Matayo 22
22
Olugero lw'abayitibwa ku mbaga ey'obugole
(Luk 14:15-24)
1Awo Yesu n'addamu n'ayogera n'abo mu engero, n'agamba nti, 2“Obwakabaka obw'omu ggulu bufaananyizibwa omuntu eyali kabaka, eyafumbira omwana we embaga ey'obugole,#Luk 14:16-24, Yok 3:29 3n'atuma abaddu be okuyita abaayitibwa ku mbaga ey'obugole; naye ne batayagala kujja. 4N'atuma nate abaddu abalala, ng'agamba nti Mubuulire abantu abaayitibwa nti Laba, nfumbye embaga yange; ente zange n'eza ssava zittiddwa, ne byonna biteegekeddwa; mujje ku mbaga ey'obugole.#Mat 21:36 5Naye abo abaayitibwa ne batassaayo mwoyo ne bagenda, omu n'agenda mu kyalo kye, omulala mu by'obuguzi bwe, 6abaasigalawo ne bakwata abaddu be, ne babaswaza, ne babatta. 7Kabaka n'akwatibwa obusungu; n'asindika eggye lye, n'azikiriza abassi abo, n'ayokya ekibuga kyabwe.#Mat 24:2 8Awo n'agamba abaddu be nti ‘Embaga ey'obugole ewedde okuteekateeka, naye abo abaayitibwa tebasaanira. 9Kale mugende mu masaŋŋanzira g'enguudo, bonna be munaalabayo mubayite bajje ku mbaga ey'obugole.’#Mat 13:47; 21:43 10Abaddu bali ne bagenda mu nguudo, ne bakuŋŋaanya bonna be baalaba, ababi n'abalungi; ekisenge eky'embaga ey'obugole ne kijjula abagenyi. 11Naye kabaka bwe yayingira okulaba abagenyi, n'alabamu omuntu atayambadde kyambalo kya bugole. 12Kabaka n'amugamba nti, ‘Munnange, oyingidde otya wano nga tolina kyambalo kya bugole? N'abunira.’ ” 13Awo kabaka n'agamba abaweereza be nti, “Mumusibe emikono n'amagulu, mumusuule mu kizikiza eky'ebweru; mwe muliba okukaaba n'okulumwa obujiji.#Mat 8:12 14Kubanga bangi abayitibwa, naye abalondemu batono.”
Yesu abuuzibwa ku kuwa Kayisaali omusolo
(Mak 12:13-17, Luk 20:20-26)
15 #
Mak 12:13-17, Luk 20:20-26 Awo Abafalisaayo ne bagenda, ne bateeseeza wamu nga bwe banaatega Yesu mu bigambo. #Yok 8:6 16Ne bamutumira abayigirizwa baabwe, wamu n'Abakerodiyaani, ne bagamba nti, “Omuyigiriza, tumanyi ng'oli wa mazima, era ng'oyigiriza mu mazima ekkubo lya Katonda, so tokolerera kusiimibwa muntu yenna; kubanga tososola mu bantu.#Mak 3:6, Yok 3:2 17Kale tubuulire, olowooza otya? Kirungi okuwa Kayisaali omusolo, oba si weewaawo?” 18Naye Yesu n'ategeera obubi bwabwe, n'agamba nti, “Munkemera ki, mmwe abannanfuusi? 19Mundage effeeza ey'omusolo.” Ne bamuleetera eddinaali. 20N'abagamba nti, “Ekifaananyi n'amannya ebiwandiikiddwako by'ani?” 21Ne bamugamba nti, “Bya Kayisaali.” Awo Yesu n'abagamba nti, “Kale musasule Kayisaali ebya Kayisaali; ne Katonda ebya Katonda.”#Bar 13:7 22Bwe baawulira, ne beewuunya, ne bamuleka, ne bagenda.#Yok 8:9
Yesu abuuzibwa ku by'okuzuukira kw'abafu
(Mak 12:18-27, Luk 20:27-40)
23 #
Mak 12:18-27, Luk 20:27-40 Ku lunaku olwo, Abasaddukaayo, abagamba nti tewali kuzuukira; ne bajja eri Yesu ne bamubuuza,#Bik 23:6,8 24nti, “Omuyigiriza, Musa yagamba nti, ‘Omuntu bw'afanga, nga talina baana, muganda we addengawo awase mukazi we, azaalire muganda we abaana.’#Lub 38:8, Ma 25:5,6 25Awo ewaffe yaliyo ab'oluganda musanvu (7), ow'olubereberye n'awasa, n'afa naye nga tazadde mwana, mukazi we n'amulekera muganda we; 26bw'atyo n'owo kubiri, n'owo kusatu, okutuusa ku w'omusanvu. 27Oluvannyuma, bonna nga baweddewo, n'omukazi n'afa. 28Kale mu kuzuukira aliba muka ani ku abo omusanvu? Kubanga bonna baamuwasa.” 29Naye Yesu n'addamu n'abagamba nti, “Mukyama olw'obutamanya ebyawandiikibwa, newakubadde amaanyi ga Katonda. 30Kubanga mu kuzuukira tebawasa, so tebafumbirwa, naye bali nga bamalayika mu ggulu. 31Naye eby'okuzuukira kw'abafu, temwasoma Katonda kye yabagamba nti, 32‘Nze ndi Katonda wa Ibulayimu, era Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo.’ Si Katonda wa bafu, naye wa balamu.”#Mat 8:11, Kuv 3:6 33Ebibiina bwe byawulira ebyo, ne byewuunya okuyigiriza kwe.
Yesu abuuzibwa ku kiragiro ekikulu
(Mak 12:28-34, Luk 10:25-28)
34Naye Abafalisaayo bwe baawulira nti abunizza Abasaddukaayo, n'abo ne bakuŋŋaanira wamu.#Mak 12:28-31, Luk 10:25-28 35Omu ku bo, ow'amateeka, n'amubuuza ng'amukema nti, 36“Omuyigiriza, ekiragiro ekikulu mu mateeka kye kiruwa?” 37Yesu n'amuddamu nti, “Yagalanga Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'obulamu bwo bwonna, n'amagezi go gonna.#Ma 6:5 38Kino kye kiragiro ekikulu eky'olubereberye. 39N'eky'okubiri ekikifaanana kye kino nti Yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.#Leev 19:18 40Mu biragiro bino byombi amateeka gonna mwe gasinziira, era ne bannabbi.”#Mat 7:12, Bar 13:10, Bag 5:14
Kristo mwana waani?
(Mak 12:35-37, Luk 20:41-44)
41Abafalisaayo bwe baakuŋŋaana, Yesu n'ababuuza,#Mak 12:35-37, Luk 20:41-44 42ng'agamba nti, “Kristo mumulowooza mutya? Ye mwana w'ani?” Ne bamugamba nti, “Mutabani wa Dawudi.”#Yok 7:42 43N'abagamba nti, “Kale, Dawudi mu Mwoyo lwaki amuyita Mukama we, ng'agamba nti,”
44 “‘Mukama yagamba Mukama wange nti’”
“‘Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo,’”
“‘Okutuusa lwe ndissa abalabe bo wansi w'ebigere byo.’” #
Mat 26:64, Zab 110:1
45 “Kale oba nga Dawudi amuyita Mukama we, abeera atya omwana we?” 46Ne wataba muntu eyayinza okumuddamu ekigambo, era okuva ku lunaku olwo tewali muntu eyayaŋŋanga okumubuuza ekigambo nate.
Currently Selected:
Matayo 22: LBR
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: