YouVersion Logo
Search Icon

Lukka 9

9
Yesu atuma abayigirizwa ekkumi n'ababiri okubuulira Enjiri
(Mat 10:5-15, Mak 6:7-13)
1 # Mat 10:1,7 Awo Yesu n'ayita abayigirizwa be ekkumi n'ababiri wamu n'abawa amaanyi n'obuyinza okugoba badayimooni bonna n'okuwonya endwadde.#Mak 6:7-13 2N'abatuma okubuulira ku bwakabaka bwa Katonda, n'okuwonya abalwadde. 3N'abagamba nti, “Temutwala kintu kya kkubo, newakubadde omuggo, newakubadde olukoba, newakubadde emmere, newakubadde effeeza; so temuba na kkanzu bbiri. 4Na buli nnyumba mwe muyingiranga, mubeerenga omwo, era mwe muba muvanga.#Luk 10:5-7 5Era bonna abataabakkirizenga, bwe mubanga muva mu kibuga ekyo, enfuufu ey'omu bigere byammwe mugikunkumulenga ebe omujulirwa gyebali.”#Luk 10:11 6Awo ne bagenda ne beetooloola mu bibuga byonna nga babuulira Enjiri, nga bawonya abantu mu buli kifo.
Kerode asoberwa
(Mat 14:1-12, Mak 6:4-29)
7Awo kabaka Kerode owessaza n'awulira byonna ebyakolebwa; n'asoberwa nnyo kubanga abantu baagamba nti, “Yokaana azuukidde mu bafu;”#Mat 14:1,2, Mak 6:14-16 8abalala nti, “Eriya alabise,” n'abalala nti, “Bannabbi ab'edda omu ku bo azuukidde.” 9Kerode n'agamba nti, “Yokaana nze nnamutemako omutwe: naye oyo ani gwe mpulirako ebigambo ebyenkana awo?” N'ayagala nnyo okumulaba.#Luk 23:8
Yesu aliisa abantu enkumi ttaano
(Mat 14:13-21, Mak 6:30-44, Yok 6:1-14)
10Awo abatume bwe baamala okukomawo, ne bamunnyonnyola byonna bye baakola. N'abatwala ne yeeyawula n'agenda nabo kyama mu kibuga ekiyitibwa Besusayida.#Mat 14:13-21, Mak 6:30-44, Yok 6:1-13 11Naye ebibiina bwe baategeera ne bamugoberera; n'abaaniriza, n'ayogera nabo ebigambo by'obwakabaka bwa Katonda, n'abaali beetaaga okuwonyezebwa n'abawonya. 12Awo enjuba yali egolooba; abo ekkumi n'ababiri (12) ne bajja awali Yesu ne bamugamba nti, “Siibula ekibiina bagende mu mbuga ne mu byalo eby'okumpi bafune aw'okusula, banoonye n'eby'okulya; kubanga wano tuli mu ttale jjereere.” 13N'abagamba nti, “ Mmwe mubawe eby'okulya.” Ne bagamba nti, “Tetulina kintu wabula emigaati etaano n'ebyennyanja bibiri, okuggyako tugende tubagulire eby'okulya abantu bano bonna.” 14Kubanga baali abasajja ng'enkumi ttaano (5,000). N'agamba abayigirizwa be nti, “Mubatuuze nnyiriri ng'ataano ataano.” 15Ne bakola bwe batyo, ne babatuuza bonna. 16N'addira emigaati etaano n'ebyennyanja ebibiri, n'ayimusa amaaso mu ggulu, n'abyebaza n'abimenyamu, n'awa abayigirizwa be okubissa mu maaso g'ekibiina. 17Ne balya ne bakkuta bonna; ne bakuŋŋaanya obukunkumuka ne bujjuza ebibbo kkumi na bibiri (12).#2 Bassek 4:44
Peetero ayatula nti Yesu ye Kristo
(Mat 16:13-19, Mak 8:27-29)
18Awo olwatuuka Yesu bwe yali ng'asaba yekka, nga abayigirizwa be baali wamu naye. N'ababuuza ng'agamba nti, “Ebibiina bimpita ani?”#Mat 16:13-28, Mak 8:27—9:1 19Ne baddamu ne bagamba nti, “Yokaana Omubatiza; naye abalala nti Eriya; n'abalala nti Ku bannabbi ab'edda omu ku abo azuukidde.”#Luk 9:7 20N'ababuuza nti, “Naye mmwe mumpita ani?” Peetero n'addamu n'agamba nti, “Ggwe Kristo wa Katonda.”#Yok 6:69
Yesu alanga okuttibwa n'okuzuukira kwe
(Mat 16:20-28, Mak 8:30—9:1)
