YouVersion Logo
Search Icon

Matayo 1

1
Olulyo n'eby'okuzaalibwa kwa Yesu Kristo
(1:1—2:23)
Olulyo lwa Yesu
(Luk 3:23-38)
1 # Luk 3:23-38 Luno lwe lulyo lwa Yesu Kristo, omwana wa Dawudi, omwana wa Ibulayimu.#1 Byom 17:11, Lub 5:1; 22:18
2Ibulayimu yazaala Isaaka; Isaaka n'azaala Yakobo; Yakobo n'azaala Yuda ne baganda be;#Lub 21:3,12; 25:26; 29:25; 49:10, 1 Byom 1:34 3Yuda n'azaala Pereezi ne Zeera mu Tamali; Pereezi n'azaala Kezulooni; Kezulooni n'azaala Laamu;#1 Byom 2:5,9, Lub 38:29,30, Luus 4:18-22 4Laamu n'azaala Amminadaabu; Amminadaabu n'azaala Nasoni; Nasoni n'azaala Salumooni;#1 Byom 2:10-12 5Salumooni n'azaala Bowaazi mu Lakabu; Bowaazi n'azaala Obedi mu Luusi; Obedi n'azaala Yese;#Luus 4:13-17 6Yese n'azaala Dawudi kabaka.#2 Sam 12:24
Dawudi n'azaala Sulemaani mu muka Uliya; 7Sulemaani n'azaala Lekobowaamu; Lekobowaamu n'azaala Abiya; Abiya n'azaala Asa;#1 Byom 3:10-14 8Asa n'azaala Yekosafaati; Yekosafaati n'azaala Yolaamu; Yolaamu n'azaala Uzziya; 9Uzziya n'azaala Yosamu; Yosamu n'azaala Akazi; Akazi n'azaala Keezeekiya; 10Keezeekiya n'azaala Manase; Manase n'azaala Amoni; Amoni n'azaala Yosiya; 11Yosiya n'azaala Yekoniya ne baganda be, mu biro abaana ba Isiraeri mwe baatwalirwa e Babbulooni.#1 Byom 3:15,16
12Oluvannyuma olw'okutwalibwa e Babbulooni, Yekoniya n'azaala Seyalutyeri; Seyalutyeri n'azaala Zerubbaberi;#1 Byom 3:17, Ezer 3:2 13Zerubbaberi n'azaala Abiwuudi; Abiwuudi n'azaala Eriyakimu; Eriyakimu n'azaala Azoli; 14Azoli n'azaala Sadoki; Sadoki n'azaala Akimu; Akimu n'azaala Eriwuudi; 15Eriwuudi n'azaala Ereyazaali; Ereyazaali n'azaala Mataani; Mataani n'azaala Yakobo; 16Yakobo n'azaala Yusufu, eyali bba Malyamu, Malyamu eyazaala Yesu ayitibwa Kristo.#Mat 27:17,22
17Bwe gityo emirembe gyonna, okuva ku Ibulayimu okutuuka ku Dawudi, emirembe kkumi n'ena (14), nate okuva ku Dawudi okutuuka ku kutwalibwa e Babbulooni, emirembe kkumi n'ena (14), nate okuva ku kutwalibwa e Babbulooni okutuuka ku Kristo, emirembe kkumi n'ena (14).
Okuzaalibwa kwa Yesu Kristo
(Luk 2:1-7)
18N'okuzaalibwa kwa Yesu Kristo kwali bwe kuti; Malyamu nnyina bwe yali ng'akyayogerezebwa Yusufu, baali nga tebannaba kufumbiriganwa, n'alabika ng'ali lubuto olw'Omwoyo Omutukuvu.#Luk 1:35 19Awo Yusufu bba, kubanga yali muntu mutuukirivu, n'atayagala kumukwasa nsonyi, n'alowooza okumulekayo mu kyama. 20Laba bwe yali alowooza bw'atyo, malayika wa Mukama n'ajja gy'ali mu kirooto, n'amugamba nti, “Yusufu omwana wa Dawudi, totya kutwala Malyamu mukazi wo, kubanga olubuto lwe lwa Mwoyo Mutukuvu. 21Naye alizaala omwana wa bulenzi; naawe olimutuuma erinnya lye YESU; kubanga ye y'alirokola abantu be mu bibi byabwe.”#Luk 1:31; 2:21, Bik 4:12 22Ebyo byonna byakolebwa bituukirire Mukama bye yayogerera mu nnabbi ng'agamba nti,#Is 7:14 23“Laba, omuwala atamanyi musajja aliba olubuto,”
“ ‘era alizaala omwana wa bulenzi,
erinnya lye aliyitibwa Emmanweri;
eritegeeza nti Katonda ali naffe.’”
24Yusufu bwe yazuukuka mu tulo, n'akola nga malayika wa Mukama bwe yamulagira, n'atwala mukazi we, 25so teyamumanya okutuusa lwe yamala okuzaala omwana; Yusufu n'amutuuma erinnya lye YESU.

Currently Selected:

Matayo 1: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy