulire ag'essanyu ag'okusuuka kw'ow'oluganda Epafuladito gwe baawa obuyambi okubumuleetera, eyali alwadde, era yali okomawo gyebali. Pawulo yeebaza olw'Enjiri ya Kristo okubuulirwa newakubadde abali bagibuulira bali beenoonyeza byabwe. Pawulo era abasaba babeere bumu, nga balabira ku Kristo mu buweereza bwabwe, eyeggyako ekitiibwa kye kyonna nnaggya okulokola abantu (2:1-11). Ebbaluwa eno yagiwandiikira mu kkomera mu mwaka gwe 60 AD.
Ebiri mu bbaluwa
I. Okulamusa n'okusaba (1:1-11).
II. Pawulo ayogera ku kusibibwa kwe (1:12-30).
III. Okuweerereza mu kulowooza okwali mu Kristo (2:1-30).
IV. Okutegeera Kristo ge magoba (3:1-21).
V. Okumaliriza: (4:1-23).
Currently Selected:
Abafiripi Ennyanjula: LBR
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: