Okubala 9
9
Embaga ey'okuyitako ey'omulundi ogwokubiri
1Mukama n'agambira Musa mu ddungu lya Sinaayi, mu mwezi ogwolubereberye ogw'omwaka ogwokubiri nga bamaze okuva mu nsi y'e Misiri nti, 2“Abaana ba Isiraeri bakwatenga Okuyitako mu ntuuko zaakwo ezaalagirwa.#Kuv 12:1-14, Kubal 28:16 3Ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi guno, akawungeezi, kwe munaakwatiranga okuyitako mu ntuuko zaakwo ezaalagirwa; ng'amateeka gaakwo n'obulombolombo bwakwo bwonna bwe buli.”#Leev 23:5 4Musa n'agamba abaana ba Isiraeri bakwatenga Okuyitako. 5Ne bakwatira Okuyitako mu mwezi ogwolubereberye, ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi, akawungeezi, mu ddungu lya Sinaayi: nga byonna bwe byali Mukama bye yalagira Musa, bwe batyo bwe baakola. 6Awo ne wabaawo abantu abaali nga si balongoofu olw'omulambo gw'omuntu gwe baakwatako, n'okuyinza ne batayinza kukwata Kuyitako ku lunaku olwo. Abantu abo ne bajja eri Musa ne Alooni#Kuv 18:15, Kubal 5:2 7ne bamugamba nti, “Tetuli balongoofu olw'omulambo gw'omuntu gwe twakutteko; naye kiki ekitulobera okuwaayo ekiweebwayo kya Mukama mu ntuuko zaakyo mu baana ba Isiraeri?” 8Musa n'abagamba nti, “Musooke muleke mmale okubuuza Mukama mpulire ky'anaalagira ku mmwe.”
9Awo Mukama n'agamba Musa nti, 10“Gamba abaana ba Isiraeri nti, Omuntu yenna ku mmwe oba mu mirembe gyammwe, bw'anaabanga nga si mulongoofu olw'okukwata ku mulambo, oba bw'anaabanga atambudde olugendo olw'ewala, n'oyo naye anaakwatanga Okuyitako eri Mukama. 11Mu mwezi ogwokubiri, ku lunaku olw'ekkumi n'ennya, akawungeezi, kwe banaakukwatiranga; banaakulyanga n'emigaati egitazimbulukusiddwa n'enva ezikaawa.#Kuv 12:6,8, 2 Byom 30:1-5,15 12Tebabirekangawo okutuusa enkya, era endiga gye basse okulya, tebaagimenyenga ggumba na limu; ng'etteeka lyonna ery'Okuyitako bwe liri, bwe banaakukwatanga bwe batyo.#Kuv 12:10,43-49, Yok 19:36 13Omuntu yenna omulongoofu, ate nga tali mu lugendo, ataakwatenga Kuyitako mu ntuuko zaakwo, era ataaweengayo kiweebwayo kya Mukama ekyalagirwa, anaabeerangako ekibi kye, era takkirizibwenga kukwata Kuyitako mu mwezi ogwokubiri.#Kuv 12:15 14Mu nnaggwanga ali mu mmwe bw'anaayagala okukwata okuyitako eri Mukama ng'etteeka ly'okuyitako n'obulombolombo bwakwo bwe kuli, anaakolanga bwatyo. Etteeka linaabanga limu eri munnaggwanga n'omuzaaliranwa.”#Kuv 12:48,49
Ekire eky'omuliro
(Kuv 40:34-38)
15Awo ku lunaku Eweema kwe yasimbirwa, ekire ne kibikka ku Weema ey'obujulirwa; era akawungeezi ne kiba ku weema ng'ekifaananyi ky'omuliro, okutuusa enkya.#Kuv 40:17,34,38 16Bwe kyabanga bwe kityo ennaku zonna; ekire kyagibikkangako emisana, n'ekifaananyi ky'omuliro ekiro. 17Era buli ekire lwe kyaggibwanga ku Weema, abaana ba Isiraeri ne balyoka batambula; ate mu kifo ekire we kyayimiriranga, abaana ba Isiraeri we baasiisiranga.#Kuv 40:36, Kubal 10:11 18Abaana ba Isiraeri baatambulanga lwa kiragiro kya Mukama, era baasiisiranga lwa kiragiro kya Mukama; ekiseera kyonna ekire kye kyamalanga ku Weema basigalanga mu lusiisira.#Kuv 40:37 19Era ekire bwe kyamalanga ennaku nnyingi ku Weema, abaana ba Isiraeri bakwatanga ekiragiro kya Mukama ne batatambula. 20Oluusi ekire kyamalanga ennaku ntono ku Weema ng'ekiragiro kya Mukama bwe kyali, olwo ng'abaana ba Isiraeri baasigala mu lusiisira ne batatambula. Ekire bwe kyaggibwanga ku Weema ng'ekiragiro kya Mukama bwe kyali, ne batambula. 21Era oluusi ekire kyabangawo okuva akawungeezi okutuusa ku makya. Bwe kyaggyibwangawo ku makya, ne batambula. Oba bwe kyabangawo emisana n'ekiro, era kyamalanga kuggyibwawo ne balyoka batambula. 22Ekire bwe kyabikkanga ku weema okumala ennaku bbiri, oba mwezi oba mwaka, abaana ba Isiraeri baasigalanga mu lusiisira nga tebatambula, naye bwe kyaggyibwangako olwo ne balyoka batambula.#Kuv 40:36,37 23Baasiisiranga era baatambulanga lwa kiragiro kya Mukama: baakwatanga ebyo Mukama bye yabakuutira, okuyita mu Musa.#Kubal 1:54
Currently Selected:
Okubala 9: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: