Nakkumu 1
1
Ennyanjula
(1:1)
1Obubaka obukwata ku Nineeve. Ekitabo omuli okwolesebwa kwa Nakkumu, Omwerukoosi.#Is 13:1, Yon 1:2, Kaab 1:1
Oluyimba olutendereza Katonda
(1:2-8)
2Mukama ye Katonda w'obuggya, era awalana eggwanga. Mukama awooleera eggwanga, era wa busungu bungi nnyo. Abonereza abo abamukyawa era abasibira ekiruyi.#Kuv 20:3 3Mukama tatera kusunguwala, ate nga wa maanyi mangi, era tayinza n'akatono butabonereza oyo azzizza omusango. Ekkubo lya Mukama lyayitamu liri mu kikuŋŋunta ne mu kibuyaga, era ebire ye nfuufu ebigere bye gye bisitula,#Kuv 34:6,7, Zab 97:2; 147:5 4alagira ennyanja n'ekalira, era n'emigga gyonna agikaza. Ennimiro ze Basani ne Kalumeeri zibabuse, n'ebimuli by'oku Lebanooni biwotose.#Is 33:9; 50:2 5Mu maaso ga Mukama ensozi zikankana, obusozi ne busaanuuka, ettaka ne lyatikayatika. Ensi yonna n'abagiriko ne bizikirizibwa.#Zab 98:7, Yer 4:24, Kaab 3:6 6Ani ayinza okuyimirira mu maaso ge ng'asunguwadde? Ani ayinza okugumira obusungu bwe ng'aswakidde? Obukambwe bwe bubuubuuka ng'omuliro, n'enjazi zaatikayatika olw'obusungu bwe.#Zab 79:6, Ez 38:20, Mal 3:2 7Mukama mulungi, kigo ky'abamwesiga ku lunaku olw'okulabirako ennaku, alabirira abo abamwesiga.#Zab 46:1; 100:5, Is 25:4, Yok 10:14,27, 1 Kol 8:3 8Naye alisaanyizaawo ddala abamukyawa n'omujjuzo gw'amazzi, era abalabe be alibagobera mu kizikiza.#Yer 46:5
Omusango gwa Katonda ku Nineeve n'okulokolebwa kwa Yuda
(1:9-15)
9Kiki kye muteesa okukola ku Mukama? Ajja kubazikiririza ddala! Tewali ayinza kumuwakanya mirundi ebiri, 10newakubadde nga bali ng'amaggwa agakwataganye, era ng'abanywi b'omwenge abatamidde, balyokerwa ddala ng'ekisambu ekikaze.#Yo 2:5, Mi 7:4 11Mu ggwe Nineeve muvuddemu omuntu alina endowooza embi, ateesa okukola akabi ku Mukama.#2 Bassek 19:22,23 12Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Newakubadde nga balina amaanyi mangi, ate nga bangi, balizikirira baggweerewo ddala. Newakubadde nga nnababonyaabonya mmwe, naye sikyababonyaabonya nate.#Is 10:33,34; 37:36 13Kaakano nja kumenya ekikoligo ky'Abasuuli kibaveeko, era n'ebibasibye nnabikutulakutula.”#Is 10:27 14Bino Mukama byalagidde ebikwata ku Nineeve, “Temulifuna bazzukulu balituumibwa mannya gammwe. Ndizikiriza ebifaananyi ebyole n'ebisaanuuse ebiri mu nnyumba ya bakatonda bo. Ndibasimira entaana kuba muyitiridde obugwagwa.”#Zab 109:13, Is 30:33, Ez 32:21-23 15Yimusa amaaso, tunula ku nsozi, laba omubaka ajja abuulirira ebigambo ebirungi, alangirira emirembe! Ggwe Yuda kwata embaga zo entukuvu, tuukiriza obweyamo bwo; kubanga ababi tebakyaddamu kubalumba mmwe, bazikiririziddwa ddala.#Is 52:7, Yo 3:17, Bar 10:15
Currently Selected:
Nakkumu 1: LBR
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: