Matayo 24
24
Yesu ayigiriza ku by'okudda kwe
(24:1—25:46)
Yesu ayogera ku kuzikirizibwa kwa Yeekaalu (Mak 13:1-2, Luk 21:5-6)
1Yesu n'afuluma mu Yeekaalu; awo bwe yali ng'atambula, abayigirizwa be ne bajja okumulaga amazimba ga Yeekaalu.#Mak 13:1-37, Luk 21:5-36 2Naye n'abaddamu n'abagamba nti, “Temulaba bino byonna? Mazima mbagamba nti Tewalisigala wano jjinja eriri kungulu ku jjinja linnaalyo, eritalisuulibwa wansi.”#Luk 19:44
Obubonero obulikulembera emirembe gino okuggwaawo
(Mak 13:3-13, Luk 21:7-19)
3Yesu bwe yali ng'atudde ku lusozi olwa Zeyituuni, abayigirizwa ne bajja gy'ali kyama, ne bagamba nti, “Tubuulire bino we biribeererawo n'akabonero akaliraga okujja kwo bwe kaliba, era n'ak'emirembe gino okuggwaawo?” 4Yesu n'abaddamu nti, “Mulabe omuntu yenna tabakyamyanga. 5Kubanga bangi abalijja mu linnya lyange, nga bagamba nti, ‘Nze Kristo;’ balikyamya bangi.#Mat 24:24, Yok 5:43, Bik 5:36,37, 1 Yok 2:18 6Muliwulira entalo n'ettutumu ly'entalo; mulabe temweraliikiriranga; kubanga tebirirema kubaawo; naye enkomerero ng'ekyali.#Dan 2:28 7Kubanga eggwanga liritabaala eggwanga ne kabaka alitabaala kabaka, walibaawo enjala n'ebikankano mu bifo ebitali bimu.#Is 19:2, 2 Byom 15:6 8Naye ebyo byonna okubaawo ye ntandikwa y'okulumwa ng'okw'omukazi agenda okuzaala. 9Mmwe balibakwata ne babawaayo mubonyebonyezebwe, balibatta; nammwe mulikyayibwa amawanga gonna okubalanga erinnya lyange.#Mat 10:17,22, Yok 16:2 10Mu biro ebyo bangi abalyesittala, baliwaŋŋanayo, balikyawagana.#Dan 11:41 11Ne bannabbi bangi ab'obulimba balijja, balikyamya bangi.#Mat 7:15, 1 Yok 4:1 12Era kubanga obujeemu buliyinga obungi, okwagala kw'abasinga obungi kuliwola.#2 Bas 2:10, 2 Tim 3:1-5 13Naye agumiikiriza okutuuka ku nkomerero, ye alirokolebwa.#Mat 10:22, Kub 13:10 14n'Enjiri eno ey'obwakabaka eribuulirwa mu nsi zonna, okuba obujulirwa mu mawanga gonna; awo enkomerero n'eryoka etuuka.”#Mat 28:19; 10:18
Eky'omuzizo ekizikiriza
(Mak 13:14-23, Luk 21:20-24)
15 “Kale bwe muliraba eky'omuzizo ekizikiriza, Danyeri nnabbi kye yayogerako, nga kiyimiridde mu kifo ekitukuvu, oyo asoma bino ategeere, #
Dan 9:26,27; 12:11 16olwo abaliba mu Buyudaaya baddukiranga ku nsozi; 17aliba waggulu ku nju takkanga kuggyamu bintu ebiri mu nju ye;#Luk 17:31 18aliba mu lusuku taddanga nate kutwala kyambalo kye. 19Naye ziribasanga abali embuto n'abayonsa mu nnaku ezo! 20Nammwe musabe Katonda ekiseera kyammwe eky'okuddukiramu kireme okuba mu biro eby'obutiti, newakubadde ku ssabbiiti.#Bik 1:12 21Kubanga mu biro ebyo waliba ekibonyoobonyo ekinene, era tekibangawo kasookedde ensi ebaawo okutuusa leero, era tekiribaawo nate.#Dan 12:1, Yo 2:2 22Ennaku ezo singa tezaasalibwako, tewandirokose buli alina omubiri; naye olw'abalonde ennaku ezo zirisalibwako. 23Mu biro ebyo omuntu bw'abagambanga nti, ‘Laba, Kristo ali wano!’ oba nti, ‘Wano!’ temukkirizanga. 24Kubanga walijja bakristo ab'obulimba, ne bannabbi ab'obulimba, n'abo balikola obubonero obukulu n'eby'amagero; n'okukyamya bakyamye n'abalonde, oba nga kiyinzika.#Mat 5:11, Ma 13:1-3, 2 Bas 2:8,9 25Laba, mbalabudde. 26Kale bwe babagambanga nti, ‘Laba, ali mu ddungu;’ temufulumanga, ‘laba, ali mu bisenge munda;’ temukkirizanga. 27Kubanga ng'okumyansa bwe kuva ebuvanjuba, ne kulabikira ebugwanjuba; bwe kutyo bwe kuliba okujja kw'Omwana w'omuntu.#Luk 17:23,24 28Awaba omulambo wonna, awo ensega we zikuŋŋaanira.”#Yob 39:30, Kaab 1:8, Luk 17:37
Okujja kw'omwana w'omuntu
(Mak 13:24-27, Luk 21:25-28)
29 Naye amangu ago, oluvannyuma lw'ekibonyoobonyo eky'omu nnaku ezo enjuba erikwata ekizikiza, n'omwezi gulirekerawo okwaka, n'emmunyeenye zirigwa okuva mu ggulu, n'amaanyi ag'omu ggulu galinyeenyezebwa; #
Is 13:10; 34:4, 2 Peet 3:10 30olwo akabonero ak'Omwana w'omuntu kalirabika ku ggulu, n'ebika byonna eby'ensi birikuba ebiwoobe, biriraba Omwana w'omuntu ng'ajjira ku bire eby'oku ggulu n'amaanyi n'ekitiibwa ekinene.#Kub 1:7, Mat 26:64, Dan 7:13,14, Zek 12:10, Kuv 19:11 31Era alituma bamalayika be n'eddoboozi ddene ery'ekkondeere, nabo balikuŋŋaanya abalonde be okuva mu mpewo ennya, era n'okuva ku nkomerero y'eggulu emu n'okutuusa ku nkomerero yaalyo endala.#1 Kol 15:52, 1 Bas 4:16, Kub 8:1,2, Is 27:13, Zek 2:6, Ma 30:4
Eky'okuyigira ku muti omutiini
(Mak 13:28-31, Luk 21:29-33)
32 Okuva ku muti omutiini muguyigireko bino; ettabi lyagwo bwe ligejja, amalagala ne gatojjera, mutegeera ng'obudde bw'ekyeya bunaatera okutuuka; 33bwe mutyo nammwe, mu ngeri y'emu bwe mulabanga ebigambo ebyo byonna, mutegeere nti ali kumpi, ali awo ku luggi. 34Mazima mbagamba nti emirembe gino tegiriggwaawo, okutuusa ebyo byonna lwe biribeerawo.
Tewali amanyi lunaku na ssaawa
(Mak 13:32-37, Luk 17:26-30,34-36)
35 Eggulu n'ensi biriggwaawo, naye ebigambo byange tebiriggweerawo ddala. #
Mat 5:18
36Naye eby'olunaku luli n'ekiseera, tewali abimanyi, newakubadde bamalayika ab'omu ggulu, newakubadde Omwana, wabula Kitange yekka.#1 Bas 5:1,2 37Naye nga bwe kyali mu nnaku za Nuuwa, bwe kityo bwe kiriba mu kujja kw'Omwana w'omuntu.#Lub 6:11-13, Luk 17:26,27 38Kuba nga bwe baali ku nnaku ezo ezaasooka nga amataba tegannabaawo, baali nga balya nga banywa, nga bawasa era nga bawayiza, okutuuka ku lunaku Nuuwa lwe yayingira mu lyato,#2 Peet 3:5,6, Lub 7:7 39ne batamanya okutuusa amataba lwe gajja, ne gabasaanyaawo bonna; bwe kutyo bwe kuliba okujja kw'Omwana w'omuntu. 40Mu biro ebyo abasajja babiri (2), baliba mu kyalo; omu alitwalibwa, n'omulala alirekebwa.#Luk 17:35,36 41Abakazi babiri (2) baliba nga basa ku lubengo; omu alitwalibwa, n'omulala alirekebwa. 42Kale mutunule; kubanga temumanyi lunaku bwe luli Mukama wammwe lw'alijjirako.#Mat 25:13 43Naye kino mukitegeere nti Alina enju ye singa amanya ekisisimuka bwe kiri omubbi ky'anajjiramu, yanditunudde, teyandirese nnyumba ye kusimibwa.#Luk 12:39-46 44Mukale nammwe mweteeketeeke; kubanga Omwana w'omuntu alijjira mu kiseera kye mutamusuubiriramu.#Kub 16:15
Omuddu eyeetegekera mukama we
(Luk 12:41-48)
45 “Kale aluwa nate omuddu oyo omwesigwa ow'amagezi, mukama we gwe yasigira ab'omu nju ye, okubawanga emmere yaabwe mu kiseera kyayo? 46Omuddu oyo alina omukisa, mukama we bw'alijja gw'alisanga ng'akola bw'atyo. 47Mazima mbagamba nti alimusigira ebintu bye byonna.#Mat 25:21,23 48Naye omuddu oyo omubi bw'aligamba mu mutima gwe nti Mukama wange aludde;#Mub 8:11 49era bw'alisooka okukuba baddu banne, n'okulya n'okunywera awamu n'abatamiivu; 50mukama w'omuddu oyo alijjira ku lunaku lw'atamusuubirirako, ne mu kiseera ky'atamanyi, 51alimutemamu ebitundu bibiri, alimuwa omugabo gwe awamu ne bannanfuusi, omwo mwe muliba okukaaba n'okulumwa obujiji.”#Mat 8:12
Currently Selected:
Matayo 24: LBR
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.