Matayo 23
23
Okwekuuma Abawandiisi n'Abafalisaayo
(Mak 12:38-39, Luk 11:43,46; 20:45-46)
1Awo Yesu n'ayogera n'ebibiina awamu n'abayigirizwa be,#Mak 12:38-40, Luk 20:45,47, Luk 11:39-52 2n'agamba nti, “Abawandiisi n'Abafalisaayo batudde ku ntebe ya Musa; 3kale ebigambo byonna bye babagamba, mubikwate mubikole, naye temukola nga bo bwe bakola; kubanga boogera naye tebakola.#Mal 2:7,8 4Era basiba emigugu egizitowa egiteetikkika, bagitikka abantu ku kibegabega; sso nga bo bennyini tebaagala wadde okuginyenyako n'engalo yaabwe. 5Naye ebikolwa byabwe byonna babikola, era abantu babirabe, kubanga bagaziya fulakuteri zaabwe, era bongerako n'amatanvuuwa gaabwe,#Mat 6:1, Kuv 13:9, Kubal 15:38,39 6era baagala ebifo eby'oku mwanjo ku mbaga, n'entebe ez'ekitiibwa mu makuŋŋaaniro,#Luk 14:7, Mat 6:5 7era baagala n'okulamusibwa mu butale, n'abantu okubayita nti Labbi. 8Naye mmwe temuyitibwanga Labbi, kubanga, Omuyigiriza wammwe ali omu, nammwe mwenna muli ba luganda. 9Era temuyitanga muntu ku nsi kitammwe, kubanga Kitammwe ali omu, ali mu ggulu. 10So temuyitibwanga balagirizi, kubanga omulagirizi wammwe ali omu, ye Kristo. 11Naye mu mmwe abasinga obukulu anaabanga muweereza wammwe.#Mat 20:26,27 12Na buli aneegulumizanga alitoowazibwa; na buli eyeetoowaza anaagulumizibwanga.”#Nge 29:23, Yob 22:29, Ez 21:26, Luk 18:14, 1 Peet 5:5
Yesu avumirira obukuusa
(Mak 12:40, Luk 11:39-42,44,52; 20:47)
13 “Naye ziribasanga mmwe, abawandiisi n'Abafalisaayo, bannanfuusi! kubanga muggalira obwakabaka obw'omu ggulu mu maaso g'abantu; kubanga mmwe temuyingira, n'abo ababa bayingira temubaganya kuyingira.”
14 “Ziribasanga mmwe, abawandiisi n'Abafalisaayo, bannanfuusi! Kubanga munyaga ennyumba za bannamwandu, era ne mwefuula abasaba ennyo; n'olwekyo mulibaako omusango ogusinga obunene.” # 23:14 Mu Baibuli ezimu ez'olungereza olunnyiriri luno teruliimu.
15 “Ziribasanga mmwe, abawandiisi n'Abafalisaayo, bannanfuusi! kubanga mwetooloola mu nnyanja ne ku lukalu okukyusa omuntu omu, abe omugoberezi wammwe naye bwe mumala okumukyusa, mumufuula mwana wa Ggeyeena emirundi ebiri okusinga mmwe.”
16 “Ziribasanga mmwe, abasaale abazibe b'amaaso, abagamba nti Buli anaalayiranga Yeekaalu, taba na musango; naye buli anaalayiranga ezaabu ey'omu Yeekaalu, ng'azzizza omusango. #
Mat 15:14
17Mmwe abasiru era abazibe b'amaaso; kubanga ekisinga obukulu kiruwa, ezaabu, oba Yeekaalu efuula zaabu eyo okuba entukuvu? 18Era mugamba nti Omuntu bw'anaalayiranga ekyoto, nga talina musango; naye buli anaalayiranga ekitone ekikiriko, ng'azzizza omusango. 19Mmwe abazibe b'amaaso! kubanga ekisinga obukulu kiruwa, ekitone, oba ekyoto ekitukuza ekitone?#Kuv 29:37 20Naye alayira ekyoto, alayira kyo ne byonna ebikiriko. 21Naye alayira Yeekaalu, alayira yo, era n'oyo agituulamu. 22N'oyo alayira eggulu, aba alayidde ntebe ya Katonda, ne Katonda agituulako.” #Mat 5:34
23 “Ziribasanga mmwe, abawandiisi n'Abafalisaayo, bannanfuusi! kubanga muwa ekitundu eky'ekkumi ekya nnabbugira ne aneta ne kkumino, ne mulekayo ebigambo ebikulu eby'amateeka, okubeera abenkanya, ekisa, n'okukkiriza; naye bino kyabagwanira okubikola, era na biri obutabirekaayo. #
Leev 27:30, Mi 6:8 24Mmwe abasaale abazibe b'amaaso abasengejja ensiri, naye ne mumira eŋŋamira.”
25 “Ziribasanga mmwe abawandiisi n'Abafalisaayo, bannanfuusi! kubanga munaaza kungulu ku kikompe n'ekibya, naye munda mujjudde obunyazi n'obuteegendereza. #
Mak 7:4
26Ggwe Omufalisaayo omuzibe w'amaaso, sooka onaaze munda mu kikompe ne mu kibya, ne kungulu kwabyo kulyoke kube kulungi.”#Tit 1:15, Yok 9:40
27 “Ziribasanga mmwe, abawandiisi n'Abafalisaayo, bannanfuusi! kubanga mufaanana amalaalo agasiigibwa langi enjeru ne gatukula, agalabika kungulu nga ganyiridde, naye munda mujjudde amagumba g'abafu, n'empitambi yonna. #
Bik 23:3
28Bwe mutyo nammwe kungulu mulabika mu bantu nga muli batuukirivu, naye munda mujjudde obunnanfuusi n'obujeemu.”#Luk 16:15
29 “Ziribasanga mmwe, abawandiisi n'Abafalisaayo, bannanfuusi! kubanga muzimba amalaalo ga bannabbi, era munyiriza ebiggya by'abatuukirivu, 30ne mugamba nti Singa twaliwo mu biro bya bajjajjaffe, tetwandissizza kimu nabo mu kuyiwa omusaayi gwa bannabbi. 31Bwe mutyo ne mukakasa mwekka nti muli baana b'abo abatta bannabbi.#Bik 7:52 32Kale mumalirize bajjajjammwe kye baatandika. 33Mmwe emisota, abaana b'embalasaasa, mulidduka mutya omusango ogwa Ggeyeena?#Mat 3:7 34Laba, kyenva mbatumira bannabbi, n'ab'amagezi, n'abawandiisi, n'abamu ku bo mulibatta mulibakomerera; n'abalala mulibakubira emiggo mu makuŋŋaaniro gammwe, mulibayigganya okubaggya mu kibuga ekimu okubazza mu kirala;#Mat 13:52; 10:23, 1 Bas 2:15 35mulyoke mubuuzibwe omusaayi gwonna ogw'abatuukirivu ogwayiika ku nsi, okusookera ku musaayi gwa Abiri oyo omutuukirivu okutuusa ku musaayi gwa Zaakaliya omwana wa Balakiya, gwe mwattira wakati wa Yeekaalu n'ekyoto.#Lub 4:8, 2 Byom 24:20,21 36Mazima mbagamba nti Ebigambo bino byonna birituukirira eri abantu ab'emirembe gino.”
Yesu akungubagira Yerusaalemi
(Luk 13:34-35)
37 “Yerusaalemi, Yerusaalemi, atta bannabbi, akasuukirira amayinja abantu abatumibwa gy'ali! emirundi emeka gye nnayagalira ddala okukuŋŋaanya abaana bo, ng'enkoko bw'ekuŋŋaanya obwana bwayo munda w'ebiwaawaatiro byayo, naye ne mutayagala! #
Luk 13:34,35, Bik 7:59, 1 Bas 2:15 38Laba, ennyumba yammwe ebalekeddwa kifulukwa.#Yer 22:5; 12:7, 1 Bassek 9:7,8 39Kubanga mbagamba nti Okusooka leero temulindabako n'akatono, okutuusa lwe mulyogera nti Aweebwe omukisa oyo ajja mu linnya lya Mukama.”#Mat 21:9, Zab 118:26
Currently Selected:
Matayo 23: LBR
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: