Nakkumu 3
3
Ebikomererayo ku Nineeve (3:1-19)
1Zikisanze ekibuga ekitemu, ekijjudde obulimba, era ekikubyeko ebintu ebinyage, obunyazi bwakyo tebukoma.#Ez 24:9, Kaab 2:12 2Wulira enkoba eziwuuma, ezikuba embalaasi ze bagoba, nga zigenda ziguluba. Wulira zinnamuziga eziyiringita, n'amagaali agabuukabuuka.#Balam 5:22 3Abeebagadde embalaasi beetegese okulwana, nga bakutte ebitala ebimasamasa, n'amafumu agamyansa. Abafudde bangi, emirambo mingi nnyo, badduka kwe beekoona! 4Nineeve kibonerezebwa olw'obwenzi bwakyo, ekyajjula obulogo obuyitirivu, eky'afuga amawanga n'eby'obwenzi bwakyo.#Is 47:9,12, Kub 17:2; 18:3 5Bwati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, Ndi mulabe wo ggwe Nineeve, ndikwambula osigale bwereere amawanga gakulabe gakusunge. Obwakabaka bwo bulinyoomebwa mu maaso gaabwe.#Yer 13:22, Kaab 2:16 6Era ndikufuula ekyenyinyalwa, era ndikwambula ekitiibwa kyo, era ndikuleka okuba ekyerolerwa.#Mat 2:9, 1 Kol 4:9 7Awo olulituuka bonna abalikutunulako balikwesamba ne bagamba nti, Nineeve kifuuse matongo! Ani anaakikungubagira? Abalikikubagiza baliva wa?#Yer 15:5; 51:9, Zef 2:13 8Nineeve ggwe osinga Nowamoni, ekibuga ky'e Misiri obulungi? Ekyazimbibwa okumpi n'Omugga Kiyira, nga kyetooloddwa amazzi amangi ku enjuyi zonna. Olukomera lwa kyo teyali nnyanja, era amazzi si ge gaali bbugwe waakyo?#Ez 29:3, Am 6:2 9Amaanyi gaakyo gaakiri mu Esiyopiya ne Misiri, abe Puti n'ab'e Libya nabo baakiyambanga.#2 Byom 12:3, Dan 11:43 10Naye era kyatwalibwa, ky'agenda mu buddu; n'abaana baakyo abato batirimbulirwa mu masaŋŋanzira g'enguudo zaakyo. Ab'ebitiibwa n'abakulu baakyo bonna baasibibwa ku njegere, ne bagabanibwa abalabe nga bakubirwa akalulu.#Is 13:16; 20:4, Yo 3:3 11Naawe Nineeve olitagatta ng'omutamiivu, oliggwaamu amaanyi. Naawe olinoonya wewekwekera abalabe bo.#Zab 75:8, Yer 25:17,27 12Ebigo byo byonna biriba ng'emiti emitiini okuli ebibala ebisooka okwengera, bwe ginyeenyezebwa ebibala bikunkumuka, ababyagala ne babirya.#Kub 6:13 13Laba, abasserikale bo baliba nga abakazi, tewaliba bataasa nsi yo. Enzigi eza wankaaki ez'ensi yo nziggule eri abalabe bo, n'omuliro gulisaanyawo emikiikiro gy'enzigi zo.#Is 19:16, Yer 51:30 14Weekimire amazzi, weetegekere okuzingizibwa. Nyweza ebigo byo, samba ebbumba obumbe amatoffaali, ogapange mu kyokero.#Is 22:11 15Tokyalina kya kukola, omuliro gulikwokera eyo, ekitala kirikuzikiriza, kirikulya nga kalusejjera mweyongere obungi ng'enzige, mwale nga kalusejjera.#Yo 1:4; 2:3 16Wayaza abasuubuzi bo okusinga emmunyeenye ez'omu ggulu obungi, naye kati babuuse ng'enzige ne bagenda. 17Abakulembeze bo bali ng'enseenene, n'abaduumira eggye lyo bali ng'ebibinja by'enzige ebyekukuma mu bisagazi mu budde obunnyogovu, naye enjuba bw'evaayo zibuuka ne zigenda etemanyiddwa.#Is 13:16; 20:4, Yo 3:3 18Abasumba bo babongoota, ggwe kabaka w'e Bwasuli. abakungu bo ab'ekitiibwa bafudde, abantu bo basaasaanidde ku nsozi, so tewali wa kubakuŋŋaanya. 19Tewali kya kukkakkanya bulumi bw'owulira, ekiwundu kyo si kya kuwona. Bonna abawulira ebikutuuseeko bakuba bukubi mu ngalo nga basanyuka, kubanga obukambwe bwo tebuliiko gwe bwataliza ennaku zonna.#Is 37:18, Kung 2:15, Zef 2:15
Currently Selected:
Nakkumu 3: LBR
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: