Okubala 7
7
Ebyaweebwayo abakulembeze
1Awo olwatuuka ku lunaku Musa lwe yamalirako okusimba Eweema, era ng'amaze okugifukako amafuta n'okugitukuza, n'ebintu byayo byonna, n'ekyoto n'ebintu byakyo byonna, era ng'amaze okubifukako amafuta n'okubitukuza;#Kuv 40:17,18, Leev 8:10,11 2awo abakulembeze ba Isiraeri, abakulu be nnyumba za bakitaabwe, be baali abakulu b'ebika, era abaafuganga abo abaabalibwa, ne bawaayo:#Kubal 1:4-16 3ne baleeta ekiweebwayo kyabwe mu maaso ga Mukama. Amagaali amabikkeko mukaaga, n'ente kkumi na bbiri (12); nga buli bakulembeze babiri baleese eggaali limu ate nga buli mukulembeze aleese ente emu. 4Mukama n'agamba Musa nti, 5“bibaggyeeko bibeerenga bya kukola omulimu ogw'okuweereza ogw'omu weema ey'okusisinkanirangamu; era onoobiwa Abaleevi, buli muntu ng'okuweereza kwe bwe kuli.” 6Musa n'abaggyako amagaali n'ente, n'abiwa Abaleevi. 7Amagaali abiri n'ente nnya n'abiwa ab'olulyo lwa Gerusoni, ng'okuweereza kwabwe bwe kwali;#Kubal 4:24-26 8n'amagaali ana n'ente munaana n'abiwa ab'olulyo lwa Merali, ng'okuweereza kwabwe bwe kwali; wansi w'omukono gwa Isamaali mutabani wa Alooni kabona.#Kubal 4:31-33 9Naye ab'olulyo lwa ba Kokasi bo tebaaweebwa; kubanga ebintu ebitukuvu bye baaweebwa okusitula, babisituliranga ku bibegabega byabwe.#Kubal 3:31; 4:15, 2 Sam 6:13, 1 Byom 15:15 10Awo abakulembeze ne bawaayo olw'okuwonga ekyoto ku lunaku lwe kyafukibwako amafuta; bawaayo ekiweebwayo kyabwe mu maaso g'ekyoto.#1 Bassek 8:63 11Mukama n'agamba Musa nti, “Buli mukulembeze anaawangayo ekiweebwayo kye ku lunaku lwe olw'okutukuza ekyoto.”
12N'oyo eyawaayo ekiweebwayo kye ku lunaku olwolubereberye yali Nakusoni, mutabani wa Amminadaabu, ow'omu kika kya Yuda: 13n'ekiweebwayo kye kyali: ssowaani emu ya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu, ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri nsanvu, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta;#Kuv 29:40,41, Leev 2:4-7, Kubal 15:4 14ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi, ekijjudde obubaane;#Kuv 30:34,35 15ente ennume envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu oguwezezza omwaka ogumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa;#Leev 1:2,3 16embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi;#Leev 4:23,24 17era okuba ssaddaaka ey'ekiweebwayo eky'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abawezezza omwaka. Ekyo kye kyali ekiweebwayo kya Nakusoni mutabani wa Amminadaabu.#Leev 3:1,6,12
18Ku lunaku olwokubiri Nesaneeri mutabani wa Zuwaali, omukulu wa Isakaali, n'awaayo. 19Ekiweebwayo kye kyali: essowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu (130), ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri ensanvu (70), nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta; 20ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi (10), ekijjudde obubaane; 21ente ennume envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu oguwezezza omwaka, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; 22embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; 23era okuba ssaddaaka ey'ekiweebwayo eky'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abawezezza omwaka. Ekyo kye kyali ekiweebwayo kya Nesaneeri mutabani wa Zuwaali.
24Ku lunaku olwokusatu Eriyaabu mutabani wa Keroni, omukulu w'abaana ba Zebbulooni n'awaayo. 25Ekiweebwayo kye kyali: ssowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu (130), ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri ensanvu (70), nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta; 26ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi (10), ekijjudde obubaane; 27ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu oguwezezza omwaka, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; 28embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; 29era okuba ssaddaaka ey'ekiweebwayo eky'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abawezezza omwaka. Ekyo kye kyali ekiweebwayo kya Eriyaabu mutabani wa Keroni.
30Ku lunaku olwokuna, Erizuuli mutabani wa Sedewuli, omukulu w'abaana ba Lewubeeni, n'awaayo. 31Ekiweebwayo kye kyali: ssowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu (130), ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri ensanvu (70), nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta; 32ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi (10), ekijjudde obubaane; 33ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu oguwezezza omwaka, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; 34embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; 35era okuba ssaddaaka ey'ekiweebwayo eky'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abawezezza omwaka. Ekyo kye kyali ekitone kya Erizuuli mutabani wa Sedewuli.
36Ku lunaku olw'okutaano Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi, omukulu w'abaana ba Simyoni, n'awaayo. 37Ekiweebwayo kye kyali: ssowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu (130), ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri nsanvu (70), nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta; 38ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi (10), ekijjudde obubaane; 39ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu oguwezezza omwaka, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; 40embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; 41n'okuba ssaddaaka ey'ekiweebwayo eky'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abawezezza omwaka. Ekyo kye kyali ekitone kya Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi.
42Ku lunaku olw'omukaaga Eriyasaafu mutabani wa Deweri, omukulu w'abaana ba Gaadi, n'awaayo. 43Ekiweebwayo kye kyali essowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu (130), ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri nsanvu (70), nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta; 44ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi (10), ekijjudde obubaane; 45ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu abawezezza omwaka, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; 46embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; 47n'okuba ssaddaaka ey'ekiweebwayo eky'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abawezezza omwaka. Ekyo kye kyali ekiweebwayo kya Eriyasaafu mutabani wa Deweri.
48Ku lunaku olw'omusanvu Erisaama mutabani wa Ammikudi omukulu w'abaana ba Efulayimu, n'awaayo. 49Ekiweebwayo kye kyali: essowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu (130), ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri nsanvu (70), nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta; 50ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi (10), ekijjudde obubaane; 51ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu oguwezezza omwaka, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; 52embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; 53n'okuba ssaddaaka ey'ekiweebwayo eky'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abawezezza omwaka. Ekyo kye kyali ekitone kya Erisaama mutabani wa Ammikudi.
54Ku lunaku olw'omunaana Gamalyeri mutabani wa Pedazuuli, omukulu w'abaana ba Manase, n'awaayo. 55Ekiweebwayo kye kyali essowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu (130), ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri nsanvu (70), nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta; 56ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi (10), ekijjudde obubaane; 57ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu oguwezezza omwaka, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; 58embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; 59n'okuba ssaddaaka ey'ekiweebwayo eky'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abawezezza omwaka. Ekyo kye kyali ekitone kya Gamalyeri, mutabani wa Pedazuuli.
60Ku lunaku olw'omwenda Abidaani mutabani wa Gidiyooni, omukulu w'abaana ba Benyamini, n'awaayo. 61Ekiweebwayo kye kyali: ssowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu (130), ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri nsanvu (70), nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta; 62ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi (10), ekijjudde obubaane; 63ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu abawezezza mwaka, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; 64embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; 65n'okuba ssaddaaka ey'ekiweebwayo eky'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abawezezza omwaka. Ekyo kye kyali ekiweebwayo kya Abidaani mutabani wa Gidiyooni.
66Ku lunaku olw'ekkumi Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi, omukulu w'abaana ba Ddaani n'awaayo, 67ekiweebwayo kye kyali essowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu (130), ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri nsanvu (70), nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta; 68ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi (10), ekijjudde obubaane; 69ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu abawezezza omwaka, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; 70embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; 71n'okuba ssaddaaka ey'ekiweebwayo eky'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abawezezza omwaka. Ekyo kye kyali ekiweebwayo kya Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi.
72Ku lunaku olw'ekkumi n'olumu Pagiyeeri mutabani wa Okulaani, omukulu w'abaana ba Aseri, n'awaayo. 73Ekiweebwayo kye kyali: ssowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu (130), ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri nsanvu (70), nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta; 74ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi (10), ekijjudde obubaane; 75ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu oguwezezza omwaka, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; 76embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; 77n'okuba ssaddaaka ey'ekiweebwayo eky'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abawezezza omwaka. Ekyo kye kyali ekiweebwayo kya Pagiyeeri mutabani wa Okulaani.
78Ku lunaku olw'ekkumi n'ebbiri Akira mutabani wa Enani, omukulu w'abaana ba Nafutaali, n'awaayo. 79Ekiweebwayo kye kyali: ssowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu (130), ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri nsanvu (70), nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta, okuba ekiweebwayo eky'obutta; 80ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi (10), ekijjudde obubaane; 81ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu oguwezezza omwaka, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; 82embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; 83n'okuba ssaddaaka ey'ekiweebwayo eky'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abawezezza omwaka. Ekyo kye kyali ekiweebwayo kya Akira mutabani wa Enani.
84Kuno kwe kwali okutukuza ekyoto, ku lunaku kwe kyafukibwako amafuta mu mikono gy'abakulembeze ba Isiraeri: essowaani kkumi na bbiri eza ffeeza, ebibya kkumi na bibiri ebya ffeeza, ebijiiko kkumi na bibiri (12) ebya zaabu; 85buli ssowaani eya ffeeza sekeri kikumi mu asatu (130), na buli kibya sekeri nsanvu (70); effeeza yonna ey'ebintu sekeri enkumi bbiri mu bina (2,400), nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; 86ebijiiko ebya zaabu kkumi na bibiri (12), ebijjudde obubaane, buli kijiiko sekeri kkumi (10), nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri, zaabu yonna ey'omu bijiiko sekeri kikumi mu abiri (120). 87Ente zonna okuba ekiweebwayo ekyokebwa, kkumi na bbiri endiga ennume kkumi na bbiri (12), abaana b'endiga abalume abawezezza omwaka, kkumi na babiri (12), n'obutta bwabyo obuweebwayo; n'embuzi ennume okuba ekiweebwayo olw'ekibi kkumi na bbiri (12).#Kubal 7:1,10 88Ente zonna okuba ssaddaaka ey'ekiweebwayo eky'emirembe abiri mu nnya (24), endiga ennume nkaaga (60), embuzi ennume nkaaga (60), abaana b'endiga abalume abawezezza omwaka nkaaga (60). Okwo kwe kwali okutukuza ekyoto, bwe kyamala okufukibwako amafuta. 89Awo Musa bwe yayingira mu Weema ey'okusisinkanirangamu okwogera ne Mukama, n'alyoka awulira Eddoboozi nga lyogera naye nga liyima waggulu ku ntebe ey'okusaasira eyali ku ssanduuko ey'obujulirwa, wakati wa bakerubi bombi. Mukama n'ayogera naye.#Kuv 25:22; 33:9-11, Kubal 12:8
Currently Selected:
Okubala 7: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: