Okubala 10
10
Amakkondeere aga Ffeeza
1Mukama n'agamba Musa nti, 2“Weeweeseze amakkondeere abiri ga ffeeza; ganaabanga ga kuyita kibiina, era n'okutambuza olusiisira.#Zab 81:3 3Era bwe banaagafuuwanga gombi, ekibiina kyonna kinaakuŋŋaaniranga gy'oli ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu.#Yer 4:5, Yo 2:15 4Naye bwe banaafuuwangako erimu lyokka, olwo abakulu b'ebika bya Isiraeri bokka banaakuŋŋaaniranga gy'oli.#Kuv 18:21, Kubal 1:16; 7:2 5Era bwe munaagafuuwanga nga musirisaamu, ensiisira eziri ku ludda lw'ebuvanjuba banaatandikanga okutambula.#Kubal 2:3-9 6Era bwe munaagafuuwanga nga musirisaamu omulundi ogwokubiri, ensiisira eziri ku luuyi olw'obukiikaddyo zinaatambulanga. Kale banaafuuwanga nga basirisaamu olw'okulagira abantu okutambula.#Kubal 2:10-16 7Naye bwe kunaabanga okuyita abantu okukuŋŋaana, munaagafuuwanga naye nga temusirisaamu.#1 Byom 15:24 8Ne batabani ba Alooni, bakabona, banaafuuwanga amakkondeere; era ganaabanga gye muli etteeka eritaliggwaawo mu mirembe gyammwe gyonna. 9Era bwe munaatabaalanga omulabe abajooga mu nsi yammwe, munaafuuwanga amakkondeere nga mugasirisaamu; era munajjukirwanga mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, naye anaabalokolanga okuva eri balabe bammwe.#Balam 2:18; 3:27; 4:3, Kubal 31:6, 1 Sam 10:18, 2 Byom 13:12 10Ku lunaku olw'essanyu lyammwe ne ku mbaga zammwe ezaalagirwa, n'emyezi gyammwe we ginaatandikiranga, munaafuuwanga amakkondeere ago ku biweebwayo byammwe ebyokebwa ne ku ssaddaaka ez'ebyammwe ebiweebwayo olw'emirembe; era ganaabanga gye muli ekijjukizo mu maaso ga Katonda wammwe: nze Mukama Katonda wammwe.#Leev 23:24, 1 Byom 15:24, 2 Byom 5:12,13; 7:6; 29:26-28, Zab 81:3
Abaana ba Isiraeri batambula okuva ku lusozi sinaayi okutuuka e Kadesi (10:11—12:16)
11“Awo olwatuuka mu mwaka ogwokubiri, mu mwezi ogwokubiri, ku lunaku olw'abiri olw'omwezi, ekire ne kiggibwa kungulu ku Weema ey'obujulirwa.#Kubal 9:17 12Abaana ba Isiraeri ne basitula ng'ebiramago byabwe bwe byali ne bava mu ddungu lya Sinaayi; ekire ne kiyimirira mu ddungu lya Palani.#Kuv 19:1,2; 40:36, Kubal 9:5; 12:16 13Ne batandika okutambula ng'ekiragiro kya Mukama bwe kyali kye yalagira Musa.#Kubal 2:34 14Ebendera ey'olusiisira olw'abaana ba Yuda n'ekulembera, n'esitula ng'eggye lyabwe bwe lyali: n'omukulu w'eggye yali Nakusoni mutabani wa Amminadaabu.#Kubal 2:3-9 15N'omukulu w'eggye ly'ekika ky'abaana ba Isakaali yali Nesaneeri mutabani wa Zuwaali. 16N'omukulu w'eggye ly'ekika ky'abaana ba Zebbulooni yali Eriyaabu mutabani wa Keroni. 17Eweema n'esimbulibwa; batabani ba Gerusoni ne batabani ba Merali, abagyetikkanga ne batambula.#Kubal 1:51; 4:24,33 18Ebendera y'olusiisira lwa Lewubeeni n'etambula ng'eggye lyabwe bwe lyali: n'omukulu w'eggye yali Erizuuli mutabani wa Sedewuli.#Kubal 2:10-16 19N'omukulu w'eggye ly'ekika ky'abaana ba Simyoni yali Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi. 20N'omukulu w'eggye ly'ekika ky'abaana ba Gaadi yali Eriyasaafu mutabani wa Deweri. 21Abakokasi ne beetikkanga ebintu ebitukuvu. We baatuukiranga, basanga nga Weema emaze okusimbibwa.#Kubal 1:51; 4:4,15 22Ebendera ey'olusiisira lw'abaana ba Efulayimu n'esitula ng'eggye lyabwe bwe lyali: omukulu w'eggye yali Erisaama mutabani wa Ammikudi.#Kubal 2:18-24 23Omukulu w'eggye ly'ekika ky'abaana ba Manase yali Gamalyeri mutabani wa Pedazuuli. 24Omukulu w'eggye ly'ekika ky'abaana ba Benyamini yali Abidaani mutabani wa Gidiyooni. 25Ebendera y'olusiisira lw'abaana ba Ddaani, eyasembangayo mu ensiisira zonna, n'esitula ng'eggye lyabwe bwe lyali: omukulu w'eggye yali Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi.#Kubal 2:25-31 26Omukulu w'eggye ly'ekika ky'abaana ba Aseri yali Pagiyeeri mutabani wa Okulaani. 27N'omukulu w'eggye ly'ekika ky'abaana ba Nafutaali yali Akira mutabani wa Enani. 28Okwo kwe kwali okutambula kw'abaana ba Isiraeri ng'eggye lyabwe bwe lyali nga batambula.”
29Awo Musa n'agamba Kobabu mutabani wa Leweri Omumidiyaani, mukoddomi wa Musa, nti Tutambula okugenda mu kifo Mukama kye yayogerako nti Ndikibawa: jjangu tugende ffenna tunakuyisanga bulungi; kubanga Mukama yasuubiza Isiraeri ebirungi.#Lub 12:7; 32:12, Kuv 2:18; 3:8; 6:7,8 30N'amuddamu nti, “Sijja kugenda: naye kanzireyo mu nsi y'ewaffe eri baganda bange.” 31N'amugamba nti, “Totuleka, nkwegayiridde; kubanga ggwe omanyi bwe tusiisira mu ddungu era ggwe maaso gaffe. 32Bw'onoogenda naffe, buli kirungi Mukama ky'anaatuwanga naawe on'okigabanangako.”#Balam 1:16; 4:11
33Ne bava ku lusozi lwa Katonda, ne batambula olugendo lwa nnaku ssatu. Essanduuko ey'Endagaano ya Mukama n'ebakulemberamu okubanoonyeza ekifo eky'okusiisiramu.#Kuv 13:21, Zab 105:39 34Ekire kya Mukama kyabanga ku bo emisana, bwe baasitulanga okuva mu lusiisira.
35Awo olwatuukanga essanduuko bwe yasitulwanga Musa n'ayogera nti, “Golokoka, ayi Mukama, abalabe bo basaasaanyizibwe; n'abo abakukyaye badduke mu maaso go.”#Zab 68:1 36Era bwe yayimiriranga n'ayogera nti, “Komawo, ayi Mukama, eri emitwalo n'emitwalo gy'Abaisiraeri.”
Currently Selected:
Okubala 10: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.