Eby'Abaleevi 8
8
Obwakabona (8:1—10:20)
(Kuv 29:1-37)
1Mukama n'agamba Musa nti, 2“Twala Alooni n'abaana be, n'ebyambalo, n'amafuta ag'okubafukako, n'ente ey'ekiweebwayo olw'ekibi, n'endiga ennume zombi, n'ekibbo ekirimu emigaati egitazimbulukusiddwa;#Kuv 28:2-4; 29:1,2; 30:25 3okuŋŋaanyize ekibiina kyonna ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu.” 4Awo Musa n'akola nga Mukama bwe yamulagira; ekibiina ne kikuŋŋaanyizibwa ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu. 5Musa n'agamba ekibiina nti, “Kino kye kigambo Mukama kye yalagira okukola.”#Kuv 29:4 6Musa n'aleeta Alooni n'abaana be, n'abanaaza n'amazzi. 7N'ayambaza Alooni ekizibawo, n'amusiba olukoba, n'amussaako omunagiro, n'amwambaza ekkanzu, n'amusiba olukoba olw'ekkanzu olwalukibwa n'amagezi, n'aginyweza n'olukoba olwo.#Kuv 28:4 8N'amussaako eky'oku kifuba; ne mu ky'okukifuba n'ateekamu Ulimu ne Sumimu.#Kuv 28:30 9N'amusiba ekiremba ku mutwe, era awo mu maaso gaakyo n'akisibako akapande aka zaabu, ye ngule entukuvu, nga Mukama bwe yamulagira.#Kuv 28:36,37; 29:6 10Musa n'addira amafuta, n'agafuka ku Weema ne ku byonna ebyagirimu, n'abitukuza.#Kuv 30:26-29 11N'amansirako ne ku kyoto emirundi musanvu, n'afuka ku kyoto n'ebintu byakyo byonna, n'eky'okunaabirangamu, n'entobo yaakyo, okubitukuza. 12N'afuka amafuta ku mutwe gwa Alooni okumutukuza#Kuv 29:7, Leev 21:10,12 13Musa n'aleeta abaana ba Alooni, n'abambaza ebizibawo, n'abasiba enkoba, n'abasibako ebiremba; nga Mukama bwe yamulagira.#Kuv 29:8,9 14N'aleeta ente ey'ekiweebwayo olw'ekibi; Alooni n'abaana be ne bateeka engalo zaabwe ku mutwe gw'ente ey'ekiweebwayo olw'ekibi.#Kuv 29:10, Leev 4:4; 8:2 15N'agitta; Musa n'addira omusaayi, n'agusiiga n'engalo ye ku mayembe g'ekyoto ku enjuyi zonna, n'alongoosa ekyoto, n'ayiwa omusaayi ku ntobo y'ekyoto, n'akitangirira okukitukuza.#Kuv 29:11,12, Leev 4:7, Ez 43:20,26 16Musa n'addira amasavu gonna agaali ku byenda, n'ekitundu ekisinga obulungi eky'ekibumba, n'ensigo zombi, n'amasavu gaazo, n'abyokera ku kyoto.#Kuv 29:13, Leev 4:8-10 17Naye ennyama esigaddewo, n'eddiba, n'obusa n'abyokera ebweru w'olusiisira nga Mukama bwe yamulagira.#Kuv 29:14, Leev 4:11,12 18N'aleeta endiga ennume ey'ekiweebwayo ekyokebwa; Alooni n'abaana be ne bateeka engalo zaabwe ku mutwe gw'endiga.#Kuv 29:15, Leev 8:2 19N'agitta; Musa n'amansira omusaayi ku kyoto enjuyi zonna.#Kuv 29:16-18, Leev 1:5-9 20N'asala mu ndiga ebitundu byayo; omutwe, n'ebitundu, n'amasavu n'abyokya. 21N'anaaza n'amazzi ebyenda n'amagulu gaayo. Musa n'ayokera endiga yonna ku kyoto; yali kiweebwayo ekyokebwa olw'evvumbe eddungi; yali kiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama, nga Mukama bwe yamulagira.
22N'aleeta endiga ennume eyokubiri, endiga ey'okwawula; Alooni n'abaana be ne bateeka engalo zaabwe ku mutwe gw'endiga.#Kuv 29:19, Leev 8:2 23Musa n'agitta; n'atoola ku musaayi gwayo, n'agusiiga ku nsonda y'okutu kwa Alooni okwa ddyo ne ku kinkumu ky'omukono gwe ogwa ddyo, ne ku kigere ekisajja eky'okugulu kwe okwa ddyo,#Kuv 29:20, Leev 14:14 24N'aleeta abaana ba Alooni, Musa n'asiiga omusaayi ku nsonda y'amatu gaabwe aga ddyo, ne ku bigere ebisajja eby'amagulu gaabwe aga ddyo, n'amansira omusaayi ku kyoto enjuyi zonna. 25N'addira amasavu, n'omukira omusava, n'amasavu gonna agali ku byenda, n'ekitundu ekisinga obulungi eky'okukibumba, n'ensigo zombi, n'amasavu gaazo, n'ekisambi ekya ddyo;#Kuv 29:22 26ne mu kibbo ekyalimu emigaati egitazimbulukusiddwa ekyali mu maaso ga Mukama, n'aggyamu omugaati gumu ogutazimbulukusiddwa, n'omugaati gumu ogwasiigibwako amafuta, n'ogw'oluwewere gumu, n'agiteeka ku masavu, ne ku kisambi ekya ddyo;#Kuv 29:23, Ez 43:27 27byonna n'abiteeka mu ngalo za Alooni ne mu ngalo z'abaana be, n'abiwuubawuuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama.#Kuv 29:24 28Musa n'abiggya mu ngalo zaabwe, n'abyokera ku kyoto ku kiweebwayo ekyokebwa; byali bya kwawula olw'evvumbe eddungi, kyali kiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama.#Kuv 29:25 29Musa n'addira ekifuba, n'akiwuubawuuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama; gwali mugabo gwa Musa ku ndiga ey'okwawula; nga Mukama bwe yamulagira.#Kuv 29:26 30Musa n'atoola ku mafuta ag'okutukuza, ne ku musaayi ogwali ku kyoto, n'agumansira ku Alooni, ku byambalo bye, ne ku baana be, ne ku byambalo byabwe; n'atukuza Alooni, ebyambalo bye, n'abaana be n'ebyambalo byabwe.#Kuv 29:21; 30:30 31Musa n'agamba Alooni n'abaana be nti, “Mufumbire ennyama ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu; mugiriire eyo n'emigaati egiri mu kibbo eky'okwawula, nga bwe nnalagirwa nti, ‘Alooni n'abaana be be banaabiryanga.’#Kuv 29:31,32, Ez 46:20 32Era ekinaafikkawo ku nnyama ne ku migaati, munaakyokya n'omuliro.#Kuv 29:34 33So temufulumanga mu mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu okumala ennaku musanvu, okutuusa ennaku ez'okwawula kwammwe lwe ziriggwaako; kubanga alibaawulira ennaku musanvu.#Kuv 29:35 34Nga bwe kikoleddwa leero, bw'atyo Mukama bwe yalagira okukola, okubatangirira. 35Era ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu gye mulimalira ennaku musanvu emisana n'ekiro, mwekuume ekiragiro kya Mukama muleme okufa; kubanga bwe ntyo bwe nnalagirwa.”#Kubal 9:19 36Alooni n'abaana be ne bakola byonna Mukama bye yalagira ng'ayita mu Musa.
Currently Selected:
Eby'Abaleevi 8: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.