YouVersion Logo
Search Icon

Nakkumu 2

2
Okulumbibwa kwa Nineeve (2:1-13)
1Nineeve, olumbiddwa, ow'okukusaanyawo atuuse, kuuma ekigo kyo, tunuulira ekkubo, weesibe wenyweze, funvubira n'amaanyi go gonna.#Yer 51:12,20 2Mukama anaatera okuzzaawo ekitiibwa kya Yakobo, kye kitiibwa kya Isiraeri, abaabazinda kye baali bafeebezza, n'emizabbibu gye bayonoona.#Is 5:1-7 3Abasajja be abazira bakutte engabo emmyufu, abasserikale be bambadde ebyambalo ebitwakaavu. Amagaali gaabwe ag'ebyuma gaakaayakana ng'omuliro, era n'amafumu gagalulwa n'entiisa. 4Amagaali g'abalwanyi getawulira mu nguudo z'ekibuga, galabika ng'emimuli egyaka, gamyansa ng'eggulu.#Nak 3:2 5Abaduumizi bayitibwa, ne bajja nga batomeragana butomeraganyi. Abalumbi banguwa okutuuka ku bbugwe ow'ekigo, ne bategeka okukiggunda.#Yer 46:12 6Enzigi ez'oku migga zigguddwawo, amazzi ne gasaanyawo olubiri.#Is 14:31; 45:1 7Nnaabakyala n'anyagibwa, n'atwalibwa nga musibe. Abazaana be ne bakaaba ng'amayiba, nga bwe beekuba mu bifuba byabwe olw'okunakuwala.#Is 38:14 8Abo mu Nineeve bafaanana ng'ekidiba ky'amazzi agakulukuta. Wadde nga babakoowoola nti, “Muyimirire, muyimirire!” Tewali atunula mabega.#Yer 46:5 9Munyage ffeeza, munyage zaabu, eby'obugagga tebiriiko kkomo. Ekibuga kijjudde ebintu, buli kirungi kiri omwo! 10Nineeve kisaanyiziddwawo, abantu baamu bonna emitima gibeewanise, amaviivi gabakubagana, n'ebiwato bibakankana, era basiiwuse ne mu maaso olw'entiisa.#Is 13:7; 21:3, Dan 5:6, Yo 2:6, Zef 2:13-15 11Ekibuga kiri ludda wa ekyali eky'ekitiibwa ng'empuku y'empologoma, empologoma ento mwe zaaliiranga, era mwe zaasigalanga awatali azitiisa, ng'empologoma enkulu ensajja n'enkazi zitambudde?#Yer 2:15 12Nineeve yali mpologoma ensajja, buli kye yattanga n'ekitaagula obulere, n'ekireetera ento ezo, era n'enkazi zaayo, n'ejjuza empuku yaayo, ensolo ezitaaguddwa.#Nak 3:1 13Bwati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, “Ndi mulabe wo, ndyokya amagaali go ne ganyooka omukka, era abasserikale bo balizikirizibwa n'ekitala, nditwala byonna bye wanyaga. Eddoboozi ly'ababaka bo teriiwulirwenga nate.”#2 Bassek 19:9,23, Zab 46:9, Ez 13:8, Nak 3:5

Currently Selected:

Nakkumu 2: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in