YouVersion Logo
Search Icon

Nakkumu Ennyanjula

Ennyanjula
Yona bweyatumibwa e Nineeve abantu beenenya Katonda nnabasaasira. Kyokka obwakabaka bwa Isiraeri bwe bwasaanyizibwawo Bwasuli yasanyuka. Ate bakozesa nnyo obukambwe eri amawanga gonna ge bawangulanga. Nakkumu yatumibwa okutwala obubaka eri Bwasuli okubategeeza nti Katonda ayinza byonna abonereza nga bw'ayagala era tewali ayinza okumuziyiza.
Ebiri mu kitabo
I. Ennyanjula (1:1).
II. Oluyimba olutendereza Katonda (1:2-8).
III. Omusango gwa Katonda ku Nineeve, n'okulokolebwa kwa Yuda (1: 9-15).
IV. Okulumbibwa kwa Nineeve (2:1-13).
V. Ebikomererayo ku Nineeve (3:1-19).

Currently Selected:

Nakkumu Ennyanjula: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in