21Yesu n'abakuutira nga abalagira baleme okubuulirako muntu n'omu ekigambo ekyo; 22ng'agamba nti, “ Kigwanira Omwana w'omuntu okubonyaabonyezebwa ennyo, n'okugaanibwa abakadde ne bakabona abakulu n'abawandiisi, n'okuttibwa, era ku lunaku olwokusatu okuzuukizibwa.”#Luk 9:44; 18:32,33 23N'abagamba bonna nti, “ Omuntu bw'ayagala okungoberera, yeefiirize yekka, yeetikkenga omusalaba gwe buli lunaku, angoberere. 24Kubanga buli ayagala okulokola obulamu bwe alibubuza; naye buli alibuza obulamu bwe ku lwange oyo alibulokola.#Luk 17:33, Mat 10:39, Yok 12:25 25Kubanga kulimugasa ki omuntu okulya ensi yonna, naye nga ye yeebuzizza oba nga yeetunze? 26Kubanga buli ankwatirwa ensonyi nze n'ebigambo byange, oyo n'Omwana w'omuntu alimukwatirwa ensonyi, bw'alijjira mu kitiibwa kye ne mu kya Kitaawe ne mu kya bamalayika abatukuvu.#Mat 10:33 27Naye mbagamba mazima nti Waliwo abayimiridde wano abatalirega ku kufa okutuusa lwe baliraba obwakabaka bwa Katonda.”
Okufuusibwa kwa Yesu ku lusozi
(Mat 17:1-8, Mak 9:2-8)
28Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebigambo ebyo nga wayiseewo ennaku munaana, Yesu n'atwala Peetero ne Yokaana ne Yakobo, n'alinnya ku lusozi okusaba.#Mat 17:1-9, Mak 9:2-9 29Awo bwe yali ng'asaba, ekifaananyi ky'amaaso ge ne kiba kirala, n'ekyambalo kye ne kiba kyeru nga kimasamasa. 30Kale, laba, abantu babiri ne boogera naye, abo baali Musa ne Eriya; 31abaalabika nga balina ekitiibwa, ne boogera ku kufa kwe kw'agenda okutuukiririza mu Yerusaalemi.#Luk 9:22 32Awo Peetero ne be yali nabo baali bakwatiddwa otulo: naye bwe baatunula, ne balaba ekitiibwa kye n'abantu ababiri abayimiridde w'ali.#2 Peet 1:16-18, Yok 1:14 33Awo olwatuuka bwe baali bagenda okwawukana naye, Peetero n'agamba Yesu nti, “ Mukama wange, kirungi ffe okubeera wano; tukole ensiisira ssatu, emu yiyo, emu ya Musa, emu ya Eriya;” Yali nga tamanyi ky'ayogera. 34Awo yali ng'akyayogera ebyo, ekire ne kijja ne kibasiikiriza: bwe baayingira mu kire ne batya. 35Eddoboozi ne lifuluma mu kire ne ligamba nti, “ Oyo ye Mwana wange gwe nneeroboza: mumuwulire ye.” 36N'eddoboozi eryo bwe lyamala okwogera, Yesu n'alabika yekka. Nabo ne basirika busirisi, mu ennaku ezo ne batabuulirako muntu kigambo na kimu ku ebyo bye baalaba.
Yesu awonya omulenzi eyaliko Dayimooni
(Mat 17:14-18, Mak 9:14-27)
37Awo olwatuuka ku lunaku olwokubiri, bwe baava ku lusozi, ekibiina kinene ne kimusisinkana.#Mat 17:14-23, Mak 9:14-32 38Era, laba, omusajja eyali mu kibiina n'ayogerera waggulu n'agamba nti, “ Omuyigiriza, nkwegayirira okulaba ku mwana wange, kubanga nnamuzaala omu: 39era, laba, dayimooni amukwata n'akaaba, amangwago n'amutaagula n'okubimba n'abimba ejjovu, era amuvaako lwa mpaka, nga amumenyeemenye nnyo. 40Nange nneegayiridde abayigirizwa bo okumugobako; ne batayinza.” 41Yesu n'addamu n'agamba nti, “ Mmwe ab'emirembe egitakkiriza era egyakyama, ndituusa wa okubeera nammwe n'okubagumiikiriza? Leeta wano omwana wo.” 42Awo omulenzi bwe yali ng'ajja, dayimooni n'amusuula n'amutaagula nnyo. Naye Yesu n'aboggolera dayimooni, n'awonya omulenzi n'amuddiza kitaawe.#Luk 7:15 43Bonna ne bawuniikirira olw'obukulu bwa Katonda.
Yesu ayongera okwogera ku kufa kwe
(Mat 17:22-23, Mak 9:30-32)
Naye bonna bwe baali nga beewuunya byonna bye yakola, n'agamba abayigirizwa be nti, 44“Ebigambo bino mubiwulirize n'obwegendereza: kubanga Omwana w'omuntu agenda okuweebwayo mu mikono gy'abantu.”#Luk 9:22 45Naye bo ne batategeera kigambo ekyo, kubanga kyali kibakwekeddwa baleme okukitegeera: ate ne batya okumubuuza ekigambo ekyo bwe kiri.#Luk 18:34, Mak 9:32
Ani asinga obukulu?
(Mat 18:1-5, Mak 9:33-37)
46Awo ne wabaawo okuwakana mu bo nga beebuuza ani asinga obukulu mu bo. #Mat 18:1-5, Mak 9:33-40 47Naye Yesu bwe yalaba okuwakana mu mitima gyabwe, n'atwala omwana omuto, n'amussa ku lusegere lwe, 48n'abagamba nti, “ Buli anaasembezanga omwana omuto ono mu linnya lyange, ng'asembezza nze, na buli anaasembezanga nze, ng'asembezza eyantuma: kubanga asinga obuto mu mmwe mwenna oyo ye mukulu.”#Mat 10:40
Atali mulabe wammwe aba ku lwammwe
(Mak 9:38-40)
49Yokaana n'addamu n'agamba nti, “ Mukama waffe, twalaba omuntu ng'agoba dayimooni mu linnya lyo, ne tumugaana, kubanga tayita naffe.” 50Naye Yesu n'amugamba nti, “ Temumugaana; kubanga atali mulabe wammwe, ali ku lwammwe.”#Luk 11:23, Baf 1:18
Okwambuka e Yerusaalemi
(9:51—19:27)
51Awo olwatuuka ennaku ze ez'okutwalibwa mu ggulu bwe zaali zinaatera okutuuka, n'asimbira ddala amaaso ge okugenda e Yerusaalemi, 52n'atuma ababaka bamukulemberemu; ne bagenda ne bayingira mu mbuga y'Abasamaliya, okumutegekera.#Yok 4:4 53Ne batamusembeza kubanga amaaso ge gaali galaze kugenda Yerusaalemi.#Yok 4:9, 1 Tim 5:18, 1 Kol 9:5-14 54Abayigirizwa be Yakobo ne Yokaana bwe baalaba ne bagamba nti, “ Mukama waffe, oyagala tulagire omuliro guve mu ggulu gubazikirize, nga Eriya bwe yakola?”#2 Bassek 1:10,12 55Naye n'akyuka n'abanenya n'ayogera nti, “ Temumanyi omwoyo bwe guli gwe mulina. Kubanga Omwana w'omuntu teyajja kuzikiriza bulamu bwa bantu, wabula okubulokola.” 56Awo ne bagenda mu mbuga endala.
Omuwendo gw'okubeera omuyigirizwa wa Yesu
(Mat 8:19-22)
57Awo bwe baali nga bagenda mu kkubo, omuntu omu n'agamba Yesu nti, “ Nnaakugobereranga w'onoogendanga wonna.”#Mat 8:19-22 58Yesu n'amugamba nti, “ Ebibe birina obunnya, n'ennyonyi ez'omu bbanga zirina ebisu, naye Omwana w'omuntu talina w'assa mutwe gwe.” 59N'agamba omulala nti, “ Ngoberera.” Naye oyo ye n'agamba nti, “ Mukama wange, ndeka mmale okugenda okuziika kitange.” 60Naye Yesu n'amugamba nti, “ Leka abafu baziike abafu baabwe, naye ggwe genda obuulire obwakabaka bwa Katonda.” 61N'omulala n'agamba nti, “Mukama wange, nnaakugobereranga; naye sooka ondeke mmale okusiibula ab'omu nnyumba yange.”#1 Bassek 19:20 62Naye Yesu n'amugamba nti, “ Tewali muntu akwata ekyuma ekirima n'atunula emabega asaanira obwakabaka bwa Katonda.”

Currently Selected:

Lukka 9: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy