YouVersion Logo
Search Icon

Kaabakuuku Ennyanjula

Ennyanjula
Obunnabbi bwa Kaabakuuku, bwajja nga ku nkomerero y'omulembe ogw'omusanvu nga Kristo tannazaalibwa, awo wakati wa 612-589 BC. Abakaludaaya oba ab'Ebabuloni be baali bafuga Isiraeri. Kaabakuuku yasoberwa nnyo obukambwe bw'abantu bano, era n'abuuza Mukama nti, Lwaki osirika obusirisi ng'abantu ababi bazikiriza abo ababasinga okuba abatuukirivu ( Kaab. 1:13). Mukama n'addamu nti alibaako ky'akola mu kiseera kye ekituufu. Wakati mw'ebyo byonna abatuukirivu baliba balamu lwa kukkiriza kwe baalina (Kaab 2:4). Esaala esembayo erimu okusaba nga Kaabakuuku atendereza obukulu bwa Katonda n'ekitiibwa kye, era ne Kaabakuuku n'asigala nga anyweredde ku Katonda.
Ebiri mu Kitabo
I. Ennyanjula (1:1).
II. Ebisooka (1:2-11).
A. Okwemulugunya kwa Kaabakuuku (1:2-4).
B. Okuddamu kwa Mukama (1:5-11).
III. Ebiddako (1:12—2:20).
A. Okwemulugunya kwa Kaabakuuku (1:12—2:1).
B. Okuddamu kwa Mukama (2:2-20).
IV. Okusaba kwa Kaabakuuku (3:1-19).

Currently Selected:

Kaabakuuku Ennyanjula: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in