YouVersion Logo
Search Icon

Okubala 8

8
Okussa ettaala ku kikondo
1Mukama n'ayogera ne Musa nti, 2Yogera ne Alooni omugambe nti, “Bw'onoobanga oteeka ettaala omusanvu ku kikondo kyazo, onooziterezanga ne zimulisa mu maaso g'ekikondo.”#Kuv 25:37 3Alooni n'akola bw'atyo; n'ateeka ettaala ku kikondo ne zimulisa mu maaso g'ekikondo nga Mukama bwe yalagira Musa.#Kuv 40:25 4Ekikondo kino kyaweesebwa kyonna mu zaabu okuva ku ntobo yaakyo okutuuka ku bimuli byakyo; ng'ekifaananyi kyakyo bwe kyali Mukama kye yalagira Musa. Naye bw'atyo bwe yakikola.#Kuv 25:31,40
Okutukuza n'okwawula Abaleevi
5Mukama n'agamba Musa nti, 6“Yawula Abaleevi mu baana ba Isiraeri, obatukuze. 7Era bw'oti bw'onoobakola okubatukuza: nga omansira ku bo amazzi ag'okubatangirira, era beemwe omubiri gwabwe gwonna, booze engoye zaabwe, beetukuze.#Leev 14:8,9, Kubal 19:9,17-19 8Kale batwale ente envubuka, n'ekiweebwayo kyakwo eky'obutta, obulungi obutabuddwamu amafuta, n'ente envubuka eyokubiri gitwale okuba ekiweebwayo olw'ekibi.#Leev 2:1 9Awo onooyanjula Abaleevi mu maaso g'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'okuŋŋaanya ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri;#Kuv 29:4; 40:12, Leev 8:3 10n'oyanjula Abaleevi mu maaso ga Mukama. Abaana ba Isiraeri ne balyoka bateeka emikono gyabwe ku Baleevi.#Leev 1:4 11Alooni n'awaayo Abaleevi mu maaso ga Mukama okuba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa, ku lw'abaana ba Isiraeri, babeerenga ab'okuweereza Mukama.#Kuv 29:24 12Abaleevi banaateeka emikono gyabwe ku mitwe gy'ente; naawe onoowaayo emu ku zo okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'ey'okubiri okuba ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama okubatangirira.#Kuv 29:10, Leev 1:4; 8:14
13“Onooteeka Abaleevi mu maaso ga Alooni ne mu maaso ga batabani be, n'obawaayo okuba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa eri Mukama. 14Bw'otyo bw'onooyawula Abaleevi okuva mu baana ba Isiraeri; n'Abaleevi banaabanga bange.#Kubal 3:45; 16:9 15Oluvannyuma Abaleevi ne balyoka bayingira okuweereza mu weema ey'okusisinkanirangamu; naawe onoobatukuza, n'obawaayo okuba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa. 16Kubanga baweereddwayo ddala gye ndi okuva mu baana ba Isiraeri; mbeetwalidde mu kifo ky'ababereberye bonna mu baana ba Isiraeri.#Kubal 3:12,45 17Kubanga ababereberye bonna mu baana ba Isiraeri bange, oba muntu oba nsolo; ku lunaku kwe nnakubira ababereberye bonna mu nsi y'e Misiri n'abeetukuliza.#Kuv 13:2 18Era ntutte Abaleevi mu kifo ky'ababereberye bonna mu baana ba Isiraeri. 19Era mpaddeyo Abaleevi okuba ekirabo eri Alooni ne batabani be nga mbaggya mu baana ba Isiraeri, okuweerezanga ku lw'abaana ba Isiraeri mu Weema ey'okusisinkanirangamu, n'okutangiriranga; walemenga okuba ekibonyoobonyo kyonna mu baana ba Isiraeri, bwe banaasembera mu watukuvu.”#Kubal 1:53; 3:9; 16:46; 18:6
20Bw'atyo Musa, Alooni, n'ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri bwe baakola Abaleevi nga Mukama bwe yabalagira. 21Abaleevi ne beetukuza okuva mu kibi, ne booza engoye zaabwe; Alooni n'abawaayo okuba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa mu maaso ga Mukama; Alooni n'abatangirira okubatukuza. 22Awo oluvannyuma Abaleevi ne balyoka bayingira okuweereza mu weema ey'okusisinkanirangamu mu maaso ga Alooni, ne mu maaso ga batabani be; nga Mukama bwe yalagira Musa ebikwata ku Baleevi, nabo bwe batyo bwe baabakola.
23Mukama n'agamba Musa nti, 24“Bino bye bikwata ku Baleevi: abawezezza emyaka abiri mu etaano (25) n'okusingawo banaayingiranga okuweereza mu weema ey'okusisinkanirangamu.#Kubal 4:3 25Era bwe banaawezanga emyaka ataano (50), banaalekeranga awo okuweereza mu Weema 26naye banaakoleranga wamu ne baganda baabwe mu weema ey'okusisinkanirangamu, okukuuma bye baateresebwa. Bw'otyo bw'onooteekateeka Abaleevi okutuukirizanga emirimu gyabwe.”#Kubal 1:53

Currently Selected:

Okubala 8: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in