YouVersion Logo
Search Icon

Lukka 10

10
Yesu atuma abayigirizwa ensanvu
1 # Mat 10:7-16 Awo oluvannyuma lw'ebyo Mukama waffe n'alonda abalala nsanvu (70) n'abatuma kinnababirye okumukulemberamu okugenda mu buli kibuga na buli kifo gy'agenda okujja ye.#Mak 6:7 2N'abagamba nti, “Okukungula kwe kungi, naye abakunguzi be batono: kale musabe Mukama w'okukungula okutuma abakunguzi mu kukungula kwe.#Yok 4:35, Mat 9:37,38 3Mugende: laba, mbatuma mmwe ng'abaana b'endiga wakati mu misege. 4Temutwala nsawo, newakubadde olukoba, newakubadde engatto; so temulamusa muntu mu kkubo.#Luk 9:3-5, 2 Bassek 4:29 5Na buli nnyumba gye muyingirangamu, musookenga okugamba nti Emirembe gibe mu nnyumba muno. 6Oba nga mulimu omwana w'emirembe, emirembe gyammwe ginaabeeranga ku ye; naye oba nga si bwe kityo, ate ginaddanga gye muli. 7Mubeerenga mu nnyumba omwo nga mulya nga munywa eby'ewaabwe, kubanga omukozi w'omulimu asaanira empeera ye. Temuvanga mu nnyumba emu okuyingira mu ndala.#1 Tim 5:18, 1 Kol 9:5-14 8Na buli kibuga kye mutuukangamu, ne babasembeza, mulyanga buli bye bassanga mu maaso gammwe;#1 Kol 10:27 9muwonyenga abalwadde abalimu, mubagambenga nti, ‘Obwakabaka bwa Katonda bubasemberedde kumpi.’ 10Naye buli kibuga kye mutuukangamu ne batabasembeza, mufulumanga mu nguudo zaakyo, mugambanga nti: 11N'enfuufu ey'omu kibuga kyammwe, etusaabaanye mu bigere, tugibakunkumulira mmwe; naye mutegeere kino ng'obwakabaka bwa Katonda busembedde.#Bik 18:6 12Mbagamba mmwe nti Sodomu eriba n'okubonyaabonyezebwa okuligumiikirizika ku lunaku olw'okusalirwako emisango okusinga ekibuga ekyo.”
Ebibuga ebitalina kukkiriza
(Mat 11:20-24)
13 “Zikusanze, Kolaziini! zikusanze, Besusayida! kubanga, eby'amaanyi ebyakolerwa ewammwe singa byakolerwa e Ttuulo n'e Sidoni, singa beenenya dda nga batudde mu bibukutu n'evvu. # Mat 11:21-23 14Naye Ttuulo ne Sidoni biriba n'okubonyaabonyezebwa okuligumiikirizika ku lunaku olw'omusango, okusinga mmwe. 15Naawe Kaperunawumu, oligulumizibwa okutuuka mu ggulu? Nedda olissibwa okutuuka emagombe.#Is 14:13,15 16Awulira mmwe, ng'awulidde nze; era anyooma mmwe ng'anyoomye nze; n'oyo anyooma nze ng'anyooma eyantuma.”#Mat 10:40, Yok 5:23; 15:23
Ensanvu bakomawo
17Awo abo ensanvu (70) ne bakomawo n'essanyu nga bagamba nti, “ Mukama waffe, ne badayimooni batuwulira mu linnya lyo.” 18N'abagamba nti, “ Nnalaba Setaani ng'agwa ng'ali ng'okumyansa okuva mu ggulu.#Yok 12:31, Kub 12:8,9 19Laba, mbawadde obuyinza obw'okulinnyanga ku misota n'enjaba ez'obusagwa, n'amaanyi gonna ag'omulabe: so tewali kintu ekinaabakolanga obubi n'akatono.#Mak 16:18, Zab 91:13 20Naye ekyo temukisanyukira, kubanga badayimooni babawulira; naye musanyuke kubanga amannya gammwe gawandiikiddwa mu ggulu.”#Kuv 32:32, Baf 4:3, Kub 3:5, Mat 7:22
Yesu asanyukira mu Mwoyo Omutukuvu
(Mat 11:25-27; 13:16-17)
21Awo mu ssaawa eyo Yesu n'asanyukira mu Mwoyo Omutukuvu n'agamba nti, “ Nkwebaza, Kitange, Mukama w'eggulu n'ensi, kubanga bino wabikweka abagezi n'abakalakalaba, n'obibikkulira abaana abato: weewaawo, Kitange; kubanga bwe kyasiimwa bwe kityo mu maaso go.#Mat 11:25-27 22Byonna byampeebwa Kitange; tewali muntu amanyi Omwana bw'ali wabula Kitaffe; newakubadde Kitaffe bw'ali, wabula Omwana, n'oyo Omwana gw'ayagala okumubikkulira.” 23N'akyukira abayigirizwa be n'abagamba kyama nti, “ Galina omukisa amaaso agalaba bye mulaba:#Mat 13:16,17 24kubanga mbagamba nti Bannabbi bangi ne bakabaka baayagalanga okulaba bye mulaba mmwe, ne batabiraba; n'okuwulira bye muwulira ne batabiwulira.”#1 Peet 1:10
Omusamaliya omulungi
25 # Mat 22:35-40, Mak 12:28-34 Kale, laba, Omuyigiriza w'amateeka n'ayimirira ng'amukema n'agamba Yesu nti, “ Omuyigiriza, nkolenga ki okusikira obulamu obutaggwaawo?”#Luk 18:18-20 26N'amugamba nti, “ Kyawandiikibwa kitya mu mateeka? Osoma otya?” 27N'addamu n'agamba nti, “ Yagalanga Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'emmeeme yo yonna, n'amaanyi go gonna, n'amagezi go gonna; ne muliraanwa wo nga ggwe bwe weeyagala wekka.” #Ma 6:5, Leev 19:18 28N'amugamba nti, “Ozzeemu bulungi; kola bw'otyo, onoobanga n'obulamu.”#Leev 18:5, Mat 19:17 29Naye ye obutayagala kuwangulukuka, n'agamba Yesu nti, “ Muliraanwa wange ye ani? ” 30Yesu n'addamu n'agamba nti, “ Waaliwo omuntu eyali ava e Yerusaalemi ng'aserengeta e Yeriko; n'agwa mu batemu, ne bamwambula, ne bamukuba emiggo, ne bagenda ne bamuleka ng'abulako katono okufa. 31Awo kabona yali ng'aserengetera mu kkubo eryo nga tagenderedde; kale bwe yamulaba, n'amwebalama n'ayitawo. 32N'Omuleevi naye bw'atyo bwe yatuuka mu kifo ekyo, n'amulaba, n'amwebalama n'ayitawo. 33Naye Omusamaliya bwe yali ng'atambula, n'ajja w'ali: awo bwe yamulaba n'amukwatirwa ekisa, 34n'amusemberera, n'amusiba ebiwundu bye, ng'amaze okubifukamu amafuta n'omwenge; n'amussa ku nsolo ye, n'amuleeta mu kisulo ky'abagenyi n'amujjanjaba. 35Awo bwe bwakya enkya n'atoola eddinaali bbiri, n'aziwa nnannyini nnyumba n'amugamba nti Mujjanjabe; n'ekintu kyonna ky'oliwaayo okusukkawo bwe ndikomawo ndikusasula. 36Kale olowooza otya, aluwa ku abo abasatu, eyali muliraanwa w'oyo eyagwa mu batemu?” 37N'agamba nti, “ Oli eyamukolera eby'ekisa.” Yesu n'amugamba nti, “Naawe genda okole bw'otyo.”
Yesu akyalira Maliza ne Malyamu
38Awo bwe baali bagenda, n'ayingira mu kyalo: omukazi erinnya lye Maliza n'amusembeza mu nnyumba ye.#Yok 11:1; 12:2,3 39Naye yalina muganda we ayitibwa Malyamu, eyatuulanga awali ebigere bya Mukama waffe n'awulirizanga ekigambo kye. 40Naye Maliza yabanga n'emitawaana mingi egy'okuweereza; awo n'ajja w'ali, n'amugamba nti, “ Mukama wange, tofaayo nga muganda wange andese okuweereza nzekka? Kale mugambe annyambe.” 41Naye Mukama waffe n'addamu n'amugamba nti, “ Maliza, Maliza, weeraliikirira, olina emitawaana egy'ebigambo bingi; 42naye ekyetaagibwa kiri kimu: kubanga Malyamu alonzeewo omugabo ogwo omulungi ogutalimuggibwako.”#Mat 6:33

Currently Selected:

Lukka 10: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy