Okubala 11
11
Abantu beemulugunyiza Mukama
1Abantu ne beemulugunyinyiza Mukama olw'ebizibu ebyabatuukako; Mukama n'abawulira, obusungu bwe ne bubuubuuka; omuliro gwa Mukama ne gwaka mu bo ne gwokya ekitundu ekikomererayo mu lusiisira.#Leev 10:2, Ma 9:22, Zab 78:21 2Abantu ne bakaabirira Musa; ne Musa n'asaba Mukama, omuliro ne guzikira#Kubal 21:7, Yak 5:16 3Ekifo ekyo ne kituumibwa erinnya Tabera; kubanga omuliro gwa Mukama gwa yakira mu bo.#11:3 Tabera Mu Lwebbulaniya ekigambo ekyo kitegeeza “Okwaka.”
Musa alonda abakulembeze ensanvu
4Awo ekibiina ky'abannamawanga ekyali mu bo ne batandika okwoya ennyo nga beegomba okulya ku nnyama; n'abaana ba Isiraeri nabo ne beemulugunya nga bagamba nti, “Ani anaatuwa ennyama okulya?#Kuv 12:38, Kubal 14:1, Zab 78:18, 1 Kol 10:6 5Tujjukira ebyennyanja bye twaliiranga obwereere mu Misiri; wujju n'ensujju n'enva n'obutungulu ne katungulu ccumu.#Kuv 16:3 6Naye kaakano twetamiddwa. Tetulina kya kulya kyonna kirala, wabula emmaanu eno yokka buli lunaku.”
7Era emmaanu yaliŋŋanga obusigo obutono nga bweruyeru.#Kuv 16:13-18,31 8Abantu ne bagenda ne bagikuŋŋaanya ne bagiseera ku mmengo, oba ne bagisekulira mu binu, ne bagifumba mu ntamu ne bagiggyamu emigaati; n'okuwooma kwayo kwaliŋŋaanga okuwooma kw'emigaati egisiikiddwa mu mafuta. 9Era omusulo bwe gwagwanga mu lusiisira ekiro, n'emmaanu n'egwiranga wamu nagwo. 10Musa n'awulira abantu nga beemulugunya, buli omu n'ab'omu maka ge, nga bali ku miryango gy'eweema zaabwe. Mukama n'asunguwala nnyo. Musa n'anakuwala. 11Awo Musa n'agamba Mukama nti, “Kiki ekikunkozezza obubi bw'otyo, era lwaki tonsasiide, n'okussa n'onzisaako omugugu gw'abantu bano bonna.#Yer 15:10,18; 20:7-18 12Nze nnali olubuto lw'abantu bano bonna? Nze nnabazaala, n'okugamba n'oŋŋamba nti, ‘Basitule mu kifuba kyo ng'omulezi w'omwana bw'asitula omwana ayonka, okubatwala mu nsi gye walayirira bajjajjaabwe?’#Lub 50:24, Kuv 13:5, Ma 1:31 13Nze nzigye wa ennyama okugabira abantu bano bonna, abankaabirira nga boogera nti tuwe ennyama tulye?#2 Bassek 4:43, Mat 15:33, Yok 6:7,9 14Nze siyinza kusitula bantu bano bonna nzekka, kubanga banzitooweredde nnyo.#Kuv 18:18, Ma 1:9,12 15Oba nga bw'oti bw'ogenda okunkola, nkwegayiridde, nsaasira, onzitire ddala mangu kaakano, nneme kulaba nnaku bwe nti.”#1 Bassek 19:4
16Mukama n'agamba Musa nti, “Nkuŋŋaanyiza abasajja nsanvu (70) okuva mu bakadde ba Isiraeri, b'omanyi nga bakulu era abakulembeze abassibwamu ekitiibwa; obaleete ku weema ey'okusisinkanirangamu, bayimirire eyo wamu naawe.#1 Bassek 19:4 17Nange nnakka ne njogerera naawe eyo; era n'atoola ku mwoyo oguli ku ggwe, ne nguteeka ku bo; nabo banaasitulanga omugugu gw'abantu awamu naawe, gulemenga kubeera ku ggwe wekka.”#Kuv 18:22; 19:20, Kubal 11:25; 12:5, 2 Bassek 2:9,15 18Era gamba abantu nti, “Mwetukulize olunaku olw'enkya, era munaalya ennyama kubanga Mukama awulidde okukaaba kwammwe nga mwemulugunya nti ani anaatuwa ennyama okulya? Kubanga mugamba nti twali bulungi mu Misiri; Mukama ky'anaava abawa ennyama ne mulya.#Kuv 16:3; 19:10, Kubal 11:5 19Temugiriireko lunaku lumu, oba bbiri, oba ttaano, oba kkumi, wadde abiri; 20naye mwezi mulamba, okutuusa lw'erifulumira mu nnyindo zammwe, ne muginyiwa; kubanga mugaanyi Mukama ali mu mmwe, ne mukaabira amaziga mu maaso ge nga mwemulugunya nti, ‘twaviiraki e Misiri?’ ” 21Musa n'agamba nti, “Abantu be ndi nabo, abasajja abatambuza ebigere bawera emitwalo nkaaga (600,000), naye ogambye nti ndibawa ennyama bagiriireko omwezi omulamba!#Kuv 12:37 22Banaabattiranga endiga n'ente nezibamala? Oba banaabavubiranga ebyennyanja byonna eby'omu nnyanja biryoke bibamale?”
23Mukama n'agamba Musa nti, “Omukono gwa Mukama guyimpawadde? Kaakano onoolaba oba ng'ekigambo kyange kinaatuukirira gy'oli oba nedda.”#Is 50:2; 59:1, Ez 12:25; 24:14 24Musa n'afuluma n'abuulira abantu ebigambo bya Mukama; n'akuŋŋaanya abasajja nsanvu (70) okuva mu bakadde b'abantu, n'abassaawo okwetooloola Eweema. 25Mukama n'akkira mu kire n'ayogera naye, n'atoola ku mwoyo ogwali ku Musa; n'aguteeka ku bakadde ensanvu (70) awo olwatuuka omwoyo bwe gwatuula ku bo ne balagula, naye ne balekera awo.#Kuv 34:5, Kubal 11:17, 1 Sam 10:6 26Naye ne musigala mu lusiisira abasajja babiri, erinnya ly'omu Eridaadi, n'erinnya ly'omulala Medadi: omwoyo ne gutuula ku bo; era baali ku muwendo gw'abo abaawandiikibwa, naye baali tebafulumye okugenda ku Weema, ne balagulira mu lusiisira. 27Omulenzi n'adduka n'abuulira Musa, n'agamba nti, “Eridaadi ne Medadi balagulira mu lusiisira.” 28Yoswa mutabani wa Nuuni, omuweereza wa Musa, omu ku basajja be abalonde n'addamu n'agamba nti, “Mukama wange Musa, bagaane.”#Mak 9:38 29Musa n'agamba nti, “Okwatibbwa obuggya olw'ekifo kyange? Nze nnandyagadde wakiri, Mukama abantu bonna abawe Omwoyo gwe, bonna babe bannabbi.” 30Musa n'abakadde ba Isiraeri ne baddayo mulusiisira.
Mukama awa Abaana ba Isiraeri enkwale
31Embuyaga n'eva eri Mukama, n'ereeta enkwale okuva mu nnyanja nga zibuukira mu bugulumivu nga bwa mikono ebiri okuva ku ttaka, n'ezisuula okwetooloola olusiisira, mu bbanga nga lya lugendo lwa lunaku olumu.#Zab 78:26-28 32Abantu ne bagenda ne bazibya olunaku olwo, ne bakeesa obudde, ne bazibya n'olunaku olwaddirira nga bakuŋŋaanya enkwale. Eyakuŋŋaanya entono, yakuŋŋaanya Komeri kkumi; ne bazaanika wonna okwetooloola olusiisira.#Ez 45:11 33Ennyama bwe yali ng'ekyali wakati mu mannyo gaabwe, nga tebannaba kugigaaya, obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka ku bantu, Mukama n'abasuulamu kawumpuli.#Zab 78:30,31 34Ekifo ekyo ne kituumibwa erinnya Kiberosukataava, kubanga we baaziika abantu abaaluvuwalira ennyama. 35Abantu ne basitula e Kiberosukataava ne batambula ne bagenda e Kazerosi; ne basiisira eyo.#Kubal 12:16; 33:17
Currently Selected:
Okubala 11: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.