YouVersion Logo
Search Icon

Matayo Ennyanjula

Ennyanjula
Enjiri eyawandiikibwa Matayo etegeeza nga Yesu ow'e Nazaaleesi, ye Kristo eyali alindirirwa okuba kabaka. Matayo omu ku bayigirizwa ba Mukama waffe, era nga ayitibwa Leevi, ye yagiwandiika awo nga mu 50 oba 60 AD. Enjiri eno enyweza nti, Yesu ye Kristo, alina obuyinza ku ntebe ya Dawudi nga kabaka wa Isiraeri omutuufu. Yesu yaatuukiriza ekisuubizo kya Katonda eri Ibulayimu nti ezzadde lye linaabanga mukisa eri ensi, (Lub 12:1-3). Matayo akubiriza abakristaayo Abayudaaya ne bonna abaliba abayigirizwa ba Yesu okunywera wakati mu kuwakanyizibwa. Balina okuwulira obugumu olw'amagezi n'okumanya nti, batuuze mu bwakabaka obw'omuggulu. Matayo akakasa n'abatali Bayudaaya nti nabo basobola okufuna obulokozi okuyita mu Yesu oyo Kristo.
Ebiri mu kitabo
I. Olulyo n'eby'okuzaalibwa kwa Yesu Kristo (1:1—2:23).
II. Okubuulira kwa Yokaana Omubatiza (3:1-17).
III. Yesu Kristo atandika Enjiri y'obwakabaka obw'omuggulu (4:1-25).
IV. Obulamu bw'abantu abw'obwakabaka (5:1—7:29).
V. Yesu alaga obuyinza n'amaanyi ge (8:1—9:38).
VI. Yesu ayigiriza ku buvunaazibwa bwa batume (10:1-42).
VII. Okuwakanya Kristo kweyongera (11:1—12:50).
VIII. Yesu ayigiriza ku bwakabaka obw'omu ggulu mu ngero (13:1-52).
IX. Ebikolwa bya Yesu bimwanika mu abantu (13:53—16:20).
X. Okubonaabona kwa Kristo kutegeezebwa (16:21—17:27).
XI. Yesu ayongera okuyigiriza ku bulamu bwa bayigirizwa (18:1—20:34).
XII. Olugendo lwa Yesu olwasembayo okugenda e Yerusaalemi (21:1—23:39).
XIII. Yesu ayigiriza ku by'okudda kwe (24:1—25:46).
XIV. Okubonyaabonyezebwa n'okukomererwa kwa Kristo (26:1—27:66).
XV. Eby'okuzuukira kwa Yesu (28:1-20).

Currently Selected:

Matayo Ennyanjula: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy