Matayo 18
18
Yesu ayongera okuyigiriza ku bulamu bwa bayigirizwa
(18:1—20:34)
Asinga obukulu mu bwakabaka obw'omu ggulu
(Mak 9:33-37, Luk 9:46-48)
1Mu kiseera ekyo abayigirizwa ne bajja eri Yesu ne bamubuuza nti, “Kale ani omukulu mu bwakabaka obw'omu ggulu?”#Mak 9:33-47, Luk 9:46-48 2Awo Yesu n'ayita omwana omuto, n'amuyimiriza wakati waabwe, 3n'agamba nti, “Mazima mbagamba nti Bwe mutakyuka ne mufuuka ng'abaana abato, temuliyingira n'akatono mu bwakabaka obw'omu ggulu.#Mat 19:14, Yok 3:3-5 4Kale buli eyeewombeeka ng'omwana ono omuto, ye mukulu mu bwakabaka obw'omu ggulu. 5Na buli alisembeza omwana omuto omu ng'ono mu linnya lyange ng'asembezezza nze.”#Mat 10:40, Yok 13:20
Zirisanga abo abakola ebyesittaza abalala
(Mak 9:42-48, Luk 17:1-2)
6 “Naye alyesitazza ku abo abato bano abanzikiriza, waakiri asibibwe mu bulago olubengo olunene, balyoke bamusuule mu buziba bw'ennyanja. #
Luk 17:1,2 7Zirisanga ensi olw'ebigambo ebisittaza! Kubanga ebisittaza tebirirema kujja; naye zirisanga omuntu oyo aleeta ekisittaza! 8Oba ng'omukono gwo oba kugulu kwo nga kukwesittaza, kutemeko, okusuule wala; kye kirungi oyingire mu bulamu ng'obuzeeko omukono oba kugulu, okusinga okusuulibwa mu muliro ogw'emirembe n'emirembe, ng'olina emikono gyombi oba amagulu gombi.#Mat 5:29,30 9Era oba ng'eriiso lyo nga likwesittaza, liggyeemu, olisuule wala; kye kirungi oyingire mu bulamu ng'oli wa ttulu, okusinga okusuulibwa mu Ggeyeena ey'omuliro, ng'olina amaaso gombi. 10Mulabe nga temunyoomanga omu ku abo abato bano; kubanga mbagamba nti mu ggulu bamalayika baabwe batunuulira ennaku zonna amaaso ga Kitange ali mu ggulu.#Beb 1:14 11Kubanga Omwana w'omuntu yajja okulokola ekyabula.”
Olugero lw'endiga eyabula
(Luk 15:3-7)
12 “Mulowooza mutya? Omuntu bw'aba n'endiga ze ekikumi (100), emu ku zo bw'ebula, taleka ziri ekyenda mu omwenda (99), n'agenda ku nsozi, n'anoonya eyo ebuzeeko? #
Luk 15:4-7
13Era bw'aba ng'agirabye, mazima mbagamba nti agisanyukira eyo okusinga ziri ekyenda mu omwenda (99) ezitaabuze. 14Bwe kityo, si kigendererwa kya Kitange ali mu ggulu, omu ku abo abato bano okuzikirira.”
Eky'okukolera muganda wo akukoze obubi
15 Muganda wo bw'akukola obubi, genda omubuulirire ggwe naye mwekka; bw'akuwulira, ng'ofunye muganda wo. #
Leev 19:17, Luk 17:3, Bag 6:1 16Naye bw'atakuwulira, twala omuntu omu omulala oba babiri, era mu kamwa k'abajulirwa ababiri oba abasatu buli kigambo kikakasibwa.#Mat 19:15 17Era bw'agaana okuwulira abo, buulira ekkanisa: era bw'agaana okuwulira n'ekkanisa, abeere gy'oli nga munnaggwanga era omuwooza.#1 Kol 5:13
Kyokola ku nsi ne mu ggulu bwe kisigala
18 Mazima mbagamba nti Byonna bye mulisiba ku nsi birisibwa mu ggulu, era byonna bye mulisumulula ku nsi birisumululibwa mu ggulu. #
Mat 16:19, Yok 20:23 19Nate mbagamba nti Oba bannammwe babiri bwe beetabanga ku nsi buli kigambo kyonna kye balisaba, kiribakolerwa Kitange ali mu ggulu.#Mak 11:24 20Kubanga we baba ababiri oba basatu nga bakuŋŋaanye mu linnya lyange, nange ndi awo wakati waabwe.#Mat 28:20, Yok 14:23
Yesu ayigiriza ku kusonyiyira ddala muntu munno
21Awo Peetero n'ajja awali Yesu, n'amubuuza nti, “Mukama wange, muganda wange bw'annyonoonanga, nnaamusonyiwanga emirundi emeka? Okutuusa emirundi musanvu?” 22Yesu n'amuddamu nti, “Sikugamba nti Okutuusa emirundi musanvu, naye nti Okutuusa emirundi ensanvu (70) emirundi omusanvu (7).#Luk 17:4 23Obwakabaka obw'omu ggulu kyebuva bufaananyizibwa n'omuntu eyali kabaka, eyayagala okubala omuwendo gw'ebintu bye, n'abaddu be. 24Bwe yasooka okubala, ne bamuleetera omu, gw'abanja ettalanta omutwalo gumu (10,000). 25Naye kubanga teyalina kya kusasula, mukama we n'alagira okumutunda, ne mukazi we, n'abaana be, n'ebintu byonna by'ali nabyo, ebbanja lisasulwe. 26Awo omuddu n'agwa wansi n'amusinza, ng'agamba nti, ‘Mukama wange, mmanja mpola, nange ndikusasula byonna.’ 27Mukama w'omuddu oyo n'amusaasira, n'amuta, n'amusonyiwa ebbanja. 28Naye omuddu oyo n'afuluma, n'asanga muddu munne, gwe yali abanja eddinaali ekikumi (100), n'amukwata, n'amugwa mu bulago, ng'agamba nti, ‘Sasula ebbanja lyange.’ 29Awo muddu munne n'agwa wansi n'amwegayirira, ng'agamba, nti, ‘Mmanja mpola, nange ndikusasula.’ 30N'atakkiriza naye n'agenda n'amuteeka mu kkomera, amale okusasula ebbanja. 31Awo baddu banne bwe baalaba bwe bibadde, ne banakuwala nnyo, ne bagenda ne babuulira mukama waabwe ebigambo byonna ebibaddewo. 32Awo mukama we n'amuyita n'amugamba nti, ‘Ggwe omuddu omubi, nakusonyiwa ebbanja liri lyonna, kubanga wanneegayirira; 33naawe tekikugwanidde kusaasira muddu munno, nga nze bwe nnakusaasira ggwe?’ 34Mukama we n'asunguwala, n'amukwasa abambowa, amale okusasula ebbanja lyonna.#Mat 5:26 35Bw'atyo ne Kitange ali mu ggulu bw'alibakola mmwe, singa buli muntu tasonyiwa muganda we mu mutima gwe.” #Mat 6:14,15
Currently Selected:
Matayo 18: LBR
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.