YouVersion Logo
Search Icon

Matayo 21

21
Olugendo lwa Yesu olwasembayo okugenda e Yerusaalemi
(21:1—23:39)
Yesu ayingira n'ekitiibwa mu Yerusaalemi
(Mak 11:1-11, Luk 19:28-40, Yok 12:12-19)
1Awo Yesu n'abayigirizwa be bwe baasembera okumpi ne Yerusaalemi, ne batuuka e Besufaage, ku lusozi olwa Zeyituuni, Yesu n'atuma abayigirizwa babiri (2),#Mak 11:1-10, Luk 19:29-38, Yok 12:12-19 2n'abagamba nti, “Mugende mu mbuga ebali mu maaso, amangu ago munaalaba endogoyi esibiddwa, nga eri n'omwana gwayo; muzisumulule, muzindeetere. 3Naye omuntu bw'anaabagamba ekigambo, munaagamba nti, ‘Mukama waffe ye azaagala;’ naye anaaziweereza mangu ago.”#Mat 26:18 4Kino kyabaawo, ekigambo kituukirire nnabbi kye yayogera, ng'agamba nti,
5“Mubuulire muwala wa Sayuuni nti,
Laba, Kabaka wo ajja gy'oli.
Omuteefu, nga yeebagadde endogoyi,
Era yeebagadde n'akayana omwana gw'endogoyi.”#Zek 9:9, Is 62:11
6Abayigirizwa ne bagenda, ne bakola nga Yesu bwe yabalagira, 7ne baleeta endogoyi, n'omwana gwayo, ne bazissaako engoye zaabwe; Yesu n'azituulako. 8Abantu bangi ab'omu kibiina ne baaliira engoye zaabwe mu kkubo; abalala ne batema amatabi ku miti, ne bagaaliira mu kkubo.#2 Bassek 9:13 9Ebibiina ebyamukulembera, n'ebyo ebyava emabega, ne byogerera waggulu, ne bigamba nti, “Ozaana eri omwana wa Dawudi! Aweereddwa omukisa ajja mu linnya lya Mukama! Ozaana waggulu mu ggulu!”#Zab 118:25,26, 2 Sam 14:4 10Awo bwe yayingira mu Yerusaalemi, ekibuga kyonna ne kikankanyizibwa nga abakirimu babuuza nti, “Ani ono?” 11Ebibiina ne bigamba nti, “Ono ye nnabbi, Yesu ava mu Nazaaleesi eky'e Ggaliraaya.”#Mat 21:46
Yesu mu Yeekaalu
(Mak 11:15-19, Luk 19:45-48, Yok 2:13-22)
12Yesu n'ayingira mu Yeekaalu ya Katonda, n'agobera ebweru bonna abaali batundira mu Yeekaalu, n'avuunika embaawo ez'abaali bawaanyisa effeeza, n'entebe ez'abaali batunda enjiibwa;#Mak 11:11-24, Luk 19:45-48, Yok 2:14-16 13n'abagamba nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Ennyumba yange eneeyitibwanga nnyumba ya kusabirangamu;’ naye mmwe mugifuula mpuku ya banyazi.”#Is 56:7, Yer 7:11 14Awo abazibe b'amaaso n'abalema ne bajja gy'ali mu Yeekaalu, n'abawonya. 15Naye bakabona abakulu n'abawandiisi bwe baalaba eby'amagero bye yakola, n'abaana abaayogerera waggulu mu Yeekaalu nga bagamba nti, “Ozaana eri omwana wa Dawudi;” ne banyiiga,#Zab 118:25 16ne bamugamba nti, “Owulira bano bye bagamba?” Yesu n'addamu n'abagamba nti, “Mpulira; temusomangako nti, ‘Mu kamwa k'abaana abato n'abawere otuukirizza ettendo?’ ”#Zab 8:2 17N'abaleka, n'afuluma mu kibuga, n'agenda e Bessaniya, n'asula eyo.
Yesu akolimira omuti omutiini
(Mak 11:12-14,20-24)
18Awo enkeera ku makya, Yesu bwe yali ng'addayo mu kibuga, enjala n'emuluma. 19N'alaba omutiini gumu ku mabbali g'ekkubo, n'agutuukako, n'asanga nga tekuli kintu, wabula amalagala ameereere; n'agugamba nti, “Toddangayo okubala ebibala emirembe n'emirembe.” Amangwago omutiini ne guwotoka.#Luk 13:6 20Abayigirizwa bwe baalaba, ne beewuunya, ne bagamba nti, “Omutiini guwotose gutya amangu?” 21Yesu n'addamu n'abagamba nti, “Mazima mbagamba nti Bwe munaabanga n'okukkiriza, nga temubuusabuusa, temuukolenga kino kyokka eky'omutiini, naye bwe muligamba olusozi luno nti Situlibwa osuulibwe mu nnyanja, kirikolebwa.#Mat 17:20 22Ne byonna byonna bye munaayagalanga, bwe munaasabanga nga mukkirizza, munaabiweebwanga.”
Yesu bamubuuza ku buyinza bwe
(Mak 11:27-33, Luk 20:1-8)
23 # Mak 11:27-33, Luk 20:1-8 Yesu n'ayingira mu Yeekaalu, bakabona abakulu n'abakadde b'abantu ne bajja gy'ali ng'ayigiriza, ne bamubuuza nti, “Buyinza ki obukukoza bino? Era ani eyakuwa obuyinza buno?”#Yok 2:18 24Yesu n'addamu n'abagamba nti, “Nange ka mbabuuze ekigambo kimu, bwe munaakinzivuunula, era nange n'ababuulira obuyinza bwe buli obunkoza bino. 25Okubatiza kwa Yokaana kwava wa? Mu ggulu nantiki mu bantu?” Ne beebuuzaganya bokka na bokka, ne bagamba nti, “Bwe tunaagamba nti, ‘Mu ggulu,’ anaatugamba nti, ‘Kale kiki ekyabalobera okumukkiriza?’ 26Naye bwe tunaagamba nti, ‘Mu bantu;’ tutya abantu; kubanga bonna bamulowooza Yokaana nga nnabbi.”#Mat 14:5 27Ne baddamu Yesu ne bamugamba nti, “Tetumanyi.” Ne Yesu n'abagamba nti, “Era nange siibabuulire obuyinza bwe buli obunkoza bino.”
Olugero lw'abaana ababiri
28 “Naye mulowooza mutya? Waaliwo omuntu eyalina abaana be babiri; n'ajja eri ow'olubereberye, n'amugamba nti Omwana, genda okole emirimu leero mu lusuku olw'emizabbibu. 29N'addamu n'agamba nti, ‘ŋŋaanyi,’ naye oluvannyuma ne yeenenya, n'agenda.#Mat 7:21 30N'ajja eri ow'okubiri, n'amugamba bw'atyo. Naye n'addamu n'agamba nti, ‘Ka ŋŋende, ssebo,’ naye n'atagenda. 31Ku abo bombi ani eyakola kitaawe kyayagala Ne bamuddamu nti, ‘Ow'olubereberye.’ Yesu n'abagamba nti, ‘Mazima mbagamba nti abawooza n'abenzi babasooka mmwe okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.#Luk 18:14 32Kubanga Yokaana yajja gye muli mu kkubo ery'obutuukirivu, nammwe temwamukkiriza, naye abawooza n'abenzi baamukkiriza; nammwe, bwe mwalaba bwe mutyo, era n'oluvannyuma temwenenya mulyoke mumukkirize.’#Luk 7:29
Olugero lw'abaapangisa olusuku lw'emizabbibu
(Mak 12:1-12, Luk 20:9-19)
33 # Mak 12:1-12 “Muwulire olugero olulala. Waaliwo omuntu eyalina ennyumba ye, n'asimba olusuku olw'emizabbibu, n'alukomerako olukomera, n'alusimamu essogolero, n'azimbamu omunaala, n'alusigira abalimi, n'atambula olugendo n'agenda mu nsi ey'ewala. # Mat 25:14, Is 5:1,2 34Awo omwaka bwe gwali gunaatera okutuuka ebibala okwengera, n'atuma abaddu be eri abalimi, babawe ebibala bye. 35Naye abalimi ne bakwata abaddu be, omu ne bamukuba, omulala ne bamutta, omulala ne bamukasuukirira amayinja. 36N'atuma nate abaddu abalala bangi okusinga ab'olubereberye; ne baabakola nabo bwe batyo. 37Oluvannyuma n'abatumira omwana we, ng'agamba nti, ‘Banaawulira omwana wange.’ 38Naye abalimi bwe baalaba omwana ne bagamba bokka na bokka nti, ‘Ono ye musika; mujje, tumutte, tulye obusika bwe.’#Mat 27:18 39Ne bamukwata, ne bamusindiikiriza mu lusuku olw'emizabbibu, ne bamutta. 40Kale, mukama w'olusuku olw'emizabbibu bw'alijja, alibakola atya abalimi abo?” 41Ne bamuddamu nti, “Abo ababi alibazikiriza bubi, naye olusuku olw'emizabbibu alirusigira abalimi abalala, abanaamuweerezanga ebibala byamu mu mwaka gwabyo.” 42Yesu n'abagamba nti, “Temusomangako mu byawandiikibwa nti,”
“‘Ejjinja abazimbi lye baagaana’”
“ ‘Lye lyafuuka omutwe gw'ensonda;’”
“‘Kino kyava eri Mukama,’”
“‘Era kya kitalo mu maaso gaffe?’” # Zab 118:22,23, Bik 4:11, Bar 9:33, 1 Peet 2:6-8
43 “Kyenva mbagamba nti Obwakabaka bwa Katonda bulibaggibwako mmwe, buliweebwa eggwanga eribala ebibala byabwo.” 44#21:44 Mu Baibuli ezimu olunnyiriri luno terulagibwa. Era agwa ku jjinja lino alimenyekamenyeka; n'oyo gwe lirigwako, lirimubetenta.#Dan 2:34,44,45 45Awo bakabona abakulu n'Abafalisaayo bwe baawulira engero ze, ne bategeera nti ayogedde ku bo. 46Nabo bwe baali baagala okukwata Yesu, ne batya ebibiina, kubanga byamulowooza okuba nnabbi.

Currently Selected:

Matayo 21: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in