Okubala 6
6
Amateeka g'okwewonga eri Katonda
1Mukama n'ayogera ne Musa nti, 2“Yogera n'abaana ba Isiraeri, obagambe nti, ‘Omusajja oba omukazi bw'aneeyamanga obweyamo ku bubwe yekka, obw'okwewonga, eri Mukama,#Leev 27:2, Balam 13:5, Bik 21:23, Bar 1:1 3taanywenga mwenge oba ekitamiiza ekirala kyonna; era tanywanga ku mazzi g'ezzabbibu, wadde okulya ku zabbibu embisi oba enkalu.#Balam 13:4, Am 2:12, Luk 1:15 4Ennaku zonna ez'okwewonga kwe, talyanga kintu ekiva ku muzabbibu, zibeere nsigo newakubadde ebikuta. 5Ennaku zonna ez'obweyamo bwe obw'okwewonga, taamwebwengako nviiri ze; anaabanga mutukuvu, anaalekanga enviiri ze okukula.#Balam 16:17, 1 Sam 1:11 6Ennaku zonna ez'okwewonga kwe, tasembereranga mulambo gwonna.#Kubal 19:11,16 7Teyeefuulanga atali mulongoofu lwa mulambo gwa kitaawe, newakubadde ogwa nnyina, newakubadde ogwa muganda we, newakubadde ogwa mwannyina; kubanga yeewonga ku bubwe yekka eri Katonda.#Leev 21:1,2,11 8Ennaku zonna ez'okwewonga kwe anaabanga mutukuvu eri Mukama. 9Singa omutwe gw'omuwonge gufuuka ogutali mulongoofu olw'omuntu afiiridde okumpi naye embagirawo, okwewonga kwe kunaabanga kwonoonese; kale anaalindanga ne wayitawo ennaku musanvu, n'alyoka amwa omutwe gwe, n'addamu okuba omulongoofu.#Bik 21:24,27 10Ku lunaku olw'omunaana anaaleetanga eri kabona enjiibwa bbiri, oba amayiba amato abiri, ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu.#Leev 5:7 11Kabona anaawangayo akamu okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'ak'okubiri okuba ekiweebwayo ekyokebwa, n'amutangirira; kubanga yeyonoona olw'abafu, anaddangamu n'atukuza omutwe gwe ku lunaku olwo. 12Era anaddangamu okwewonga eri Mukama, ng'aleeta omwana gw'endiga omulume ogutannaweza mwaka gumu okuba ekiweebwayo olw'omusango; naye ennaku ziri ezaasooka ez'okwewonga kwe teziibalibwenga, kubanga kwayonooneka.’#Leev 5:6
13“Era lino lye tteeka ery'omuwonge: ennaku ez'okwewonga kwe bwe zinaabanga ziweddeko anajjanga ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu,#Bik 21:26 14n'awaayo ekiweebwayo kye eri Mukama. Anaawangayo omwana gw'endiga omulume gumu ogutannaweza mwaka era ogutaliiko bulema, okuba ekiweebwayo ekyokebwa, n'omwana gw'endiga omuluusi gumu ogutannaweza mwaka, ogutaliiko bulema okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'endiga ennume emu eteriiko bulema okuba ekiweebwayo olw'emirembe.#Leev 3:6; 4:32 15Era anaawangayo ekibbo eky'emigaati egitazimbulukusiddwa, ebitole eby'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta, n'emigaati egy'empewere egitazimbulukusiddwa egisiigibbwako amafuta, n'obutta bwakwo, n'eby'okunywa byakwo ebiweebwayo.#Kuv 29:2,40, Leev 2:4, Kubal 15:5,7 16Awo kabona anaabyanjulanga mu maaso ga Mukama, n'awaayo ky'awaayo olw'ekibi, n'ekyo ky'awaayo ekyokebwa; 17n'awaayo endiga ennume okuba ssaddaaka ey'ekiweebwayo eky'emirembe eri Mukama, awamu n'ekibbo eky'emigaati egitazimbulukusiddwa; era kabona anaawangayo obutta bwakwo, n'eby'okunywa byakwo ebiweebwayo. 18Era omuwonge anaamweranga omutwe gwe ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu, n'addira enviiri ezo, n'aziteeka mu muliro oguli wansi wa ssaddaaka ey'ekiweebwayo eky'emirembe.#Bik 21:24
19“Awo kabona anaatwalanga omukono omufumbe ogw'endiga ennume, n'ekitole kimu ekitazimbulukusiddwa ng'akiggya mu kibbo, n'omugaati ogw'empewere gumu ogutazimbulukusiddwa, n'abiteeka mu ngalo z'omuwonge, ng'amaze okumwa omutwe gwe.#Kuv 29:23,24, Leev 8:31 20Awo kabona anaabiwuubawuubanga okuba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa mu maaso ga Mukama. Ebyo byayawulirwa kabona, awamu n'ekifuba ekiwuubibwawuubibwa n'ekisambi ekisitulibwa; oluvannyuma omuwonge n'alyoka ayinza okunywa omwenge.#Kuv 29:27,28 21Eryo lye tteeka ery'omuwonge eyeeyama obweyamo, n'ekiweebwayo kye ky'awa Mukama olw'okwewonga kwe; obutassaako ebirala byayinza okuwaayo. Ng'obweyamo bwe bw'aneeyamanga bwe bunaabanga, bwe kityo bwe kimugwanira okukola ng'etteeka ery'okwewonga kwe bwe liri.”
Omukisa kabona gw'anaasabiranga abantu
22Mukama n'ayogera ne Musa nti, 23Yogera ne Alooni ne batabani be obagambe nti bwe muti bwe munaasabiranga omukisa abaana ba Isiraeri; nga mugamba nti,#Leev 9:22, Ma 21:5, 1 Byom 23:13
24Mukama akuwe omukisa, akukuume;#Zab 121:7; 134:3
25Mukama akwakize amaaso ge, akukwatirwe ekisa;#Lub 43:29, Zab 31:16; 67:1; 80:3, Dan 9:17
26Mukama akuyimusize amaaso ge, akuwe emirembe.#Zab 4:6, 2 Bas 3:16
27Bwe batyo bwe banaateekanga erinnya lyange mu baana ba Isiraeri; nange n'abawanga omukisa.#Ma 28:10, 2 Byom 7:14, Dan 9:19
Currently Selected:
Okubala 6: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: